TOP

Olutalo lwa Muhangi ne Mansoor Young luzzeemu

By Moses Kigongo

Added 2nd December 2018

Olutalo lwa Muhangi ne Mansoor Young luzzeemu

Jib2 703x422

Charles Muhangi kkooti gweyawa obuyinza ku bizimbe okuli Qualicel ne Nabukeera

OMUGAGGA Charles Muhangi alabudde okusiba mugagga munne Mansoor Yanga lwa kugezaako kugaana basuubuzi be abakolera ku kizimbe kya Bazannya n'Engo(ekyali Nabukeera) okumusasula ssente z'obupangisa.

Muhangi okuyisa okulabula kuno kidiridde Yanga okuwandiikira abasuubuzi b'oku kizimbe kino obubaluwa obumanyidwa nga "kiro kitwala omunaku" ng’abalabula obutagezaako kusasula Muhangi  ssente z’obupangisa wamu n’okwewandiisa mu kizimbe kye ekintu ekyatabudde Muhangi n'amulabula okumusiba ssinga anadamu okukikola.

“Ngenda kulondoola Yanga musibe singa anaddamu okuwandiikira abasuubuzi bange obubaluwa bwa kiro kitwala omunaku kubanga tekirinaano buvunanyizibwa essaawa eno,bwatyo Muhangi bwe yategeezeza ng’ali mu offiisi ye eri ku luguudo Namirembe.

Wabula Yanga bwe yatuukiridwa kunsonga eno yakiriza nga bwe yawandiise obubaluwa buno ng’agezaako okutaasa abasuubuzi  baleme kubbibwa Muhangi gw'agamba nti  talina biwandiiko biraga bwannanyini bwa kizimbe ekyo.

Olutalo lw’abagagga bano(Muhangi Drake Lubega ne Yanga) lwatandise ku ntandikwa ya November nga 5,Muhangi bwe yawambye ettaka lya Qualicel Bus Terminal okutudde ebizimbye okuli ekya Qualicel(ekya Lubega) ne Nabukeera (ekya Yanga) oluvannyuma lwokuteeka mu nkola ekiragiro kya kooti enkulu(supreme court) kye yamuwa mu 2017 ng’emulagira okweddiza ekifo kino.

Era wano we wavude olutalo olufuuse nnamulanda wakati w’abagagga bano mu kibuga wakati.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kakozaemmotokazeazilabiriraokusikirizabakasitomawebuse 220x290

Mmotoka enkadde mwe nkola ssente...

Wazir Kakooza alaga lwaki omuntu yeetaaga kuyiiya kyokka okukola ssente mu kifo ky'okunoonya emirimu.

Miss 220x290

Abavuganya mu mpaka za Miss Uganda...

Abawala 22 abavuganya mu mpaka za Miss Uganda battunse mu mpaka z'okwolesa talanta

Eyeclinicwebuse 220x290

Kw'olabira amaaso ageetaaga okujjanjabwa...

Kebeza amaaso go buli mwaka okutangira obuzibu okusajjuka ssinga gabeera malwadde

Img20190718132844webuse 220x290

Abakyala mukole ebiraamo okutangira...

Abakyala muve mu kwezza emabega mukole ebiraamo okuwonya abaana bammwe okubbibwa n'obutafuna mu ntuuyo zammwe

Bala3 220x290

Abaabadde ne Prince Omar ng'akwata...

OMUYIMBI amanyiddwa nga Prince Omar bwe yabadde akola vidiyo ye abaamuwerekeddeko baalidde emichomo gyennyama kw'ossa...