TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Leero mu miko gyaffe egya Famire tukulaze obuvunanyizibwa bwa Maama ne Taata awaka.

Leero mu miko gyaffe egya Famire tukulaze obuvunanyizibwa bwa Maama ne Taata awaka.

By Musasi wa Bukedde

Added 2nd December 2018

Leero mu miko gyaffe egya Famire tukulaze obuvunanyizibwa bwa Maama ne Taata awaka.

Kab2 703x422

Margaret Nalukwago (mu gomesi) n’abaana be ku lujjuliro.

FAMIRE ly’ettendekero abazadde lye baayitangamu okugunjula abaana baabwe ne babakuliza mu mpisa ennuηηamu era ne babatendeka okubeera ab’obuvunaanyizibwa mu nsi. Abazadde baafubanga okutendeka abaana baabwe mu ngeri ez'enjawulo okuva nga bato.

Okutendeka abaana tekwakomanga ku maama ne taata bokka wabula kino kyakolebwanga abantu ab’enjawulo ab’oku kyalo n’abooluganda. Abazadde be baalinga abasomesa b’abaana baabwe abasooka era beegenderezanga ne mu bikolwa bye baakolanga kuba abaana baabayigirangako, era y’enjogera egamba nti, ‘Ennyonyi enkulu y’eyigiriza ento okubuuka. Baavunaanyizibwanga okutendeka abaana baabwe mu mpisa n’okubayigiriza okukola era n’enkolagana yaabwe n’abantu. Leero abazadde tebakyalina budde bw’abaana baabwe.

ABANTU AB’ENJAWULO BALAZE ENGERI GYE BAAKUZIBWAMU

Jimmy Katende omutuuze we Nakabugo: Mu famire twakula abaana musanvu, abalenzi bataano n’abawala babiri. Nnyaffe ye yali Naume Katende ne kitaffe ye mugenzi George William Katende bombi abagalamidde e Bbira - Nakabugo.

Bazadde baffe bombi baali Bakristaayo nga batya Katonda era nga batwagala nnyo. Bano baafuba okututendeka mu bintu eby’enjawulo era emirimu gyonna twagikolanga awatali kusosola baana bawala na balenzi. Okutendeka omwana tolina kumulinda kukula wabula alina okutendekebwa okuva nga muto era naffe baatutendeka okuva nga twakatandika okutegeera.

Maama yafuba okutendeka bannyinaze emirimu abawala gye balina okukola nga kuno kwaliko okulima, okufumba, okwoza ebintu n’okuyonja awaka. Wabula wadde emirimu gino yayagalanga nnyo okugitendeka bannyinaze, naffe abalenzi yafuba okugitutendeka era yatuyigiriza okufumba wadde nga taata yali tayagala tuguyige ffe abalenzi.

 

Ffe abaana abalenzi taata yatutendekanga okukola emirimu egy’amaanyi era yatutendekanga okutyaba enku, okwasa enku, okukima amazzi, okutema emiti, okulima n’emirimu emirala. Bazadde baffe tebaakoma ku kututendeka kukola mirimu gy’awaka gyokka wabula baatutendeka empisa ez'omu bantu.

Nnyaffe yatuyigiriza okuwa buli muntu ekitiibwa nga yatugaananga okuyita ku bantu nga tetubabuuzizza era twakula tubuuza buli muntu gwe twasanganga. Baatuyigiriza empisa ez'oku lujjuliro, bwe twatuukanga ku ssaawa ey'okulya, buli mwana awaka yalina amanyi bulungi nti bwe ziwera ssaawa munaana buli omu alina okubeera awaka okulya ekyemisana era essaawa zino bwe zaaweranga nga waliwo atali waka tebaamuterekeranga kyamisana ng'ekibonerezo okuggyako nga waliwo eyamutumye.

Omwana bwe yakomangawo nga bamubuuza oba gy’abadde tewabadde ntamu mwe bafumba mmere, kino kyatuyigiriza okubeeranga awaka okuggyako nga waliwo akutumyeBuli omu yalina essowaani ye gye yaliirangamu emmere, eya maama ne taata nga zo za njawulo ddala ku zaffe.

Kino kyatuyigiriza okuwa ebintu by’abakulu ekitiibwa era tewali mwana yaliiranga ku ssowaani eteri yiye. Ku lujjuliro, ffe twatuulanga wansi ku mukeeka okwetooloola olujjuliro ng’emmere tugiriira wamu wadde buli omu yaberanga n’essowaani ye mwe yakozanga.

Kino kyatuleeteranga okwegendereza nga tulya n’obutakola mululu kuba maama yabeeranga atutunuulira era nga bw’akulaba okola omululu akusimba eriiso n’otya ne weegendereza.

Ate ye taata yekka ye yatuulanga ku ntebe nga tulya emmere. Bazadde baffe baafuba okutuyigiriza okukolagana ne baganda baffe n'okwagalana ennyo ng'abooluganda. Kino kyatukuuma nga twagalana era nga buli omu afaayo eri muganda we n'okutuusa kati ffenna twakula wabula twagalana era tukolaggana.

