TOP

Omulamuzi alabudde abavunaanibwa ne Bobi Wine

By Martin Ndijjo

Added 4th December 2018

OMULAMUZI wa kkooti ento e Gulu alabudde abantu abavunaanibwa ne Bobi Wine abateeyanjudde nti ajja kuwa ekiragiro bakwatibwe lwa kujeemera kkooti.

Wadri1 703x422

Omubaka Wadri (ku ddyo), Bobi Wine, Eddie Mutwe (ow’ekirevu wakati), Mabikke (ku kkono) n’abalala ku kkooti e Gulu.

Abataalabiseeko mu kkooti e Gulu eggulo kuliko ababaka Gerald Karuhanga (Ntungamo Municipality), Paul Mwiru (Jinja East), Shaban Atiku, Wilson Gamba n’abalala nga bano bonna bannabyabufuzi.

Bavunaanibwa kulya mu nsi lukwe, nga kigambibwa nti baakuba mmotoka ya pulezidenti amayinja ne bagyasa endabirwamu y’emabega nga August 13, 2018 mu kibuga Arua.

Eggulo ababaka Bobi Wine ne Kasiano Wadri ne bannabyabufuzi abalala 26 beeyanjudde mu kkooti mu maaso g’omulamuzi Isaac Imran Kintu okwongera okutegeera eby’okunoonyereza mu misango gwabwe we bituuse.

Kyokka bano kyababuuseeko omuwaabi wa gavumenti, Paul Weponde bwe yasabye kkooti omusango gwongezebweyo kubanga poliisi ekyakuhhaanya bujulizi.

Abawawaabirwa bwe baawulidde bino ne basaba kkooti ewe oludda oluwaabi obudde obumala okukuhhaanya obujulizi omulamuzi kwe kuwa ebbanga lya mwezi gumu.

Ebbanga lino teryasanyusizza bawawaabirwa abaagambye nti ttono nnyo nti waakiri gyandibadde emyezi mukaaga kibasobozese okwemalira ku mirimu gyabwe kuba buli lwe bagenda e Gulu boonoona ensimbi n’obudde.

Ye Kasiano Wadri yatiisizza nti singa kkooti eno tebasindika mu kkooti nkulu kutandika kuwoza mu February 2019, tebajja kuddamu kweyanjula mu kkooti y’e Gulu.

Omu ku balooya abawolereza abawawaabirwa, Henry Komakech Kimala yasabye kkooti eragire abakulira okunoonyereza ku misango ku poliisi mu Arua ne Gulu bajje mu kkooti baginnyonnyole ebikwata ku bintu ebyaggyibwa ku bawawaabirwa omuli amasimu, kompyuta n’emmotoka.

Abavunaaniddwa kuliko Faruk Abdurahamad, John Ssebuufu, Tom Asiku, Rasul Odonga, Wlberforce Tamale, William Nyanzi Muamawulire sisi, Tom Drayi, Tom Wani, Juma Amidu, Shabni Atiku, Tumusiime, Ismail Kasule, Nelson Mandela, Simon Obeti, Stephen Ojotre, Habib Osega, Mohamad Ijala, Charles Hamiku, Benald Andama, Doka Andama Anywar, John Bosco Odongo, Noor Mansur Tutelezi, Basir Ijotre, Amidu Galumbe, Maida Alara ne Caroline Nalubowa.

Bakomawo mu kkooti nga January 10, 2018 Baasoose kusazaamu kivvulu kya Bobi Wine Ku Ssande poliisi yasoose kugaana kivvulu kya Bobi Wine ekya ‘Kyarenga’ ekyabadde kitegekeddwa aba Fire Base ku Smiling Panda ekimu ku bifo ebisanyukirwamu mu Gulu.

Ezekiel Emitu, aduumira poliisi mu kitundu kya Aswa yategeezezza nti ekivvulu kino okusazibwamu kyavudde ku bategesi obutategeeza ku poliisi mu budde okusobola okubawa obukuumi. Wabula bino byawakanyiziddwa Bobi Wine eyagambye nti yawandiikira poliisi wiiki ssatu emabega.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Nsamba22pulaaniusewebuse 220x290

Mukuume obumu musobole okwekulaakulanya...

Ab'ekika ky'Engabi beetaaga obukadde 13o okuzimba ekiggwa kyabwe

Omwala2webuse 220x290

Ab'e Kansanga beeraliikirivu olw'omwala...

Abatuuze e Kansanga mu Makindye beeraliikirivu olw'omwala ogwasalamu ekkubo gwe bagamba nti gwandigwaamu abaana...

Babaka1 220x290

Sipiika tuyambe naffe baagala kututta...

ABABAKA ba Palamenti musanvu baddukidde ewa Sipiika nga balaajana nti waliwo ababalondoola abaagala okubatta nga...

Kasasiro11webuse 220x290

Ab’obuyinza batadde amateeka amakakali...

Kasasiro mu kibuga Mukono yeeraliikirizza abakulembeze n'abatuuze ne basaba Gavumenti ebayambe

Besigye1 220x290

Poliisi e Jinja ezzeemu okulemesa...

POLIISI e Jinja ezzeemu okukwata eyaliko pulezidenti w’ekibiina kya FD, Dr. Kizza Besigye n’emuggalira ku poliisi...