TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Palamenti etambula kasoobo nnyo mu kuyisa amateeka-Jacob Oulanyah

Palamenti etambula kasoobo nnyo mu kuyisa amateeka-Jacob Oulanyah

By Muwanga Kakooza

Added 30th November 2018

Palamenti etambula kasoobo nnyo mu kuyisa amateeka-Jacob Oulanyah

Liv2 703x422

OMUMYUKA wa sipiika Jacob Oulanyah yemulugunyizza ku kasoobo akali  mu ngeri obukiiko bwa palamenti gye bukolamu emirimu gyabwo ky’agamba nti kye kiremesezza palamenti okukola obulungi naddala okuyisa amateeka mu budde.

Oulanyah agamba nti obukiiko buweebwa ennaku 45 okunoonyereza n’okukola lipooti ku nsonga yonna okuli n’amabago agaletebwa gavumenti n’ababaka ssekinomu mu palamenti kyokka olumu ziggwaako nga mpaawo kikoleddwa.

Bino Oulanyah yabyogeredde mu palamenti n’akuutira obukiiko okugoberera amateeka agabufuga.

‘’Omusingi gw’enkola y’emirimu gya palamenti guli ku bukiiko.Era bulina okukola obulungi emirimu gyabwo. Wabula kyenyamizza nti ebikwata  ku kwekenenya amabago g’amateeka agatali gamu bikoleddwa kasoobo’’ Oulanyah bwe yagambye.

Ebbago ly’etteeka lirina okumala mu kakiiko akaba kaliwereddwa ennaku 45 zokka nga lyekenenyezebwa n’abantu abatali bamu okuliwakko ebirowoozo. Era oluvannyuma lizzibwa mu palamenti eya wamu okulikubaganyaako ebirowoozo n’okuliyisa.

Oulanyah era yasabye offiisi ya katikkiro okubuulira palamenti amabago g’amateeka gavumenti ge yayanjulira palamenti kyokka nga tekyagetaaga kuysibwa.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Pp 220x290

Abayimbi Bannayuganda battunse...

Abajamaica;Christopher Martin ne D-Major bakubye Bannayuganda emiziki egibaccamudde

Hse1 220x290

By’olina okumanya ng’ogula ennyumba...

Kya makulu omuntu akuguza ennyumba okukuwa ppulaani yaayo n’ogiwa omukugu nagyetegereza okukakasa nti ebiriko byagobererwa...

Ssenyonjo 220x290

Poliisi ezudde ebipya ku yatema...

POLIISI ezudde ebipya ku musajja Hamidu Ssennyonjo amanyiddwa nga Munomuno omu ku bagambibwa okuyingirira omugagga...

Mayiga 220x290

Katikkiro alaze engeri ebbula ly’amazzi...

KATIKKIRO wa Buganda, Charles Peter Mayiga ayongedde okukkaatiriza obukulu bw’amazzi mu bulamu bw’abantu n’agamba...

Bazigu1 220x290

Abazigu balumbye amaka e Munyonyo...

ABAZIGU balumbye amaka e Munyonyo ne batemaatema omukozi w’awaka Isa Birimusho n’okumusiba akandooya ne bamuleka...