Okutuyigiriza okukola enkolagana ennungi tekyakomanga ku baganda baffe bokka, wabula ne ku mikwano era bwe twali tusoma nga tutuuse mu bibiina ebya waggulu, mikwano gyaffe bwe baakyalanga awaka, taata ne maama baafubanga okubeetegereza n'okubalondoola ne bamannya enneeyisa yaabwe. Bwe baazuulanga abaalinga tebeeyisa bulungi mu bantu, baatugaananga okuddamu okukolagana nabo.

Kino kyatuyamba okubeera n’emikwano emirungi egyatuzimbanga era ne mu kiseera kino abamu bakyali mikwano gyaffe. Bannyinaze maama yababuuliriranga era omwana yagendanga okuweza emyaka 12 nga buli mulimu asobola okugukola yekka awaka nga tewali amuyambyeko.

Awo ku myaka 12 baabasindikanga mu bassenga baffe ne bongera okubatendeka engeri gye balina okutambuzaamu obulamu bwabwe. Ng’oggyeeko bazadde baffe okututendeka, n’abatuuze b’oku kyalo nabo baatutendekanga era baatubonerezanga nga tulina emisango gye tukoze, obutabuuza ku bantu be twasanganga mu kkubo ekyo nakyo kyatuloopesanga awaka era nga kitukubya n’emiggo.

 arah ikomeko Sarah Kikomeko

 ABAZADDE BAATUYIGIRIZA OKUKUUMA OBUMU MU MAKA

Livingstone Nsereko, omutuuze w’e Buloba annyonnyola nti: Twebaza bakadde baffe abaatukuza obulungi nga tuli bumu. Omwana bw’aba yaakagwa ku nsi, bajjajjaffe baatugambanga nti yakaabanga nga yeewuunnya ensi empya gy’aba azzeemu era abazadde ne batandikirawo okumulera obulungi, bwe yakulangamu ne bamuyigiriza okutuula, okutambula n’okwogera.

Baamutendekanga obutamala gakwata ku bintu ebitali bibye nga tafunye lukusa n’okwewala ebiyinza okumutuusaako obuvune okugeza ebyokya ng’omuliro. Baakozesanga enjogera n’engero n’emizizo okutendeka abaana n’okubakuuma nga balamu bulungi. Okugeza, obutatuula ku masiga nga bagamba towanvuwa.

Bino ennaku zino byafuuka bya sitaani kyokka nga byayigirizanga abaana ne bakula n’empisa. Omukyala yavunaanyizibwanga okutendeka abaana abawala era baabayigirizanga okufumba nga batandikira mu kubayigiriza kuwaata mmere n’okugifumba. Omwana bwe yakulanga yatandikiranga ku kusoma bya waka nga tannagenda mu ssomero ffe lye twayitanga gulendi.

Yavanga awaka ng’ayigiriziddwa ebikozesebwa mu nnyumba okugeza ekikopo, sowaani, ennyumba n’ebirala. Kyabanga kya buvunaanyizibwa omuzadde obutasula na baana, okusooka twasulanga mu nnyumba ez’ettaka wabula ng’ekisenge ky’abakulu bakizimba kituukira ddala waggulu okuziyiza abaana okubalumika.

Ennaku zino abazadde basula n’abaana mu bisenge bye bimu ekibaawula ntimbe era ekivuddemu be baana okwonooneka. Taata yatutendeka okukola ng’abaana abalenzi era bwe twawezanga emyaka musanvu, yatandika okutambula naffe.

Kitaffe yali mukomazi era ng’atuyigiriza okukomaga Sarah Kikomeko Livingstone Nsereko embugo mu mituba, nze natunga embugo ezaabanga ziyulise ze baayitanga ez’a kimote, twalundanga, bwe zaaweranga ssaawa 12 ng’embuzi teziteekeddwa kubeera mu kisibo.

 

ABAZADDE BAAFUNANGA OBUDDE NE BOOGERAKO NAFFE

Sarah Kikomeko 57, annyonnyola nti: Bazadde baffe baatuyigirizanga okwoza ebintu, okwera oluggya, okusiimuula ennyumba n’okufumba nga gy’emirimu abawala gye baasinganga okukola. Okufumba emmere baatuwanga ennaku era nga batuyigiriza engeri gye twali tulina okugiteekateeka obulungi.

Bwe twasobya nga batukuba kibooko, wabula omwana omugonvu bwe yeetondanga amangu nga bamusonyiwa. Abazadde baafunanga obudde okwogera naffe okusobola okututendeka empisa naddala mu budde obw’akawungeezi nga taata akomyewo awaka. Ku mulembe guno eddembe lye bawadde abaana lye libaleese okwonooneka era mu kiseera kino muliraanwa okubonereza omwana bakitwala ng’omusango omunene era babeera basobola okumutwala ne ku poliisi.

Ennyambala y’ennaku zino ekyuse nnyo, abaana bambala nkunamyo wabula ku mulembe gwaffe twayambalanga engoye empanvu. Ffe batutwalanga mu luwummula okuyiga ku mbeera z’abantu abalala n’engeri abantu abalala gye beeyisaamu, wabula mu mulembe guno abazadde tebakyesiga baηηanda zaabwe era batya okubalekera abaana.

