TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Engeri abagagga gye baatuggye ku yunivasite okututwala ku lyato

Engeri abagagga gye baatuggye ku yunivasite okututwala ku lyato

By Musasi wa Bukedde

Added 1st December 2018

Engeri abagagga gye baatuggye ku yunivasite okututwala ku lyato

Kab2 703x422

OMUWALA wa Yunivasite y’e Makerere annyonnyodde engeri gye baatuuka ku lyato kyokka ne basimattuka okufa bwe lyabbira mu nnyanja nga lifunye obuzibu. Eron Ndagire ali mu mwaka ogusooka ng’asoma diguli mu by’amawulire.

Yattottoledde nnyina Patricia Walujju ow’e Kitende engeri mukwano gwabwe omu omulenzi bwe yabanona mu hositeero mwe basula ne banne bana n’abatwala e Gaba gye baalinnyira eryato okugenda okulya obulamu.

Kigambibwa nti omuvubuka ono eyanonye abayizi bano y’omu ku baatandikawo bizinensi y’okunoonya abawala ba Yunivasite ne babatwalira abagagga okwesanyusa ku bubaga n’ebiduula ebibeera mu bifo eby’enjawulo nga ku maato.

Ne ku luno omuvubuka ono yakima abawala bano n’abatwala ku lyato bakole nga bulijjo bwatwala abawala abalala kyokka ku luno ebintu ne bitagenda bulungi akabenje ne kagwawo omwafiiridde abantu abasoba mu 32.

NDAGIRE ANNYONNYOLA EBYALIWO Twali mu hositeero gye tusula ne bannange bana mukwano gwaffe n’ajja n’atuwa pulogulaamu y’okugenda ku lyato.

Twasitukiramu ne tumugoberera era twatuukira ku KK Beach e Ggaba we twasanga abantu abalala nga bali mu kunywa n’okulya. Wadde ebyokunywa naddala omwenge byaliwo mu bungi, ffe tetwanywa era ku lyato twali balamu bulungi ekyatuyamba ennyo okusimattuka akabenje.

Eryato lyakeerewa nnyo okusinziira ku ssaawa ze twalina okusimbula kyokka oluvannyuma lyajja ne tugenda. Akaseera kaayitawo katono embeera n’etandika okutabuka era ebyaddirira buli omu alina engeri ye gye yabirabamu kyokka nze n’abawala mikwano gyange twafuna omukisa ne tubuukira mangu eryato eryasooka okujja okudduukirira era n’omulenzi eyali atututte naye twagenda naye.

Bwe nava ku lyato nadduka ne nneekweka awantu e Kawempe. Mba ndi eyo omuntu n’ankubira essimu nti alabye ekifaananyi kyange mu mawulire nti nafiiridde mu lyatyo. Nakubira ab’enganda zange ne mbategeeza nti ndi mulamu era ndi Kawempe.

EBYADDIRIDDE NGA NDAGIRE AMAZE OKUZUUKA

Ssenga wa Ndagire, Muky. Harriet Nakimbugwe agamba nti bwe baafunye amawulire nti muwala waabwe ali Kawempe, yagenze namuggyayo n’amutwala ewa kitaawe ku kyalo Kagga mu Wakiso, oluvannyuma gye baamuggye ne bamutwala ewa nnyina e Kitende ku lw’e Ntebe. Wabula oluvannyuma , Ndagire yatandise obuteewulira bulungi ne bamutwala mu ddwaaliro abasawo bamukebere okuzuula ekimutawaanya bamujjanjabe.

ENGERI BIZINENSI Y’OKUPANGISA ABAWALA GYEKOLEBWAMU

Abakolanga babbulooka b’abawala bano babaggya mu yunivasite n’amatendekero aga waggulu ag’enjawulo. Mu kubapangisa babasuubiza kukola bwa ‘Ushers’ soma ‘asha’. Bano be bawala abaweereza n’okwaniriza abantu ku bubaga kyokka abamu gye biggweera nga babatuusizza mu bisenge oba okubambulamu engoye bbo abagagga kye bayita okubabeesabeesa.

