TOP

Abakooki basabye Kabaka agende abakyalireko

By Dickson Kulumba

Added 30th November 2018

Abakooki basabye Kabaka agende abakyalireko

Dab1 703x422

Katikkiro Mayiga nga'li e Kooki

ABAKOOKI basabye Kabaka Ronald Mutebi II asiime agende abalambuleko kubanga bamaze ebbanga lya myaka etaano nga tebamulabako ekintu kyebaagambye nti kiwadde ebbeetu ababatabangula okwekaalisa. 

Okusaba kuno bakutise Katikkiro Charles Peter Mayiga bweyabadde  ku lwokubiri November 27,2018 alambula emirimu gy’enkulaakulana egikolebwa mu kitundu kino mu bulimi n’obulunzi naddala obw’emmwanyi mu nteekateeka eyitibwa Emmwanyi Terimba.  “ Tulina ennyonta y’okulaba ku  Ssabasajja Kabaka era tusaba otutuusize okusaba kwaffe gyali, asiime ajje atulambuleko.

Tuli bawulize eri Obwakabaka bwa Buganda wadde waliwo bangi abagezaako okututaataaganya,” Getrude Nakalanzi Ssebuggwawo bweyategezezza.  Ku ssaawa munaana, Katikkiro n’abakungu abamuwerekeddeko baatuse ku St. Bernard SS Mannya nga lino, ekisulo kyalyo kyakwata omuliro ne muggyiramu abayizi 10.  “Tutuusemu kikerezi olw’ensonga ezitabadde ngenderere naye nga tuzze okubakubagiza olw’ekikangabwa ekyabagwira omwafiira abayizi 10. Gavumenti ya Kabaka egenda kubadduukirira n’ensawo za seminti 100 n’amabaati 100.

Nzikanya n’omukulu w’essomero Henry Nsubuga bwagambye nti tulina okukuliza abaana mu mpisa ez’obuntubulamu kubanga atali muntumulamu y'asobola okwetaba mu bikolwa nga bino,” Mayiga bweyategezezza e Mannya.

Mayiga yayingidde akabuga k’e Rakai wakati mu mizira n’enduulu okuva mu bantu b’ekitundu kino ng’agenda ew’omulimi Isaac Mujjuzi ng’ono alina yiika z’emmwanyi 13 abantu nga balaga omukwano eri Obwakabaka nga bwebayeeya Kamuswaga n’ebitongole by’okwerinda okugezaako okusooka okukugira Mayiga okutandika okulambula ekitundu kino.

Yasinzidde wano naawa abavubuka amagezi bulijjo okufisanga ssente bagule ettaka bakolereko emirimu egy’enkulaakulana naddala okulima emmwanyi kubanga bwezitandika okuwa omuntu ssente okumala ebbanga ddene okusinga bodaboda.  Ewa Muwanguzi Gonzaga e Kiwanguzi Lwanda, Katikkiro Mayiga yasabye abakooki okubeera obumu nga batambulira wamu n’amasaza ga Buganda amalala kubanga abatambulira awamu babeera n’obusobozi obutuuka ewala. 

 Omubaka wa Pulezidenti e Rakai, Charles Mubiru yategeezezza nti ebyokwerinda ku ludda lwabwe babinywezezza okusobozesa Katikkiro okulambula obulungi abalimi ne yebaza Katonda wadde Katikkiro yamaze ekiseera ng’ali ku Hotel Brovad e Masaka oluvannyuma lw’okusooka okutta ku bigere ng’abebyokwerinda bagamba nti e Kooki eriyo obutali ‘butebenkevu’ abakooki kyebagambye nti babadde babawayiriza.  Katikkiro eyabadde ne Baminisita okuli Ying.

Martin Kasekende, Noah KIyimba, Henry Ssekabembe ne Christine Mugerwa Kasule, batuuseeko mu kiggo e Buyamba. Mu kwogera kwe Ssentebe wa Disitulikiti y’e Rakai Benon Mugabi yebazizza Katikkiro olw’okuzzaamu n’okuwa abantu amagezi agabakulakulanya era nti bakugenda mu maaso n’okukubiriza abantu okusimba emmwanyi. 

E Kyamukonda Kyotera  yaguddewo essundiro ly’amafuta eriyitibwa DUMAS ng’eno ya Mw. Kasumba Ddumba nakuubiriza abantu bulijjo okulubiriranga okukola ebintu ebinene era ebiri ku mutindo nga wadde bitwala akadde,bizza amagoba.  Ssentebe wa Disitulikiti y’e Kyotera, Kintu Kisekkulo yasabye Katikkiro akoleyo enteekateeka omwaka ogujja amulambuze ku mitimu egikolebwa mu kitundu kino.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kib11 220x290

Ba Kansala ku district e Kiboga...

Ba Kansala ku district e Kiboga bakubye ebituli mu budget ya District

Capture 220x290

Emitimbagano gya Vision Group gyakuvaako...

Emitimbagano gya Vision Group okuli ogwa bukedde.co.ug ne newvision.co.ug gyakuggalawo ku wiikendi eno okutandika...

Br3 220x290

Ensonga za Brian White ez'okkabasanya...

Ensonga za Brian White ez'okkabasanya abaali abakozi be zisajjuse

Kit1 220x290

Engeri akasaawe k'e Mulago gye...

Engeri akasaawe k'e Mulago gye kaalera Jimmy Kirunda

Jit1 220x290

Afiiridde mu kibanda kya firimu...

Afiiridde mu kibanda kya firimu e Mukono