TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Omukozi wa Templa anyumizza engeri bboosi gye yafiira mu lyato

Omukozi wa Templa anyumizza engeri bboosi gye yafiira mu lyato

By Dickson Kulumba

Added 4th December 2018

OMUKOZI wa nnannyini lyato eryasse abantu agamba nti yasembye okuwulira mukama we ng’alaajana mu ddoboozi ekkangufu nti: Katonda wange kiki kino? Olwo eryato lyabadde litabuse nga litandise okubbira!

Templa 703x422

Templa ne mukyala we abaafiiridde mu lyato. Ku ddyo ye Yiga anyumya

Abantu nabo nga balaajana era Templa Junior Bisase naye ng’asobeddwa. Nnannyini lyato Templa ne mukazi we Sheila Bisase nabo baafiiridde ku lyato lyabwe lino eryasse abantu abasoba mu 30 okumpi ne Mutima Beach e Mukono.

Omuvubuka ono Ian Kizito Yiga 23, yali amaze ekiseera ng’akola gwa kuyooyoota bizimbe bya Templa ku K-Palm Beach gye baali bagenda okuggulawo kw’olwo.

Okunyumya bye yalaba n’engeri gye yasimattukamu akabenje ng’akozesa ekidomola, asooka kussa bikkowe ng’alinga atannakikkiriza nti yasimattuka.

Ebyatuukawo abittottola bw’ati: Eryato lino ffe twasooka okulitambulirako nga lituggya ku K- Palm we twasooka okukakasa nti buli kintu kiteredde bulungi.

Eryato eryo lyennyini lyatuvuga okuva ku K-Palm okutuzza e Ggaba okukima abacakaze abaali batulinze tubatwale ku K-Palm we baali bategese akabaga kaabwe.

Mu kujja ku KK Beach e Ggaba tetwasanga buzibu bwonna era eryato lyatutambuza bulungi.

Obuzibu lyabufuna tumaze okussaako abacakaze nga tusimbudde okwolekera K-Palm. Lyasooka yingini n’ezikiramu nga tuyisizza ku ‘Water’ awo ne bagikolamu era mu ddakiika nga ttaano n’etereera.

Naye tuba twakavugira eddakiika nga 30, eryato ne litandika okuyuuga n’okwesulika ne lyekubira oludda lumu. Abalivuga baatandika okugamba abantu nti, “Bannange bwe mulaba eryato lyewunzise nga mudda ku ludda olulala eryato lisobole okubaalansinga (okutereera)…”.

Ffe ng’abalibaddeko twakitegedde nti eryato lifunye ekizibu. Twagenze okukebera nga liyingiddemu amazzi, ne tutandika okusenamu amazzi kyokka nga lizzeemu ekituli ekinene wansi.

Twatandise okukubira bannaffe ab’amaato amalala bajje batutaase.

Templa yakuba amasimu mangi ku KK Beach ne K-Palm ng’asaba bannaffe bajje batutaase naye ebyembi, eryato lyatabuka tebannatutuukako.

Templa yalaba embeera etabuse n’agenda ew’omusajja eyali alivuga ne batandika okulitetenkanya bombi.

Yagezaako okulwana alizze ku lukalu olwa bbiici ya Mutima naye mu kugenda bwati nga wabulayo mmita nga 100 okutuuka, eryato ne litandika okukka era yingini n’ezikira omulundi gumu.

Yingini olwazikira, eryato lyasigala awo wamu nga litengejja, wabula nga likyayingiza amazzi mangi.

Twatandika okulaajana abali ku Mutima Beach bajje batutaase wabula ekyaleeta obuzibu nga kuliko “myuziki” (ekidongo) ndowooza abaali ku Mutima ne balowooza nti bye bya bulijjo abantu bye babeeramu nga basanyuka ku “Boat Cruise” (ebbinu ly’oku lyato).

EKIDOMOLA KIMPONYA

Twali tuli mu buzibu bwa maanyi naye baalwawo okukitegeera. Nze ekyamponya kwe kugenda mu yingini gye nnali ndabye ekidomola ekikalu era ne nkisikayo. Nnakisibako akaveera ku mumwa ne nkikwatira mu kifuba nga nninze ekiddako.

Nagenda okulaba ng’eryato litandise okwewunzika, ebintu ne bitandika okugwa mu mazzi era n’ogumu ku mizindaalo ne gugwayo.

