TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Aba Bbanka enkulu bazzeemu okuweebwa ebiragiro ebikambwe

Aba Bbanka enkulu bazzeemu okuweebwa ebiragiro ebikambwe

By Kizito Musoke

Added 2nd December 2018

Aba Bbanka enkulu bazzeemu okuweebwa ebiragiro ebikambwe

Bk 703x422

Edward Katimbo Mugwanya (ku kkono) eyakulirako okulondoola emirimu gya Bbanka Enkulu, Tumubweine Twinemanzi akulira okulondoola emirimu gya bbanka n'omumyuka wa Gavana, Dr. Louis Kasekende (ku ddyo).

AKAKIIKO ka Palamenti akavunaanyizibwa ku kulondoola ebitongole bya Gavumenti aka COSASE kalagidde abakulira Bbanka Enkulu okuleeta enkya ebiwandiiko byonna ebiraga ekyabatunza amabanja ga bbanka ezaggalwa ku ssente entono.

Ababaka baasinzidde mu lukiiko ku Lwokutaano olwakubiriziddwa omumyuka wa ssentebe Annet Anita Among (mukazi/Bukedea) ne balaga obutali bumativu engeri amabanja ga bbanka essatu okuli; International Credit Bank, Greenland Bank ne Cooperative Bank gye gaatuundibwamu.

Wadde ng’amabanja gaali gabalirirwamu obuwumbi 135, wabula gaatundibwa ku buwumbi munaana n’obukadde 800 zokka. Edward Katimbo Mugwanya eyali akulira okulondoola emirimu gya Bbanka Enkulu yagambye nti ekyabatundisa amabanja ku ssente entono lwa nsonga nti gaali geeyongera obutavaamu ssente buli kiseera.

Kyokka lipooti y’omubalirizi w’ebitabo bya Gavumenti eya 2016 eraga nti yalemwa okutegeera abakulira Bbanka Enkulu ensonga kwe beesigamako okutunda ku ssente entono wadde nga waaliwo abaguzi ababawa ssente ezisingako.

Lipooti ekwata ku by’okutunda bbanka eraga nti Bbanka Enkulu yapangisa kampuni ya M/S J.N Kirkland okutunda ebyobugagga bya bbanka ezaali ziggwaddwa. Kirkland ate nayo yafuna kkampuni ya Octovian Advisors eya America n’egula ebyobugagga ku bukadde bwa ddoola 10.

Aba Octovian nabo baafuna kkampuni endala eya Nile River Acquisition Company n’egula amabanja ku bukadde bwa doola butaano, nga bwe buwumbi munaana n’obukadde 890.

BAGYENDA ASUUBIRWA MU KAKIIKO

Justine Bagyenda eyali akulira okulondoola emirimu gya Bbanka Enkulu enkya (Mmande) lw'asuubirwa okweyanjula mu kakiiko ka COSASE oluvannyuma lw’okumulinda okumala ekiseera nga talabikako. Yakoma okubeera mu kakiiko ku Lwokuna nga November 22, 2018. Robert Kagolo munnamateeka wa Bagyenda, yategeeza ababaka nti yali agenze mu Amerika nga yali asuubira okukomawomu December. Yaweereza ababaka ebbaluwa nti, agenda kutuuka mu ggwanga ku Ssande (leero) n’oluvannyuma alabikeko mu kakiiko enkya ku Mmande

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Afrigo 220x290

Lutalo ekintu akyekwatiddemu

OMUYIMBI w’ennyimba za laavu, David Lutalo (ku ddyo) kirabika akooye bapulomoota okumulyako ssente.

Tege 220x290

Kyokka mwana ggwe Lydia Jazmine!...

MWANAMUWALA Lydia Jazmine abamu gwe bayita muninkini wa gundi yamalayo. Akola bimusanyusa nga tafuddeyo ku bantu...

Kuba 220x290

Eyagaba abalongo bange yantamya...

NZE Charles Adwor, mbeera Mukono. Nasisinkana munnange mu 2014 nga nkyabeera e Jinja. Ebiseera ebyo nalina omulimu...

Melon1 220x290

Weyune enkola ya kontulakiti ofunemu...

OKUKOLA kontulakiti n’omuguzi y’emu ku ngeri omulimi n’omulunzi mw’asobola okuyita okufuna akatale k’ebintu bye...

Remagrad2 220x290

Rema alangiridde bw’addayo ku yunivasite...

REMA Namakula alangiridde nga bw’agenda okuddayo ku yunivasite e Kyambogo amalirize diguli ye omwaka guno oluvannyuma...