TOP

Ebibuuzo 20 ebikyebuuzibwa

By Josephat Sseguya

Added 2nd December 2018

Ebibuuzo 20 ebikyebuuzibwa

ERYATO eryasse abantu bwe lyennyise mu nnyanja, n’amazima agamu nago gaaliwerekedde ne gabbira mu nnyanja yeemu!

Tekimanyiddwa oba amazima ago gaasaaniddewo ddala; oba Katonda anaasaasira olunaku olumu ne gabbulukuka ne gadda ku ngulu, ensi n’emanya ekituufu ekyabaddewo n’abalina okunenyezebwa ku mbeera eyalese famire ezisukka mu 30 nga ziri mu maziga olw’abantu baabwe abaafiiridde ku lyato MV Templa.

Buli lunaku olukya, ebibuuzo byeyongera bweyongezi ate ng’eby’okuddamu byongera kukendeera. Okukoonagana kw’ebyogerwa bakaawonawo n’ebitongole ebivunaanyizibwa ku kukwasisa amateeka byongedde okuleetawo okwebuuza ku njuyi ebbiri luliwa olwogera amazima?

Minisita omubeezi ow’ebyentambula Henry Bagiire aba yaakamala okutegeeza nti abaali ku lyato poliisi yabalabula wabula ne bawalaza empaka nti era ne bagezaako n’okukuba abaserikale abaali bagaana eryato okusimbula; ate omugagga Fredrick Kiyimba amanyiddwa nga Freeman n’ategeeza nti abaserikale baabawaayo kye babawadde ne baleka eryato ganyegenya ne lisimbula okuva ku KK Beach Ggaba nga lyolekedde K-Palm Beach e Mukono.

Oyongera okutabulwa nga bakaawonawo kumpi bonna beegaanyi abaserikale nti tebaabalabulako nti eryato lye bagenda okulinnya liri mu mbeera mbi. Awuliriza enjuyi zombi asigala yeebuuza: Bakaawonawo be beewolereza oba abakwasisa amateeka be balina kye bakweka okwewala okunenyezebwa nti baasuulirira obuvunaanyizibwa bwabwe!     'Eryato lyaliko ekituli kye basibisa sementi akalirawo'       Wano we tubuuliza ebibuuzo 20 ebitannaddibwamu era ebikyabobbya abantu emitwe.