Nga tuyiika mu nnyanja, nnalaba Templa ng’ali waggulu ku lyato ng’alaajana nti “Katonda wange kiki kino? Mutuyambe….Mutuyambe…. era ebyo bye bigambo bya mukama wange bye nasemba okuwulira, ne nzigwerayo mu nnyanja! Nnazzeemu okuwulira nti mukama wange ne mukazi we nabo baafiiridde mu mazzi.

Okulwana okuva mu mazzi, ekidomola kye nnali nnyweerezza mu kifuba kye kyannyamba.

Amayengo gaakuba abantu bangi nga gabazza eri mu mazzi amangi gye twali tuvudde, kyokka nze nga nnyweeredde ku kidomola.

We nnali hhenda okufiira weewo omuvubuka eyajja ng’awuga n’anneekwatako ne mugamba nti ndeka ogenda kunzita ko ye nti, “Ntaasa nange hhenda kufa”.

Nnagezaako okumwetakkuluzaako ne bireme era awo kwe kumugamba nti, “Muganda wange tetulwana kubanga bwe tudda mu kulwana ffembi tufudde”

Yampuliriza era ne mugamba nti kati kye tulina okukola kwe kufuba okunyweza ekidomola kino kitutaase ffembi, ko ye kale.

Yambuuza nti, “Omanyi okuwuga, kko nze nedda wabula ne nziramu okukikkaatiriza nti “ekidomola kino kye kitutaasa”.

Yahhamba nti ekirungi ye amanyi okuwuga era n’ahhamba nti, “Kati tukwate ku kidomola kino, emitwe tugikuumire waggulu okutuusa lwe tunaafuna abatudduukirira” era bwe kyali.

Twamala eddakiika nga 20 nga tuli ku mazzi nga tebannatutaasa ng’amaato agajja galina be gasooka okutwala.

We baatutuukirako ng’amazzi gatandise okunnyingira mu matu; Yahhumya nti “Ojja kumalako, nnywerera ku kidomola kyokka”.

Eryato eryajja okutaasa abantu nalyo lyayiikamu tulaba, kyokka munnange nga ku buli lyato erijja ahhamba nti tosooka kupapa, ennyanja tebagipapirako beera mukkakkamu.

Oluvannyuma twalaba abajja okututaasa era ne tusobola okutuuka ku lukalu.

Munnange oyo yahhamba nti akolera ku KK Beach lwakuba ssaamubuuza mannya ge.

Ebbanga lye twamala nga tukyali ku mazzi ng’emirambo tugiraba era egisinga nga gya bakyala.

Abajja okutaasa baasalawo okusooka okutaasa abo abakyali abalamu ng’abafu babanonayo luvannyuma.

Sheila (mukyala wa Templa) nnasemba kumulaba nga twogera ku ky’okusenamu amazzi.

Omanyi baasooka kusena ago agaali mu maaso ate mu makkati abantu abangi we baali bayimiridde nga kizibu okugamba abantu nti, “Muveeyo tusenemu amazzi…” Bakama bange abo bombi baafiira mu maanyi!

Eryato nalyo lyatwewuunyisa kubanga libadde likola buli kadde ate abantu babadde balyagala nga tebalifunirangako buzibu bwonna.

Ate naabo abaafikkira baasigala bayomba olw’okubaleka. Eyali avuga eryato siddangamu kumulaba okuva akabenje lwe kaagwawo ate twakuba ku ssimu ze nga teziriiko!

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kavuma1jpgweb 220x290

Omukazi yanfera omukwano

Nze Abdurrahman Musingunzi 25, mbeera Kalerwe. Twasisinkana n’omukazi mu ttendekero erimu eryobusomesa e Ibanda...

Mwana2jpgweb 220x290

Abazadde basobeddwa olw'omwana...

Abazadde basobeddwa olw'omwana waabwe okuyubuka olususu buli olukya naye nga tebamanyi kimuluma. Bagamba nti omwana...

Kadaga 220x290

Kadaga alabudde abakozesa obwana...

Sipiika wa Palamenti, Rebecca Kadaga asabye gavumenti okussaawo amateeka amakakali agakangavvula abakozesa abaana...

Ndagamuntuyomugenzi2 220x290

Afiiridde mu mulyango nga bamutwala...

Abatuuze basabye bannannyini mayumba okukomya okupangisa abantu amayumba nga tebafunye bibakwatako

Sat2 220x290

Ttiimu 40 zikakasizza okwetaba...

Ttiimu 40 zikakasizza okwetaba mu mpaka za Begumisa cup