TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Aba famire ya Kaddu eyafi iridde mu lyato emmaali ebatabudde

Aba famire ya Kaddu eyafi iridde mu lyato emmaali ebatabudde

By Musasi wa Bukedde

Added 2nd December 2018

Aba famire ya Kaddu eyafi iridde mu lyato emmaali ebatabudde

Kad2 703x422

MICHEAL Kaddu omu ku bagagga abaafi iridde ku lyato abadde yaakamala ennaku nnya mu ttaka famire ye n’etabuka olw’ebyobugagga bye yalese. Kaddu abadde omusuubuzi ow’omaanyi mu kibuga yafudde ne bagagga banne okuli Yoweri Musumba, George Kisitu n’abalala baafi iridde mu nnyanja ku Lwomukaaga oluwedde.

Baabadde ku lyato MV –Palm Boat eryabadde libatwala ku Palm Beach kyokka ne litatuuka ne libayiwa okumpi ne bbiici eyitibwa Mutima esangibwa mu ggombolola y’e Mpatta mu disitulikiti y’e Mukono. Oluvannyuma lwa Kaddu okuziikibwa ku Lwokubiri e Nabutitti Bukuya, famire yatandika okutabuka n’okwerangira ku by’obugagga by’omugenzi.

Ssenga wa Kaddu looya Janet Nabatta Mukiibi ne taata we omuto, Ceaser Nsonga ku Lwokutaano baagenze ku LC1 mu Kikuubo ne baggala edduuka erisangibwa mu kizimbe kya Vinco ne sitoowa esangibwa ku kizimbe kya Kabaale ebibadde bikubyeko emmaali ne beewera obutakkiriza muntu yenna kugaggulawo. Baabadde baakavaawo omusika wa maama wa Kaddu ayitibwa Eva Lubega bwe babadde bakolera mu dduuka ne mwannyina wa Kaddu ne batuuka.

Baasanze edduuka lissiddwaako kkufulu mukaaga ne bazikubamu ne zaaka. Baafunye ekibinja ky’abavubuka ne bagula emisumeeni emyogi egisala ebyuuma, kkufulu zonna ne bazisala n’okuzimenya nga bwe bayomba nti, Abendiga baagala kubba mmaali yaabwe. Eva Lubega eyabadde tasalikako musale yategeezezza nti kitalo nnyo okutandika okulwanira emmaali nga n’omugenzi tannaba kukkalira magombe n’alombojja obuvo n’obuddo bwa Kaddu okusobola okuggusa ensonga ze.

Yagambye nti: Kaddu yakulira bukojja ne maama we, Margaret Namatovu (naye omugenzi) era ye yamusomesa okutuuka mu siniya ey’omukaaga mwe yakoma nga ssente ziweddewo. Olw’okuba Namatovu yalina abaana abalala abato, yasalawo okuyimiriza Kaddu okusoma n’amusembeza bakolere wamu ayige eby’okusuubula. Maama yawa Kaddu amagezi akkirize bato be basome ku busente obwali busigaddewo ye akkirize atandike obulamu bw’okusuubula era bwe kyali.

Maama bwe yafa nze namusikira era bwe tutyo bwe tuzze tukola ne Kaddu! Kya nnaku okulaba kati nga ssenga we ne taata we omuto ababadde tebamanyi yadde Kaddu gy’akolera n’ebimukwatako ate okutulumba baggale edduuka ne sitoowa n’okukaayanira emmaali yaffe. Tetusobola kukikkiriza era tebalinnya wano!

Mu dduuka twasanzeemu emmeeza n’entebe Kaddu kw’abadde atuula, Eva Lubega n’atutegeeza nti ebyo byokka omugenzi Kaddu by’abadde alina mu dduuka ebintu byonna ebirala byabwe. “Kaddu ffe tubadde tumutuma okugula n’okutambuza emmaali kuba abadde mwangu, mujagujagu ate omwesigwa. Kati ndowooza abantu bwe babadde bamulaba ng’abitambuza n’okuba ne ssente ne balowooza nti zize ekitali kituufu.

Waliwo kw’abo abantu ayinza okwogera Kaddu gye yaggya ssente atuuke ku ddaala erikola edduuka bweriti? Abo bagezaako kwagala kufuna bya bugagga bye batamanyi gye tubiggye naye tubalaba,” Eva bwe yayongedde okuyomba. Yabadde ne muwalawe, Teddy Nakimbugwe eyategeezezza nti mwannyina abadde n’ebintu ebibye era bye baategeezezza Abendiga ne babibalaga gye biri naye nga temuli dduuka wadde sitoowa. “Kaddu abadde ne poloti ze ssaako ennyumba n’abaana be bana.

Byonna twabibagambye ne tubalaga ne we biri kyokka kyewuunyisa ate okutulumba,” Nakimbugwe bwe yagambye. Yategeezezza nti singa babadde babbi tebaalibalaze poloti za Kaddu.