  1. Lwaki Hope Mukasa yalemera nnyo ku Iryn Namubiru okugenda ku lyato ate nga yali tagenda kuyimba. Era Lwaki Hope yeewuunya okulaba nga Iryn mulamu? (okunziira ku mboozi ya Iryn) 2. Nsonga ki endala ezaali zigaana Iryn Namubiru okugenda ku lyato wadde nga yali tannatuukayo kulaba nti eryato lyali mu mbeera mbi.
  2. 3. Kiki Freeman Kiyimba kye yagamba Iryn Namubiru eyali agaanyi okulinnya eryato era ng’amulumbye kumubuuzaako yeddire ewuwe, n’akkiriza okulirinnya?
  3. 4. Eryato eryakeerewa okumala essaawa ezisoba mu ssatu, kiki ekisiba abantu abalowoozebwa okuba aboobuvunaanyizibwa, essaawa ezo zonna nga bakyalirinze?
  4. 5. Ivan Mukasa, akola ku mwalo gw’e Ggaba alumiriza nti eryato lyaliko ekitali kye baasiba nga beeyambisa seminti akalirawo, gwe bayita water cement. Atwala bbanga ki okukala? Eryato okulwa essaawa ezo zonna baali balinda seminti ono kukala? Asobola okunywera ng’omusibye ku byuma, pulasitiika oba embaawo? 6. Iryn agamba nti bwe baali ku lyato nga bali ne Hope Mukasa baasooka ne balaba amazzi mu lyato nga bwe gabula. Bo ng’abaali baategedde ku buzibu bw’eryato lwaki tebaakimanyirawo nti kano kabonero ka katyabaga? 7: Lwaki tewali yali alondoola kituli kye baali bazibye ne seminti kulaba embeera gye kirimu? 8. Yingini n’ezikira ogusooka, ogwokubiri n’ogwokusatu naye era abavunaanyizibwa ku lugendo luno nga tebalabuka kuyita buyambi olugendo baluveeko? Kiki ennyo kye baali bagendako ku K Palm Bbiici kye baali batasobola kusazaamu oba kufa bafe? 9. Buzindere oba ye yali okumpi okusinga Mutima ate nga n’eryato lyazzeemu dda ekituli, kiki omugoba kye yali akyataasa obutalivuga kulitwala Buzindere awaali okumpi wadde nga waliwo amayinja? Yali afa kutaasa lyato mu kifo ky’abantu? Kituufu nti nnannyini lyato ye yaliri mu mitambo mu kiseera ekyo? 10.Kijja kitya nti, bangi abanyumya engeri gye baawona bakubagana empawa nga n’abamu bategeeza nti mukwano gwange gundi namukubira ssimu n’ajja n’amponya ate enkeera n’agamba nti eyamuwonya tamumanyi. Lwaki ennyumya yaabwe erimu okupalappalanya? Kiki kye bakweka? 11. Eryato eryasooka okujja okudduukirira bwe lyajja abantu 15 ne balinnya bawone nga Iryn Namubiru bw’anyumya, kijja kitya nti Iryn Namubiru eyali alabye ne ku mazzi agayingira nga baamugambye n’okumugamba nti liriko ekizibu ye teyalinnya? 12. Waliwo ebigambibwa nti, abantu abamu baabaggyirako ku kazinga akamu nga tebannatuuka mu nfo eryato we lyafunira akabenje, be b’ani abo, lwaki baavaako?
  5. 13. Olwo obudde bwe baabayitako ne basimbula ssaawa 10 ez’olweggulo olw’eryato okukeererwa, olwo baali bategeka kukomawo ssaawa meka okuva ku bbiici ya K Palm gye baali balaga? Jjukira abaana ba Templar baali bategekedde nnyaabwe akabaga akaalina okubeerawo ku Lwomukaaga olwo! 14. Bw’aba Hope Mukasa ye yayita Iryn Namubiru ate lwaki omugenzi John Bosco Nyanzi ye yali amufaako ate era Namubiru n’agattako nti ne Nyanzi oyo eyali amulabirira ennyo n’okumumanya yali tamumanyi? 15. Poliisi esinziira ku ki okugamba nti eryato lyali lijjudde okusinga ku muwendo gw’abantu ng’ate poliisi y’emu egamba nti yali terikeberangako kumanya mbeera zaalyo? Era kijja kitya nti yalireka ligenda n’akabindo n’ebalagira bulagizi okwambala obukooti bukataasabulamu ate n’etefaayo kukakasa nti bonna babwambadde? 16. Iryn Namubiru agamba nti akaato akaabatwala ku lyato eddene kaaliko obukooti bukataasabulamu (life jackets) busatu ate nga kaali kazizzaayo okutuusa lwe yayita omugoba waako azikomyewo. Obukooti bwali bwa kyeyagalire? Buli omu yali amanyi bw’akafuna oba baali bwa balondemu olw’obungi bw’abantu abaali basusse ku baalina okuba ku lyato? 17. Waliwo abalumiriza nti kano kaabadde kabenje kategeke okusaanyawo abagagga. Bwe kiba ekituufu ani yakikoze era lwaki? Lwaki Templar yandiwaddeyo obulamu bwe n’obwa mukyalawe mu lyato ly’amanyi obulungi nti liriko ekituli, baleke abaana baabwe abato bwe batyo? 18. Eryato lye baali baasoose okusaba okubatwala ddala lyali ffu oba lyabagaanibwa bugaanibwa nabo kye baava basalawo okumala gakozesa lye balinako obuyinza? 19. Abagoba b’eryato lino abagambibwa nti baaliddukako nga terinnatandika kubbira lwaki baakikola era bali ludda wa kati? Ddala kituufu nti baasooka kukuba ku KK bbiici nti eryato lifunye obuzibu naye nnyiniryo abakaka beeyongereyo? 20. Ani alimba era lwaki?

