TOP

Poliisi eguze waya okusikayo eryato eryabbidde

By Eria Luyimbazi

Added 29th November 2018

Mu kusooka poliisi n’abantu baabulijjo baagezezzaako okusikayo eryato nga bakozesa emiguwa wabula ne balemererwa ne batwalayo ebimotoka okulisikayo nabyo ne biremerewa olw’emiguwa ne waya okubeera ebinafu nga bikutuka.

Waya21 703x422

Waya ezaaguliddwa nga baziteeka ku kabangali ya poliisi okuzitwala okuzikozesa ku lyato.

POLIISI eguze waya okusobola okusikayo eryato eryabbidde ne litta abantu abaabadde bagenze okucakala ku Lwomukaaga.
 
Kino kiddiridde okumala ennaku nnya ng’abaserikale bagezaako okuliggyayo kyokka ne balemererwa.
 
Mu kusooka poliisi n’abantu baabulijjo baagezezzaako okusikayo eryato nga bakozesa emiguwa wabula ne balemererwa ne batwalayo ebimotoka okulisikayo nabyo ne biremerewa olw’emiguwa ne waya okubeera ebinafu nga bikutuka.
 
Ku Lwokusatu akawungeezi akulira ebikwekweto mu poliisi AIGP Asuman Mugenyi yalagidde omuduumizi wa CPS, Ronald Wotwali okugula waya engumu ng’era ezaaguliddwa ziwezaako mita MIT 400.
 
Mu kusooka emmeeri ya MV Kalangala eyaleeteddwa yakozeseddwa okuvvuunula eryato  wabula nga tebasobola kulisikayo.
 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Yawe 220x290

Obukooti bw'oku mazzi mulimu ebicupuli...

OBUSEERE n'ebicupuli by'obukooti obutangira abantu okubbira mu mazzi bitabudde abeeyambisa entambula y'oku mazzi....

Bannamateeka ba Bannansi ba Rwanda...

Bannamateeka ba Bannansi ba Rwanda abaakwatibwa balaajanye

Lab2 220x290

Erias Lukwago alabudde abavubuka...

Erias Lukwago alabudde abavubuka abatava ku Whats App ne Facebook

Hop2 220x290

Eby'okwerinda byongedde okunywezebwa...

Eby'okwerinda byongedde okunywezebwa

Jip1 220x290

Bakukkulumye olwa munnaabwe eyafudde...

Bakukkulumye olwa munnaabwe eyafudde obutwa