Abasinga basasulwa kitono (10,000/-) naye bagenda balwana era nga basanyufu anti gye babatwala okukola abagagga babawa ‘ttiipu’ ziyite ssente z’okubeebaza emirimu olw’empeereza yaabwe n’endabika n’abalina ekigendererwa ky’okubakwana (omuwala eyagenze okukolera 10,000/- annyuka na 300,000/-) n’oluusi okusingawo. Abalala babakwanira ddala ne babafuula bakyala baabwe ne babagulira mmotoka, okubagulira ebintu eby’ebbeeyi bye bateeka mu hositeero zaabwe.

Kyokka waliwo n’abawala be bapangisa nga bakimanyi nti omulimu ogubatwala gwa kwegatta n’abagagga bano ng’era olutuuka awali akabaga nga babagabana. Abavubuka abakola ogwa kayungirizi bababuulira n’ebika by’abawala be beetaaga kati olwo ensasula n’ensinziira ku birungo omuwala byataddemu n’engeri gyakuttemu omuloodi. Waliwo n’abagagga abafuna abawala babiri n’abatwala okumubeesabeesa ng’omu bwanyiganyiga ekigere ng’omulala aweeweeta okutu.

Waliwo abava eno nga bambadde bulungi n’oluusi nga bali mu yunifoomu zaabwe mwe bakolera kyokka olutuuka ku kabaga nga beetema sipeeya ne basigala mu bukete nga ne bw’obeera watomerwa endinga ofunamu ekinyegenyege n’omukoona ku kabina waakiri okwateko ofune essanyu.

ANOONYA ABAWALA BANO AYOGEDDE

Edson Kirabira owa Mava Entertainment Company abalina abawala abatera okupangisibwa okukola ku bubaga bw’abagagga agamba nti kituufu waliwo be bayisaawo wadde babapangisa kukola buweereza. Yagambye nti abamu bwe batuukayo bava ku mulamwa ne badda mu kweyiiyiza mu bagagga ababaganza.

Yeewozezzaako nti abawala b’akozesa afuba okubabuulirira n’okubawa obukodyo engeri gye bayinza okusimattuka obutego bw’abagagga n’okubasasula obulungi obutakemebwa. Yagasseeko nti olw’embeera n’ekifo awali akabaga, abawala abasinga beesanga abasajja babakozesezza.

Okugeza: muyinza okufuna omulimu nga mugenda mu kifo ekyekusifu nga ku bizinga ng’omuwala tasobola kuvaayo n’asigala mu mikono gy’abamututte. Bano babapokera omwenge ogw’ebbeeyi ogutamiiza amangu, abalala olubakuba ssente mu maaso ne zibawunza ne bakkiriza okukola buli kye babasaba ng’era ebiddirira tebibeera birungi anti obulamu bw’abagagga bano tebwesigika. Bangi bafuniddeyo ebirwadde ebikambwe, embuto ze bateetegekedde n’okufiirwa emisomo n’obubenje ng’akaaguddewo.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Funa 220x290

Anyiize n’ayiira bba olweje

ABAFUMBO bafunye obutakkaanya omukazi n’ayiira bba olweje. Bino byabadde Nansana Nsumbi zooni, Shamim Nakafu bwe...

Unity 220x290

Mutabani wa Chamilli anyiga biwundu...

EDMOND Osutu omutuuze w’e Kyebando Nsooba agambibwa okuba omukozi mu bbaala ya DNA Lounge esangibwa ku luguudo...

Sema 220x290

Mesach ekivvulu kimuwuuba

OMUYIMBI Mesach Ssemakula amanyiddwa nga Golden Papa kati gwe baawadde n’ekitiibwa kya ‘‘Sir’’ bw’oba omunoonya...

Funa 220x290

Square Milez ne Deborah Kandi temwekola...

ABAYIMBI Deborah Nakandi eyeeyita Deborah Kandi ne Kisaakye Micheal Joseph amanyiddwa nga Square Milez ebintu bye...

Baba 220x290

Swengere ne Maama Kalibbala bali...

HUSSEIN Ibanda amanyiddwa nga Swengere ne munnakatemba munne Maama Kalibbala bali luno.