TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Ababaka bakunyizza Bagyenda owa Bbanka Enkulu n'atuuyana

Ababaka bakunyizza Bagyenda owa Bbanka Enkulu n'atuuyana

By Kizito Musoke

Added 4th December 2018

ABABAKA bakunyizza eyali akulira okulondoola emirimu mu Bbanka Enkulu, Justine Bagyenda n’atuuka okutegeeza nga bw’akaddiye atakyasobola kujjukira byaliwo we yabeerera mu ofiisi.

Wala 703x422

Bagyenda ng’asiimuula entuuyo. Ku ddyo, Bagyenda ng’akuba ekirayiro

Byabadde mu kakiiko akavunaanyizibwa okulondoola entambula y’emirimu mu bitongole bya Gavumenti aka COSASE eggulo mu Palamenti.

Bagyenda enkoko yagikutte mumwa era zaagenze okuwera 4:00 nga mutaka mu kakiiko.

Ku luno yazze akyusizza munnamateeka amuwolereza nga yaleese Allan Nshimye, wadde ng’ekiseera kyamaze nga taliiwo abadde atuma Robert Kagolo.

Ababaka babadde baludde nga bamwewerera oluvannyuma lw’okwebulankanya okuva nga November 22, 2018.

Okuggya kwe kwamuwonyezza okukwatibwa kuba akakiiko kaabadde kaayisa ekiragiro ekimukwata singa ziwera essaawa 4: 30 nga tannalabikako.

Abdu Katuntu (Bugweri), ssentebe w’akakiiko yasoose kwaniriza Bagyenda okuva gy’abadde n’amulabula nti talina kuddamu kwebulankanya okutuusa ng’okubuuliriza ku Bbanka Enkulu kuwedde.

Bagyenda, eyabadde omukakkamu yasoose kwetondera kakiiko olw’obutabeerawo okumala ekiseera.

Yabeebazizza n’obutayisa kiragiro kimukwata era ne yeeyama nga bw’atajja kuddamu kubulawo. Wabula yasabye omukuumi we, Juliet Adikot n’eyali ddereeva we, Job Turyahabwe, abaakwatibwa ku biragiro by’akakiiko bayimbulwe.

Katuntu yamwanukudde nti, ababiri abo okukwatibwa baamala kulimba kakiiko wadde nga baali bamaze okukuba ekirayiro ky’okwogera amazima era amateeka ge galina okulamula eky’okubakolera. Francis Mwijukye (Buhweju) yasabye Bagyenda ayogere omuwendo gwa Paasipooti gw’alina oluvannyuma aziweeyo eri Palamenti aleme kubaddukako.

Yalagiddwa okuwaayo Paasipooti zombi eri Palamenti. James Waluswaka (Bunyole West) yayongedde okutabula ebintu bwe yasabye akakiiko kakwate Bagyenda awatali kuvaawo, n’agamba nti ne bwe banaamuggyako Paasipooti alina obusobozi okubulira mu bbanga ng’empewo. Kino Katuntu yakigaanyi.

Ababaka era baalagidde munnamateeka Nshimye okuva mu kifo we yabadde atudde okuliraana abakungu ba Bbanka Enkulu ne bamulagira okutuula ebbaliko.

Justine Bagyenda baayongedde okumuteeka ku kisenge bwe baamulagidde alayire ng’akakasa nti bye yabadde agenda okwogera byonna bya mazima.

Moses Kasibante (Lubaga North) yasabye anyonnyolwe engeri kkampuni ya M/S J.N Kirkalnd Associates gye yatuuka okugulamu ebintu ebyali bisingiddwa mu bbanka ng’omuwendo gukendeezeddwa ebitundu 93 ku buli 100.

Tumubweine Twinemanzi, akulira okulondoola emirimu mu Bbanka Enkulu yasabye Bagyenda eyali mu ofiisi mu kiseera abeereko ky’atangaaza, kyokka n’addamu mu ngeri eyalabise nga teyamatizza babaka nti; “Bannange munaansonyiwa ndi mukazi mukadde, eyeewummulira edda era sikyasobola kujjukira bintu bimu.

Mba nnina kusooka kuwummulamu, kuba okumala wiiki bbiri omutwe gwange gubadde gwetawula nnyo”.

Abakulira Bbanka baategeezezza nti omuwendo gw’ebintu ebyatundibwa gwabalirirwa kkampuni ya Bagiire and Company Advocates, kyokka bwe baabuuzizza we baabalirira ne bategeeza nti emiwendo baateebereza miteebereze.

Bagyenda yalagiddwa okukolagana n’aba Bbanka Enkulu banoonye lipoota ezoogerwako gye ziri n’agamba nti tayinza kulinnyayo kuba baamala dda okukimussaako nti yabulankanya ebiwandiiko bya Bbanka.

Gavana wa Bbanka Enkulu, Tumusiime Mutebile bwe yabuuziddwa oba nga lipoota ze boogerako yazirabako yazzeemu nti; “omuntu eyali avunaanyizibwa bw’aba takyajjukira, ndabira ddala ng’okubuuza nze si kya buntu”.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kib11 220x290

Ba Kansala ku district e Kiboga...

Ba Kansala ku district e Kiboga bakubye ebituli mu budget ya District

Capture 220x290

Emitimbagano gya Vision Group gyakuvaako...

Emitimbagano gya Vision Group okuli ogwa bukedde.co.ug ne newvision.co.ug gyakuggalawo ku wiikendi eno okutandika...

Br3 220x290

Ensonga za Brian White ez'okkabasanya...

Ensonga za Brian White ez'okkabasanya abaali abakozi be zisajjuse

Kit1 220x290

Engeri akasaawe k'e Mulago gye...

Engeri akasaawe k'e Mulago gye kaalera Jimmy Kirunda

Jit1 220x290

Afiiridde mu kibanda kya firimu...

Afiiridde mu kibanda kya firimu e Mukono