TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Omu ku bakaawonawo b'e ryato ayogedde ekyamutaasa

Omu ku bakaawonawo b'e ryato ayogedde ekyamutaasa

By Musasi wa Bukedde

Added 30th November 2018

Omu ku bakaawonawo b'e ryato ayogedde ekyamutaasa

Lab3 703x422

OMUSUUBUZI ow’omu Kikuubo, Farouk Mujumba eyasimattuse akabenje k’oku lyato alojja obulumi n’okuyaayaana bannaabwe mwe baafiiridde nga tewali ayamba. Yagambye nti buli eyabadde ku lyato yabadde mu ssanyu eritagambika.

Ekitundu ky’eryato we yabadde kye kyasembyeyo okubbira ye ne yeekwata waggulu ku lyato. “Amazzi gaabadde gantwala ne nkwata ku lubaawo lw’eryato kyokka nga nalwo ndaba lukkirira. Amazzi gantuuse waggulu omutwe ne gubuliramu. Nabadde nkyakkirira eryato ly’abavubi ne lituuka.

Simanyi ngeri Katonda gye yannyambye ne neefuula ne nkwata ku lyato ly’abavubi. Nalibuukidde ate awo nga n’abalala bwe balirinnya era wakati mu kwenyoola n’enninya waggulu”, Mujumba bwe yagambye. Yalaze ebiwundu ku lubuto n’amagulu bye yafunye ng’agezaako okulwana kyokka ate bwe yalabye omugagga Andrew Lusiba nga naye amazzi gamutwala wakati mu kwerwanako n’agamba omu ku bavubi bamuyambe.

Yategeezezza nti yabadde n’omugenzi George Kisitu era yakoma okumuwuza ng’ayogera naye tayaddamu kulabako nga mulamu okuggyako Lusiba eyalemedde ku lyato nga yeekutte. Wakati mu kuyaayaana kw’abasuubuzi ete n’eryato ly’abavubi nalyo lyabadde ligenda kubbira.

Yagambye nti yalabye Moses Muyenga ng’alaajana ng’amazzi gamutwala kyokka nga tewali ayinza kuyamba munne. Bangi baabadde ne ‘Life Jacket’ kyokka luli lwabadde lutalo ng’abantu bazisika era bangi tezaabayambye olw’okulwana okwabadde mu mazzi nga buli omu ayagala kuwona”, Mujumba bwe yagambye

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Pp 220x290

Abayimbi Bannayuganda battunse...

Abajamaica;Christopher Martin ne D-Major bakubye Bannayuganda emiziki egibaccamudde

Hse1 220x290

By’olina okumanya ng’ogula ennyumba...

Kya makulu omuntu akuguza ennyumba okukuwa ppulaani yaayo n’ogiwa omukugu nagyetegereza okukakasa nti ebiriko byagobererwa...

Ssenyonjo 220x290

Poliisi ezudde ebipya ku yatema...

POLIISI ezudde ebipya ku musajja Hamidu Ssennyonjo amanyiddwa nga Munomuno omu ku bagambibwa okuyingirira omugagga...

Mayiga 220x290

Katikkiro alaze engeri ebbula ly’amazzi...

KATIKKIRO wa Buganda, Charles Peter Mayiga ayongedde okukkaatiriza obukulu bw’amazzi mu bulamu bw’abantu n’agamba...

Bazigu1 220x290

Abazigu balumbye amaka e Munyonyo...

ABAZIGU balumbye amaka e Munyonyo ne batemaatema omukozi w’awaka Isa Birimusho n’okumusiba akandooya ne bamuleka...