TOP

Town Clerk we Masajja azziddwa ku bbali

By Musasi wa Bukedde

Added 28th November 2018

Town Clerk we Masajja azziddwa ku bbali

Lop2 703x422

ABATUUZE ba Divizoni ya Masajja mu Munisipaali ya Makindye Ssaabagabo bafunye ku sanyu oluvannyuma lwa wofiisi ya Town Clerk Jimmy Mabanja eyali emaze ebbanga nga eggaddwa okuddamu okukola .

Kino kyaddirira abavubuka abataategeerekeka okulumba Mabanja ne bamukuba n’okumufulumya w’ofiisi nga bamulanga okulya enguzi,okwezza ssente ezirina okukulakulanya e kitundu kwossa nekyekubira mu kugonjoola ensonga zabatuuze.

Kino kyawaliriza bekikwatako okumusaba agira adda ebbali olw’abatuuze abali bayinza okumutuusaako obulabe,kyatwala wiiki bbiri nga wofiisi tekyakola ekintu ekyasitula abakulembeze okwali ba ssentebe b’ebyalo ne ba Kansala okulumba Meeya Gerald Nsubuga Lumbuye nga bagamba emirimo gyabwe gizingamya olw’okuba Town Clerk ye kamala byonna kyokka wofiisi nzigale.

kanso ya Masajja nga ekulemberwa sipiika Francis Ssaabwe nga yetabiddwamu ne Town Clerk wa Ssaabagabo Joseph Kimbowa yatudde era ba Kansala ne bayisa ekiteeso ekiggyamu Town Clerk obwesige nga nabo bamulumiriza okwenyigira mu mivuyo egizingamizza ekitundu.

Ekiteeso kyayita wabula Kimbowa n’abawa wiiki bbiri okuteekawo akakiiko ka bantu basatu akalina okunoonyereza ku byogerwa ku  Mabanja,ono yategeeza nti bino byonna birina okukolebwa nga Mabanja ali mu wofiisi era bwekinazuulwa nti ddala ebimwogerwako bituufu waakukyuusibwa nga bayise mu mateeka wabula si kukozesa lyanyi nga abatuuze bwebaakola.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Top2 220x290

Omusumba Tumusiime tayagala maka...

Omusumba Tumusiime tayagala maka galimu bizibu

Deb2 220x290

Obubonero obulaga ng’amafuta oba...

Obubonero obulaga ng’amafuta oba woyiro by’otadde mu mmotoka bikyamu

Kp2 220x290

Mubiri omunene akugobako endwadde...

Mubiri omunene akugobako endwadde

Kim2 220x290

abasawo bongedde okutangaaza ku...

abasawo bongedde okutangaaza ku kuzaala omwana asoosa ebigere

Kip3 220x290

ENSIRI : BW’OTOZITTA ZO ZE ZIKUTTA...

ENSIRI : BW’OTOZITTA ZO ZE ZIKUTTA