TOP

Ab’omu Lusanja bazzeemu okwekalakaasa

By Musasi wa Bukedde

Added 4th December 2018

Abatuuze b’omu Lusanja ku lw’e Gayaza bazzeemu okwekalakaasa oluvannyuma lwa Gavumenti okulwawo okukola ku nsonga z’ettaka lyabwe lye bakaayanira n’omugagga Medard Kiconco.

Saka 703x422

Abatuuze nga bakumye omuliro mu kkubo ku lw’e Gayaza mu Lusanja.

Ono gye buvuddeko nga yeeyambisa amagye ne poliisi, yalumba abantu ku kyalo kino n’akoona amayumba gaabwe agasoba mu 160.

Bano bagamba nti Pulezidenti yabalambula n’abasuubiza okukola ku nsonga zaabwe era gye buvuddeko baatwala n’ekiwandiiko ekiraga obutali bumativu bwabwe ne bakikwasa Sipiika wa Palamenti, Rebecca Kadaga nga basuubira nti ensonga zaabwe zinaakolwako kyokka n’okutuusa kati tebayambibwanga.

Olw’okulaga obutali bumativu bwabwe, basazeewo okuziba oluguudo lw’e Gayaza ku kigenda mu Lusanja ne Kiteezi era ebyentambula ne bizihhama okumala akaseera.

Poliisi oluvannyuma etuuse n’ewandagaza amasasi n’omukka ogubalagala mu batuuze ababadde beekalakaasa olwo n’eggula oluguudo luno.

Abaserikale basanze akaseera akazibu okukkakkanya ababadde beekalakaasa kuba obwedda gye bava okuzikiza omuliro ng’ate abatuuze gye bakuma omuliro omulala.

Mu kwekalakaasa kuno, poliisi ekutte abavubuka bataano ne batwalibwa ku poliisi y’e Kasangati ng’okunoonyereza bwe kugenda mu maaso.

Wabula aduumira poliisi y’e Kasangati agaanyi okubaako ky’ayogera ku kwekalakaasa kuno n’abantu abakwatiddwa.

Ssentebe w’e Lusanja, Fred Kanyike ategeezezza nti bwe baalaba nga Pulezidenti abalambudde baafuna essuubi naye ebbanga liweze nga tebaddibwamu okuggyako okubawa ebintu ebikozesebwa mu bulamu bwa bulijjo ekintu kye bakooye.

Ayongerako nti kati baagala mayumba, bakooye okusula mu weema, kwe kusalawo okwekalakaasa osanga Gavumenti eneewulira omulanga gwabwe.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ret2 220x290

Proline esuze bulindaala

Proline esuze bulindaala

Yes3 220x290

Uganda esubiddwa eza Afrika

Uganda esubiddwa eza Afrika

Bok1 220x290

Abeebikonde bayiiseemu kavvu wa...

Abeebikonde bayiiseemu kavvu wa bukadde 60

Mis1 220x290

Ez'amaato bazongeddemu ebirungo...

Ez'amaato bazongeddemu ebirungo

Kip2 220x290

Sheikh Dr. Rashid Semuddu Edduwa...

Sheikh Dr. Rashid Semuddu Edduwa y’okusiibulukuka Allah agyanukulirawo