TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Omugagga omulala okuva e Russia avuddeyo n'alumiriza Nasser ku by'obufere

Omugagga omulala okuva e Russia avuddeyo n'alumiriza Nasser ku by'obufere

By Musasi wa Bukedde

Added 30th November 2018

Omugagga omulala okuva e Russia avuddeyo n'alumiriza Nasser ku by'obufere

Lab2 703x422

Nasser Nduhukire.

NNAGGAGGA omulala enzaalwa y'e Russia avuddeyo naggulawo omusango omulala ku Nasser Nduhukire agambibwa okuba omufere ng'amulumiriza okumufera. Kigambibwa nti Nasser yagamba naggagga Nulkan nti asobola okumufunira ayinza okugula zaabu aweza kkiro 950.

Mergie Kiweesi, Namwandu w'omugenzi omuyimbi AK 47 yali amaze ebbanga ng'akolagana ne naggagga Nulkan. Lumu aba ali e Dubai ne Nasser ne basisinkana Nulkan era wano we baatandikira okukwatagana.

Nulkan yali ayagala omuntu amuyamba okutunda zaabu we Nasser nagamba nti ajja kusobola okukikola. Mergie yagambye nti Omuzungu mu kunoonyereza ku Nasser yamanya nti yamulimba omulimu gw'akola.

Yamugamba nti mupunta, bwe yakizuula nti si kyali yakakasa nti mufere. Nulkan amaze ebbanga ng'anoonya Nasser era bwe yawulidde nti mukwate mu Uganda kwe kusindika mukwano gwe Mergie Kiweesi okuyambako okukwata Nasser. Nasser mukwate ng'akuumibwa ku poliisi y'e Ntebe ku musango omulala ogw’okufera omusajja enzaalwa ya Amerika amanyiddwa nga Johnhill amubanja doola 700,000. Nulkan ng'ayita mu Mergie agambye nti ayagala Nasser avunaanibwe. Yaweze obutassa mukono okutuusa ng'ensonga eno agiggusizza.

Omumerika Johnhill eyasandiddwa ku poliisi y'e Ntebe yagambye nti amaze wiiki ssatu mu Uganda naye si musanyufu ku ngeri poliisi gy'ekuttemu ensonga ze. Bamutambuza emirundi egiwera naye talina ky'alaba kye bamuyamba. Baamusaba obukadde 5 okutambuza omusango.

Ssente tazibawanga era talaba kigenda mu maaso. Asaba omukulembeze w'eggwanga ayingire mu nsonga ze amuyambe kubanga poliisi erabika ng'emubuzaabuza.

Mu kiseera kino emmotoka za Nasser bbiri oluli Roysroyce ne Cross country UBE 602H zikuumibwa ku poliisi y'e Ntebe Nasser aguddwaako emisango ebiri nga gya kufuna nsimbi mu lukujjukujju era nga gino giri ku fayiro nnamba CRB32/2018 ne SD REF 03/25/11/2018 nga okunoonyereza bwe kugenda mu maaso

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Lab2 220x290

Ekibiina ekigatta bannannyini mawoteeri...

Ekibiina ekigatta bannannyini mawoteeri kivuddeyo ku bye bbibiro lya Murchion Falls

Lop2 220x290

Ssebo Square Milez omukono teguwaba...

Ssebo Square Milez omukono teguwaba

Muwanga1 220x290

Eyalumbye owa difensi akwatiddwa...

Ono omusango gw’okutta agwegaanye ng’agamba yabadde agenze kumukangamu.

Bp 220x290

Temuva mu ddiini za bakitammwe...

Omulabirizi eyawummula owa Central Buganda, George Ssinabulya yennyamidde olw’abaana abasuulawo eddiini bazadde...

Kip2 220x290

Muzeeyi otubuzeeko!

Muzeeyi otubuzeeko!