TOP

Abatembeyi balabuddwa ku ky'okukweka ababbi

By Musasi wa Bukedde

Added 30th November 2018

Abatembeyi balabuddwa ku ky'okukweka ababbi

Lip2 703x422

POLIISI mu Kampala erabudde abatembeeyi abakolera ku mwala gw’e Nakivubo okukomya okusirikira n’okubudamya abamenyi b’amateeka abatigomya abantu.

Omuduumizi wa poliisi ya CPS, Ronald Wotwali bwe yabadde asisinkanye abatembeeyi abakolera ku mwala guno yagambye nti poliisi yakizudde nti abamenyi b’amateeka ababba abantu babeerimbikamu wabula ne balemwa okuvaayo okubeegobako. “Ababba abantu babeera wano we mukolera nga beerimbise mu butembeeyi kyokka temufuddeeyo kutegeeza poliisi ebakwate era ebikwekweto bye bijja okubamalawo,” Wotwali bwe yategeezezza.

Yagambye nti okunoonyereza poliisi kw’ekoze yakizudde nti ababbi beefuula abatembeeyi n’ekigenderwa eky’okulondoola ab’okubba ate abamu ku batembeeyi ne bayamba mu kutereka ebibbe nga kino kirina okukomezebwa.

Yategeezezza nti poliisi kigizibuwalira okwawula omubbi ku mutembeeyi naddala ng’ekoze ebikwekweto nabalabula nti okwewala kino beegobeko ababeerimbikamu.

Omukwanaganya wa poliisi n’omuntu waabulijjo ku CPS, Emmanuel Ssempijja yagambye nti omwala gw’e Nakivubo kye kimu ku bifo poliisi by’erina ku lukalala lwayo eby’obulabe kuba ababbi n’abamenyi b’amateeka gye beekukuma.

Yagambye nti ekizibu ekiriwo kwe kubeera nti waliwo abavaayo ne bawolereza abakwatiddwa nga mu bano mwe muli n’ababbi nga kati tebagenda kumala gayimbula bakwatiddwa okusobola okutereeza embeera.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kab2 220x290

Leero mu mumboozi y'omukenkufu...

Leero mu mumboozi y'omukenkufu tukulaze engeri gy'oyinza okukozesaamu butto w'empirinvuma okulwanyisa obulumi ng'oli...

Kuba1 220x290

Abalamuzi mu nsi za Afrika 5 basisinkanye...

HENRY Peter Adonyo akulira ettendekero ly’abalamuzi akubirizza abalamuzi ba Kkooti Enkulu okwenyigiranga mu misomo...

Haki 220x290

Kamoga atongozza hakki eyookuna...

HAJJI Muhammadi Kamoga naye nno tasaaga. Ayingizzaawo hakki eyookuna Zanei Birungi.

Tuula 220x290

Spider Roxy atandise okukokoolima?...

ABANTU abaalabye omuyimbi Spider Roxy n’ekyana nga beekuba obuwuna n’obwama baasigadde beebuuza oba naye yatandise...

Tuma 220x290

Omuwala yankyawa lwa bwavu

NZE Wilson Musoga, nzaalibwa mu disitulikiti y’e Mayuge. Mu 2018, nnasalawo okufuna omwagalwa era amaaso gansuula...