TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Balaajanidde Gavt. okwongera ku ddagala lya sukaali

Balaajanidde Gavt. okwongera ku ddagala lya sukaali

By Musasi wa Bukedde

Added 3rd December 2018

Kasozo yagambye nti singa gavumenti eteeka eddagala lino mu malwaliro naddala aga gavumenti ababulina basobola okubeerawo okuwangaala.

Sukaali2 703x422

Abamu ku balwadde ba sukaali e Wakiso ku mukolo gwabwe gw'okujaguza olunaku lw'abalwadde ba sukaali ku ddwaaliro e Wakiso.

ABALWADDE ba sukaali ne puleesa mu Wakiso abeegattira mu kibiina kya Wakiso Diabates Association balaajanidde gavument ebongere ku ddagala mu malwaliro.

Bino byayogeddwa omuyima w’ekibiina ekigatta abalwadde ba sukaali mu Wakiso Vicent Kasozo era nga ye ssentebe w’abasuubuzi mu Wakiso wiiki ewedde, ku mukolo gw’okujaguza olunaku lw’abalwadde ba sukaali mu disitulikiti ya Wakiso nga gwabadde ku ddwaaliro lya gavumenti e Wakiso erya Wakiso Health Center IV.

Kasozi yategeezezza nti abalwadde ba sukaali obulamu bwabwe bubeerawo ku ddagala kyokka ng’eriri mu malwaliro terimala.

Yagambye nti singa gavumenti eteeka eddagala lino mu malwaliro naddala aga gavumenti ababulina basobola okubeerawo okuwangaala.

Kasozi era yagambye nti agenda kutandika okusaba obuyambi okuva mu mawanga g’ebweru abalwadde ba sukaali e Wakiso basobole okufuna eddagala eribamala.

Amyuka akulira eddwaaliro lino,  Isa Lukwago yategeezezza ng’abasawo bwe baasooka okulagajjalira obulwadde buno okutuusa bwe baalaba nga bumalawo abantu.

Dr. Lukwago yakubirizza abalwadde ba sukaali okukola dduyiro basobole okukuuma emibiri gyabwe nga miramu bulungi.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kkooti1 220x290

Poliisi eremeddwa okutwala fayiro...

POLIISI eremeddwa okutwala fayiro eriko omusango gw’okutemula eyali omwogezi wa poliisi, Andrew Felix Kaweesi mu...

Luwum 220x290

Abattakisi beegugunze olw’okuggala...

ABAGOBA ba takisi mu ppaaka enkadde abakozesa omulyango oguli ku Luwum Street bavudde mu mbeera ne bateeka akaziko...

Namanve 220x290

Ab’e Namanve balaajanidde ab’ekitongole...

ABATUUZE b’e Namanve (Kireku leerwe) abali ku ttaka ly’ekitebe ky’eggaali y’omukka, balaajana oluvannyuma lw’ekitongole...

Remassebunnya 220x290

Eyeekiika mu bba wa Rema aggyeeyo...

OMUSAJJA eyavaayo ne yeesimba mu bba wa Rema, abamu kye baataputa ng’ayagala okugootaanya emikolo gy’okwanjula,...

Brian 220x290

Mukula atutte Bryan White mu kkooti...

BRYAN White, ebibye bibi. Kkampuni ya Capt. Mike Mukula emututte mu kkooti lwa kumuguza mmotoka ku doola 120,000...