TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Leero mu mboozi y'omukenkufu tukulaze engeri gy'oyinza okukozesa sabbuuni w’amapaapaali okulwanyisa obukadde n’okugoba binnamakula

Leero mu mboozi y'omukenkufu tukulaze engeri gy'oyinza okukozesa sabbuuni w’amapaapaali okulwanyisa obukadde n’okugoba binnamakula

By Musasi wa Bukedde

Added 28th November 2018

Leero mu mboozi y'omukenkufu tukulaze engeri gy'oyinza okukozesa sabbuuni w’amapaapaali okulwanyisa obukadde n’okugoba binnamakula

Pap2 703x422

Ebikoola by’amapapaali nga bwe bifaanana.

NGA nkyagenda mu maaso n’okukubuulira ebintu eby’enjawulo bye wasubwa mu musomo gwa ‘The Great Sundowner’ ogwaliyo ku ntandikwa y’omwezi guno, leero ku nkubuulire ku migaso enfaafa egy’ebikoola by’amapapaali.

Kizibu okusanga omuntu atamanyi paapaali oba ataliryangako, kyokka abangi batunuulira kibala ng’eky’omugaso wabula ne beerabira nti n’amakoola galiko emigaso egitali gimu. Bajjajjaffe obugunjufu bwabwe baabulagiranga mu bikoola by’amapaapaali.

Abangereza we baaberera mu butiti nga tebanaaba ne bafuna obulwadde bwa kawumpuli ne bubatta okubamalawo mu kyasa kye 15, ate bajjajjaffe bo baali bategedde ku bikoola by’amapaapaali. Baabyozesanga engoye okugoba obucaafu n’okunaaba kuba bikola ekyovu nga bw’olaba ekiva mu sabbuuni.

Kino kitegeeza nti, osobola okubikolamu sabbuuni kuba tufunye embeera mu biseera bino nti sabbuuni gwe tukozesa ennaku zino okwoza n’okunaaba atta olususu olw’ekirungo kya ‘Caustic soda’ ekiryokya. Kyova olaba osanga omukyala ava okwoza engoye naye ng’engalo zonna zisiridde n’okukakannyala.

Tulina okukkiriza nti, mu ssaayansi ekintu kyonna ky’oteeka ku lususuokuba ng’osobola n’okukirya, ky’otolya tolina kiteeka ku lususu lwo kuba gwe mumwa ogusingayo obunene, ky’ova olaba ng’obutwa bukuyingira mangu ekiraga nti olususu lulimu obutuli obuyitamu entuuyo okufulumya obucaafu obuva mu musaayi ggwaffe.

 abbuuni akoleddwa mu bikoola byamapapaali Sabbuuni akoleddwa mu bikoola by’amapapaali.

 

Mu mbeera eyo tulina okukozesa ebintu by’obutonde. Alina amapaapaali, ofunye omukisa okukolamu sabbuuni ow’obutonde agenda okuyamba abantu abalina ebizibu by’ensusu nga embalabe, kuba z’ezisinga okutawaanya abantu ennaku zino.

Sabbuuni ono alimu ekirungo kya ‘Saponin’ ekiyamba okutta obuwuka bwonna obuleeta embalabe, ate nga takakanyaza lususu kuba talina bbugumu lisobola kwokya lususu Sabbuuni ono osobola n’okumusenyesa kubanga wa ‘alkaline’. Tulina obuzibu nti ‘fluoride’ ekirungo ekissibwa mu ddagala ly’amannyo kigaleetera okusannyalala n’olumu okuggyamu ebituli ssinga omusenyesa oba obiwonye. Osobola okukozesa sabbuuni ono n’oyambibwa okuggyamu asidi yenna ayokya amannyo, ‘fluoride’ yenna n’omwozaamu n’amannyo ne gasigala nga malsabbuuniamu.