Kyokka Ssenga wa Kaddu bwe yabaddeayogera mu kuziika, yategeezezza nti ye yaweerera Kaddu n’okumulabirira nti yamusomesa okuva mu bibiina ebya wansi okumalako siniya ey’omukaaga era n’ayingira ne yunivasite kyokka yasomayo omwaka gumu n’ayingira obusuubuzi era abadde akyogera lunye nti agenda kuddayo amalirize diguli mu mbeera z’abantu. Yagambye nti buli bw’abadde amusisinkana ng’amukakasa nti agenda kuddayo okusoma.

Yagambye nti Kaddu abadde mukozi atava ku nnyonyi ne mu bbaasi era abadde asuubula ebibye n’okugulira abalala ababadde bamutuma. Yagambye nti abadde asuubula e Kenya, Dubai ne China ebintu eby’enjawulo.

Kaddu abadde alina ebintu by’akoze ebiraga nti ddalamusuubuzi alina ssente okuli amaka ag’ebbeeyi agasangibwa e Nansana. Abadde yaakamala okukola embaga ey’ebbeeyi ekunukkiriza obukadde 300. Bwe yali ayanjula mukyala we, yamuwa emmotoka empya ekika kya Harrier. Abadde avuga emmotoka ey’ebbeeyi ey’ekika kya Vox Wogen ekunukkiriza obukadde 80.

Ku kwanjula kwe kwaliko abayimbi abanene okuli Robert Kyagulanyi (Bobi Wine) n’abalala era abadde n’emikwano egimumanyi nti abadde alina ssente. “Omuntu okuvaayo n’ogamba nti Kaddu abadde alina ntebe oba mmeeza kiba tekitegeerekeka era ffe ensonga tuzikwasizza bannamateeka baffe bazimalirize” Nabatta bwe yagambye.

Ssentebe wa LC 1 mu Kikuubo, Bashir Muwonge yategeezezza nti ssenga wa Kaddu Janet Nabatta ne mwannyina Ceaser Nsonga baamutuukiridde ne beemulugunya era ye ng’omukulembeze, yabalagidde nti bakkirize basse kkufulu ku dduuka ne sitoowa basooke bakkiriziganye.

Yagambye nti tebagenda kukkiriza muntu yenna kuggulawo sitoowa wadde edduuka okutuuka nga bakkiriziganyizza ng’aba famire ya Kaddu ku buli ludda. Ate omwogezi w’olukiiko lw’abasuubuzi mu Kikuubo, Samuel Muyomba yagambye nti aba famire batuule ensonga bazimalirize kubanga bye balimu biswaza famire.

Yagambye nti abantu basatu batuukiridde ofi isi y’abasuubuzi nga basaba babayambe ku ssente zaabwe kubanga Kaddu afudde baakamuwa emmaali yaabwe nga tannaba kubasasula era bamubanja kyokka bawulira ate aba famire bayomba.

Kaddu afudde wa myaka 32 gyokka era abadde mutabani wa Isaac Sserunkuuma omukozi mu kitongole ekiramuzi. Yaziikiddwa ku biggya bya bajjajjaabe, Samuel Balagadde e Kataza e Nabutiti Bukuya Singo ku Lwokubiri.

Abasuubuzi ababadde bamanyi Kaddu n’okukolagana ennyo naye, abamu baazirise olw’entiisa gye yabaleseemu okufa amangu. Abamu baatidde nti tebamanyi ngeri gye bagenda kufunamu mmaali yaabwe kubanga y’abadde abayamba.

Okutabuka kwa famire kwatandikira ku ggwanika e Mulago abooluganda lwa Nnamwandu bwe baayagala okwefuga omulambo okuba nga be bamukolako kyokka abooluganda lwa Kaddu ne babakkakkanya.

Olutalo ku mmaali lugenze okubeerawo ng’abamu beemulugunya dda nti waliwo abaagala ebybugagga. Mmotoka ya Kaddu eyali erekeddwa ku bbiici ya KK e Ggaba nayo yaggyiddwaayo mukyala we kyokka abamu era baakirabye bubi

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Abr1 220x290

Empaka za ASFAs bazongeddemu ebirungo...

Basereebu beesunga kuwangula ngule mu mpaka z'emisono eza Abryanz Style and Fashion Awards (ASFAs)

Siba 220x290

Leero mu mboozi z'omukenkufu, tukulaze...

EMMWAANYI kyabugagga era bajjajjaffe baazitunda ne bakolamu ebintu eby’enjawulo omwali okusomesa abaana, okugulanga...

Kusasiraserenandijjo32 220x290

Ekyabade mu kivvulu kya Kusaasira...

Ekyabade mu kivvulu kya Kusaasira ku Serena: Museveni ayanukudde Mayinja ku by'oluyimba lwa 'Ebintu bizzeemu'

Cf67bb0a32be4b27bedf0076e8e46208 220x290

Bazannye ffirimu ku ngeri abavubuka...

Ekitongole kya Reach a hand nga kiri wamu n'Omunigeria kafulu mu kuzannya ffirimu Emmanuel Ikubese basabuukuludde...

Teekamu 220x290

Eyanzigya mu ssomero yeegaanye...

NKIZUDDE kati nti eyannimbalimba n’annemesa emisomo yali ayagala kunkozesa nga tanjagala bya ddala.