OBUVUNAANYIZIBWA BWA TAATA NE MAAMA MU MAKA Olivia Namuli ow’e Kabowa muzadde era musomesa ayogera ku buvunaanyizibwa obw’enjawulo taata ne maama bwe balina mu maka. Obuvunaanyizibwa bwa taata:

1 Taata abeera nnannyinimu wabula nga maama akola ng’omuyambi we.

2 Taata abeera n’ekitiibwa mu bikolwa bye ng’omwana tasobola kumuyisaamu maaso okutandikira ku nnyambala.

3 Taata abeera mukulembeze awaka era y’awa ebiragiro ate nga tanyoomebwa.

4 Ebintu bya taata biweebwa ekitiibwa, yalinanga ekikopo n’essowaani ebyayitibwanga kigere kyanvubu, kino kyayigirizanga abaana okuwa ebintu by’abakadde baabwe ekitiibwa.

5 Taata yalyanga bulungi okusobola okuba n’amaanyi era yalyanga emmere ereeta amaanyi ekitali ku bataata ab’omulembe guno. Abasajja baalyanga mmere ewa amaanyi n’ebikaawa ne basobola okukola n’amaanyi okusobola okulabirira amaka gaabwe 6 Taata yakuηηaanyanga abaana era yayogeranga nabo mu budde obw’ekiro.

7 Taata yafuganga omumwa gwe, teyamalanga gasamwassamwa na bigambo, kino kyayambanga abaana okumuyigirako obutamala googerayogera ate n’okumuwa ekitiibwa.

8 Taata ye yabeeranga omukulembeze w’eddiini awaka ng’akubiriza abaana okusaba era n’okugenda mu ssinzizo. 9 Bwabanga buvunaanyizibwa bwa taata okumanya mikwano gy’abaana be.

10 Taata yalinga muyiiya ng’afuba okukola ssente era nga kizibu okumusanga ng’akaaba ssente oba nga talina mmere ya kuliisa maka ge. Obuvunaanyizibwa bwa maama:

Maama yabeeranga waka nga mukuumi kuba ye yabeererangawo taata mu byetaagisa w’atali.

Maama yabeeranga n’abaana n’abatendeka n’okubabuulirira.

Maama yalondoolanga abaana okumanya bye bakola ne be babeera nabo okusobola okubalambika ssinga babeera bakoze ensobi.

Bamaama baazibiranga bataata eri abaana nabantu abalala, nga tebakkiriza linnya lya bbaabwe kusiigibwa nziro okusobola okukuumaekitiibwa ky’amaka.

Maama teyasuulanga muggo kuba ye yasookerwangako mu kugunjula omwana naddala bwe yabangako ekikyamu ky’akoze awaka ne ku kyalo.

Empisa z’oku lujjuliro zaatandikiranga ku maama eyatuulanga ku lujjuliro n’abaana ne balya olwo n’alaba buli omu bwe yeeyisa era n’amutereeza.

Maama yayigirizanga abaana okukolagana n’abantu ne batabeera ba ttima ate ne bayiga n’okuyamba abantu abalala we kyetaagisiriza.

Maama yayigirizanga abaana okulabirira baganda baabwe n’okubalumirirwa ne bakula n’omutima ogw’obumu. Kino kyamalangawo obuggya omwana omukulu bwe yandifunye nga waliwo omuto azaaliddwa.

Era baabayigirizanga n’obukulembeze ate n’okuwulira eri abato nga n’abakulu tebabaatula mannya okuggyako okubayita baaba.  Maama yafubanga okulaba ng’atendeka abaana okubeera abakozi nga buli ky’akola abeera nabo n’okubawa eby’okukola eby’enjawulo olwo ne bakula nga basobola okwekolerera ne beeyimirizaawo

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Hse1 220x290

By’olina okumanya ng’ogula ennyumba...

Kya makulu omuntu akuguza ennyumba okukuwa ppulaani yaayo n’ogiwa omukugu nagyetegereza okukakasa nti ebiriko byagobererwa...

Ssenyonjo 220x290

Poliisi ezudde ebipya ku yatema...

POLIISI ezudde ebipya ku musajja Hamidu Ssennyonjo amanyiddwa nga Munomuno omu ku bagambibwa okuyingirira omugagga...

Mayiga 220x290

Katikkiro alaze engeri ebbula ly’amazzi...

KATIKKIRO wa Buganda, Charles Peter Mayiga ayongedde okukkaatiriza obukulu bw’amazzi mu bulamu bw’abantu n’agamba...

Bazigu1 220x290

Abazigu balumbye amaka e Munyonyo...

ABAZIGU balumbye amaka e Munyonyo ne batemaatema omukozi w’awaka Isa Birimusho n’okumusiba akandooya ne bamuleka...

Magaya 220x290

Abawala 98 banunuddwa ku babadde...

ABEEBYOKWERINDA banunudde abawala 98 ababadde bakukusibwa okutwalibwa mu nsi za bawalabu okukuba ekyeyo.