13. Olwo obudde bwe baabayitako ne basimbula ssaawa 10 ez’olweggulo olw’eryato okukeererwa, olwo baali bategeka kukomawo ssaawa meka okuva ku bbiici ya K Palm gye baali balaga? Jjukira abaana ba Templar baali bategekedde nnyaabwe akabaga akaalina okubeerawo ku Lwomukaaga olwo! 14. Bw’aba Hope Mukasa ye yayita Iryn Namubiru ate lwaki omugenzi John Bosco Nyanzi ye yali amufaako ate era Namubiru n’agattako nti ne Nyanzi oyo eyali amulabirira ennyo n’okumumanya yali tamumanyi? 15. Poliisi esinziira ku ki okugamba nti eryato lyali lijjudde okusinga ku muwendo gw’abantu ng’ate poliisi y’emu egamba nti yali terikeberangako kumanya mbeera zaalyo? Era kijja kitya nti yalireka ligenda n’akabindo n’ebalagira bulagizi okwambala obukooti bukataasabulamu ate n’etefaayo kukakasa nti bonna babwambadde? 16. Iryn Namubiru agamba nti akaato akaabatwala ku lyato eddene kaaliko obukooti bukataasabulamu (life jackets) busatu ate nga kaali kazizzaayo okutuusa lwe yayita omugoba waako azikomyewo. Obukooti bwali bwa kyeyagalire? Buli omu yali amanyi bw’akafuna oba baali bwa balondemu olw’obungi bw’abantu abaali basusse ku baalina okuba ku lyato? 17. Waliwo abalumiriza nti kano kaabadde kabenje kategeke okusaanyawo abagagga. Bwe kiba ekituufu ani yakikoze era lwaki? Lwaki Templar yandiwaddeyo obulamu bwe n’obwa mukyalawe mu lyato ly’amanyi obulungi nti liriko ekituli, baleke abaana baabwe abato bwe batyo? 18. Eryato lye baali baasoose okusaba okubatwala ddala lyali ffu oba lyabagaanibwa bugaanibwa nabo kye baava basalawo okumala gakozesa lye balinako obuyinza? 19. Abagoba b’eryato lino abagambibwa nti baaliddukako nga terinnatandika kubbira lwaki baakikola era bali ludda wa kati? Ddala kituufu nti baasooka kukuba ku KK bbiici nti eryato lifunye obuzibu naye nnyiniryo abakaka beeyongereyo? 20. Ani alimba era lwaki?

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Sky2 220x290

URA eggaddewo SkyLight Arcade abasuubuzi...

WAABADDEWO akassattiro mu kibuga abasuubuzi abakolera ku kizimbe kya Sky Light Arcade bwe baasanze ng'amaduuka...

Ssaavabazigu1 220x290

Abagambibwa okubba Abachina e Nkoowe...

ABAVUBUKA abagambibwa okubbisa eryanyi nga bakozesa emmundu basimbiddwa mu maaso g’omulamuzi wa kkooti Enkulu etuula...

Sooto2 220x290

Embeera ya Ppaaka Enkadde: Okw'enkuba...

Enkuba bw'etonnya Ppaaka enkadde fuula nga kiraalo kya nte!

Kubbiri6 220x290

Olutalo lwa Ssennyonga ne Kakande...

OMUSUMBA Jackson Ssennyonga aguze ekizimbe okumpi n'ekkanisa ya Nabbi Samuel Kakande ku bbiri e Mulago, embiranye...

Kabz 220x290

Kabushenga asiimye KCCA FC

"Kino kigenda kumpaliriza okulaba emipiira gya KCCA nga ntandiika n'ogwa CAF Confederations Cup.