TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Enteekateeka za ppate ya ‘Million Dollar Party’ ziri mu ggiya.

Enteekateeka za ppate ya ‘Million Dollar Party’ ziri mu ggiya.

By Martin Ndijjo

Added 28th November 2018

Joseph Wajjala ategese ‘Million Dollar Party’ akoowodde abantu okweyiwa ku ppate eno.

Jo 703x422

Okuva ku kkono; Guvnor Ace

Mbalinze mu club Guvnor nga December 13, 2018 mulabe gye bayita okulya obulamu ne kaasi…” bwatyo omugagga Joseph Wajjala okuva e Denmark bwatandise ng’akoowola abantu okweyiwa ku kabaga ka basama kategese.

Akabaga kano  akatumiddwa Million Dollar Party’ kawagiddwa kkampuni ya Vision Group efulumya ne Bukedde era Wajjala agamba ‘patte’ eno etegekeddwa nga yanjawuulo ku bubaga bwa basama obuzze bukolebwa era buli muntu alina omukisa okuwangula ebirabo omuli Ttiivi gaggadde ez’omulembe n’amassimu ag’ebbeeyi.

bosa onzaga ngayogera batudde okuva ku kkono uvnor ce oseph ajjala ne orah amaala owa ukeddeBbosa Gonzaga ng’ayogera. Abatudde okuva ku kkono; Guvnor Ace, Joseph Wajjala ne Dorah Namaala owa Bukedde

 

Wajjala eyatuuse edda mu ggwanga okulaba nga enteekateeka zitambula bulungi bino abyogeredde mu lukung’ana lwa bannamawulire olutudde ku kitebe kya Vision Group olwa leero.

“Tumala omwaka mulamba nga tukola kale tekirimu sitaani kufunayo olunaku ne tusanyukira wamu nga bwe tweggyako ne situleesi” Wajjala bw’agambye.

Ate ye  Bbosa Gonzaga Gonza omu ku bali lu lukiiko oluteekateeka akabaga kano ategezezza nti ng’ogyeko okulya n’okunywa, wagenda kubeerayo abayimbi abagenda okusanyusa abantu bakulembeddwamu; Rema Namakula owa ‘‘Siri Muyembe ne Touch my body’’ Zanie Brown ne Fille

Omanyi omwezi gwa December gwa kulya ssente, abasama okuva mu nsi ez’enjawulo okuli South Africa, Amerika, Bungereza, Sweden, Denmark n’endala baatandise dda okuyingirawo nga beesunga kabaga kano akagenda okuggulawo ebbinu lino. Okuyingira 50,000/- n’emmeeza 1,000,000/-.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Mazike 220x290

Fresh Daddy abawala batandise okumwerippa...

OBWASSEREEBU tebuva wala naye ne Fresh Daddy manya taata wa Fresh Kid bwe yayimbye ‘Mazike’ kati takyava mu bbaala...

Soma 220x290

‘Abaami mmwe mutabangula amaka’...

ABAKULEMBEZE n’abatuuze mu tawuni kanso y’e Luuka boolese obwennyamivu olw’omuwendo gw’amaka agasasika okweyongera...

Leo 220x290

Omusibe atolose ku baserikale abatuuze...

ABATUUZE ku kyalo Kimuli mu ggombolola y’e Maanyi mu disitulikiti y’e Mityana bavudde mu mbeera ne basuulira poliisi...

Sevo1 220x290

Aba NRM mu Buganda batongozza Museveni...

ABAKULEMBEZE ba disitulikiti za Buganda eziwera 10 bakwasizza Pulezidenti Museveni ekkanzu eya kyenvu, ekyanzi,...

Tta 220x290

Eyatta owa bodaboda akkirizza okutuga...

Poliisi: Okimanyi nti obadde onoonyezebwa? Omusibe: Nkimanyi, kubanga akatambi akaatuleetera obuzibu nange nakalabako...