TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Abakulembeze b'enzikiriza mubeere n'amazima - Mayiga

Abakulembeze b'enzikiriza mubeere n'amazima - Mayiga

By Musasi wa Bukedde

Added 3rd December 2018

Mayiga yasabye omulabirizi w’e Mukono Rt. Rev. Bp Ssebaggala okukangavvula abaawule n’abakozi b’obulabirizi buno abakola emirimu akasoobo nti bano tebaba na busobozi buyitimusa n’okukulaakulanya ekkanisa okugituusa ku ntikko.

Omulabiriziwemukonortrevbishopjameswiliamssebaggalangalikobyanyonyolakatikkirocharlespetermayiga 703x422

Omulabirizi Rev. Bishop James Wiliam Ssebaggala ng'aliko by'annyonnyola Katikkiro Mayiga.

Katikkiro wa Buganda, Charles Peter Mayiga akuutidde abakulembeze ab’enzikiriza ez’enjawulo okuba abeerufu  mu bye bakola  kibasobozese okwanguyirwa okutuukiriza obuvunaanyizibwa obuba bubakwasiddwa.

Yasinzidde ku mukolo gw’okujaguza  emyaka 34 bukya bulabirizi bw’e Mukono  butandikibwawo oluvannyuma lw’okukutulwa ku bw’e Namirembe  mu 1984. Obulabirizi buno bwasooka kukulemberwa omugenzi Livingstone Mpalanyi Nkoyoyo, eyaddirirwa Michael Ssenyimba mu 1992 okutuuka mu 2002, n’addirirwa Eriya Paul Luzinda eyatuuzibwa mu 2002 okutuuka mu 2010, ng’ono  ye yaddirirwa Rt. Rev. Bishop James William Ssebagala akyaliko.

Mayiga eyabadde omugenyi omukulu yagambye nti abakulembeze ab’omulembe guno bayitirizza okukolera ebintu mu mbeera etali ya bwerufu nga be basingidde ddala okusiga enneeyisa etali  nnungamu eri be bakulembera n’abaana.

Yasabye omulabirizi w’e Mukono Rt. Rev. Bp Ssebaggala  okukangavvula abaawule n’abakozi b’obulabirizi buno abakola emirimu akasoobo nti bano tebaba na busobozi buyitimusa n’okukulaakulanya ekkanisa okugituusa ku ntikko. Mayiga era yekkokodde  embeera z’abavubuka abayitirizza okwagala ebirungi  wabula nga tebeetegese kubifunira  mu kkubo ggolokkofu  n’abo abaagala obugagga  kyokka nga tebaagala kukola kyagambye nti kisudde bangi mu buzibu okuli okusadaakibwa n’okubatunda ng’ abaddu mu mawanga ag’ebweru.

Ate Rt. Rev. Bp. Ssebaggala yagambye nti asanze okusomoozebwa mu bulabirizi ku nsonga y'obutawa babuulizi nsimbi ez’akasiimo eri ababa batuuse okuwummuzibwa n’ensonga ya bannakigwanyizi abeefunyiridde okwagala okweddiza ettaka ly’obusumba  bw’e Kisowera.

Wabula  yasiimye  akakiiko k’obulabirizi bw’e Mukono akamuyambye ennyo  mu kuyitimusa eby’enjigiriza mu masomero g’obulabirizi  okuli okuddaabiriza ebizimbe by’amasomero, okugafunira abasomesa abatendeke n’okutandikawo pulojekiti  ez’enjawulo.

Katikkiro yawerekeddwako Namasole Margaret Ssiwoza, Ssekiboobo  Alex Benjamin Kigongo Kikonyogo, omubaka  w’obugwanjuba bwa Mukono, Johnson Muyanja Ssenyonga n’abalala.

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Mathiaskatamba 220x290

Katamba alondeddwa ku bwassentebe...

Katamba alondeddwa ku bwassentebe bwa Uganda Bankers Association

Multi10 220x290

Aba Multiplex bazzeemu okukola...

Aba Multiplex bazzeemu okukola lisiiti ne zinyooka

Ken1 220x290

Sipiika alagidde ministry ya Foreign...

Sipiika alagidde ministry ya Foreign affairs okuyamba Kenzo akomewo eka

Jud1 220x290

Jude Color Solution ekakasiddwa...

Jude Color Solution ekakasiddwa okufulumya masks

Images 220x290

Biibino ebibuuzo ebikyebuuzibwa...

Abantu abakwatibwa bajjanjabibwa kumala bbanga ki okuwona? Kisinziira engeri obulwadde buno gye bubeera bukukosezzaamu....