TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Engeri bambega ba poliisi gye baakunyizza Zaake okumala essaawa 7!

Engeri bambega ba poliisi gye baakunyizza Zaake okumala essaawa 7!

By Moses Nsubuga

Added 4th December 2018

Omubaka wa munisipaali y’e Mityana, Francis Zaake Butebi amaze ku poliisi essaawa ezisukka omusanvu nga yeewozaako.

Wano 703x422

Omubaka Zaake, looya we Nicholas Opio (ku kkono) n’omuyambi we Okoler Opio nga batuuka e Kibuli ku kitebe kya bambega ba poliisi.

Agenze okuva mu kasenge ka bambega nga yenna alabika mukoowu.

Bwe bamaze okumubuuza ebibuuzo ku misango gy’okulya mu nsi olukwe n’okutoloka ku bapoliisi, ate ne bamulagira alinde abasawo ba gavumenti bamukebere oba ddala akyali mulwadde oba yeekoza! Zaake yatuuse ku kitebe kya bambega ba poliisi e Kibuli ku ssaawa 2:30 ez’oku makya.

Yasoose kulindira mu mmotoka ye Prado TX ng’agalamidde n’okugolola amagulu ng’agamba nti gakyamuluma. Obwedda ayogera n’obukkakkamu mu ddoboozi erya wansi.

Yagambye nti tasobola kwetengerera ng’atambula okuggyako nga yeewaniridde n’omuggo gwe. Era yagambye akyetaaga obujjanjabi omuli ne masaagi mu bitundu by’omubiri (physiotherapy).

Ku ssaawa 4:15 looya we Nicholas Opio yazze n’anona Zaake mu mmotoka n’amutwala mu ofiisi ya bambega.

Yawerekeddwaako babaka banne okwabadde Latif Ssebaggala (Kawempe North), Mukasa Mbidde (Palamenti ya East Afrika) ne Wilfred Nuwagaba (Ndorwa South). Kuno kwossa kansala Mohammed Ssegirinya.

Bano munda baabagobyemu okuggyako Mukasa Mbidde ne balooya ba Zaake.

Zaake baasoose kumukunya ku musango gw’okulya mu nsi ye olukwe.

Yabuuziddwa ebibuuzo ebitali bimu obwedda ebimutuuyanya ng’era looya we Opio obwedda afuluma ekizimbe nga bw’akiyingira okumunoonyeza ebyokunywa ssaako n’eddagala lye.

Oluvannyuma Zaake baamubuuzizza annyonnyole ku by’okutoloka ku bapoliisi bwe yadduka mu ddwaaliro mu Arua n’agenda e Lubaga.

Bino yabyegaanye n’agamba nti ab’ebitongole by’ebyokwerinda be baamutwala e Lubaga kuba ye mu kiseera ekyo yali tategeera biri ku nsi.

Olwamaze okumukunya, abaserikale ne bategeeza balooya be nti balindeko ku basawo ba gavumenti abaakebera Zaake ng’afuluma eggwanga okujjanjabibwa e Buyindi, bajje (e Kibuli eggulo) baddemu bamwekebejje abaserikale bakakase oba ddala mulwadde oba yeekoza.

Ku ssaawa 10:47 ez’olweggulo, baamutadde oluvannyuma lw’okulinda abasawo nga tebalabikako.

Babaka banne abaamuwerekedde e Kibuli baamweyimiridde olwo abaserikale ne bamulagira addemu okweyanjula ku Lwokusatu (enkya) ku ssaawa 4:00 ez’oku makya.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Annotation20190718192802 220x290

Okwogera kwa Pulezidenti Museveni...

Okwogera kwa Pulezidenti Musevebni eri eggwanga. Tuli mu maka g'Obwapulezidenti e Nakasero

Massagebeingdonewebuse 220x290

By'olina okutunuulira nga tonnakola...

Nakola masaagi ne ntemwako okugulu era ntambulira mu kagaali - Dr. Karuhanga

Omukubayizingalikobyanyonyolawebuse 220x290

Abawala abazaddeko mubazze mu masomero...

Abawala abazaddeko okudda mu masomero kyakuyigiriza abalala obutakola nsobi n'okubudaabuda abafunye obuzibu bwe...

Teekawo1 220x290

Akakiiko ka bannamateeka kasazizzaamu...

OLUKIIKO olufuzi olwa bannamateeka ba Uganda Law Society olukwasisa empisa lusazizzaamu ekibonerezo ky'emyaka ebiri...

Club 220x290

Vipers bagitutte mu kkooti lwa...

KIRAABU ya Vipers bagitutte mu kkooti lwa kukozesa akabonero kaayo (logo) nga tebasasudde yakakola. Era eyabawawaabidde...