Ensi nga Nigeria bafunye mu sabbuuni ono era bo bamuyita ‘Dudu soap’ nga waliwo ne kkampuni ezaagezaako okukozesa erinnya lya ‘Dudu’ nga bakiggya mu bikoola by’amapaapaali.

Mu Amerika mu katale ka AGOA aba Nigeria bafuna ssente mpitirivu kuba kye kimu ku bintu bye bakyasinze okutunda ebweru w’eggwanga lyabwe. Ku baana abawere, abayamba ku lususu. Bw’omuggya ku kyogero musse ku sabbuuni avudde mu mapaapaali. Ayamba okuweweeza olususu n’atayokebwa pampa, aziyiza okubutuka, agonza olususu. Sabbuuni akoleddwa mu bikoola byamapapaali Ssabbuuni akoleddwa mu bikoola by’amapapaali Eri omusajja amwedde ebirevu, siigako ebyovu okuva mu bikoola by’amapaapaali obutafuna butulututtu n’obuzimba. Ne bw’oba ogenda kusala ekirevu osobola okumusoosaako.

Ku bakyala, abayamba okulwanyisa kandida n’okuleka obuwuka obwetaagibwa nga bulamu mu bitundu byekyama. bw’omuteeka mu nkwawa agobe olusu ate akola ng’akawoowo. Aziyiza olususu okukaddiwa n’olabika bulungi. Ku bisolo ebiwunya nga embwa ne kkapa, binaaze sabbuuni w’amapaapaali bisigale nga biwunya bulungi ate nga tebikoseddwa. Abalina binnamakula, sabbuuni ono abayamba okubigoba, n’abeeyerusa ne basigala ng’ebitundu ebimu bikonye. Akola ng’ebizigo naddala ku balina ensusu ezikala n’azirekamu ka butto kuba tayokya lususu. l Abakooye ennyo, akkakkanya ebirowoozo kuba akuweweeza.

Osobola okukolamu ebigimusa, mulimu ekirungo kya ‘magnesium’ ekigoba ebiwuka ate ne kikola ng’ekigimusa kuba ebikoola birimu ekirungo kya ‘Saponin’ ekiremesa ebiwuka okulya. Funa ebikoola obikaze, obyokye ofunemu ensaano. Tabula kkiro emu ey’ensaano mu liita z’amazzi 20 ofuuyire ebirime.

Bitaasa nnyo ennyaanya ng’ogasse ebikoola by’ennyaanya n’eby’amapaapaali. Lino ly’eddagala eriyamba ku kuwotoka kw’ennyaanya ne ‘Blight’ ne bakitiiriya zonna ezikosa ennyaanya. Asangibwa ku Equatorial Mall dduuka nnamba 152 mu Kampala. Mufune ku 0702061652 / 0779519652. 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kab2 220x290

Leero mu mumboozi y'omukenkufu...

Leero mu mumboozi y'omukenkufu tukulaze engeri gy'oyinza okukozesaamu butto w'empirinvuma okulwanyisa obulumi ng'oli...

Kuba1 220x290

Abalamuzi mu nsi za Afrika 5 basisinkanye...

HENRY Peter Adonyo akulira ettendekero ly’abalamuzi akubirizza abalamuzi ba Kkooti Enkulu okwenyigiranga mu misomo...

Haki 220x290

Kamoga atongozza hakki eyookuna...

HAJJI Muhammadi Kamoga naye nno tasaaga. Ayingizzaawo hakki eyookuna Zanei Birungi.

Tuula 220x290

Spider Roxy atandise okukokoolima?...

ABANTU abaalabye omuyimbi Spider Roxy n’ekyana nga beekuba obuwuna n’obwama baasigadde beebuuza oba naye yatandise...

Tuma 220x290

Omuwala yankyawa lwa bwavu

NZE Wilson Musoga, nzaalibwa mu disitulikiti y’e Mayuge. Mu 2018, nnasalawo okufuna omwagalwa era amaaso gansuula...