TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Minisita Kasaija atongozza olukiiko olufuzi olwa NSSF

Minisita Kasaija atongozza olukiiko olufuzi olwa NSSF

By Benjamin Ssebaggala

Added 4th December 2018

MINISITA w’ebyensimbi Matia Kasaija atongozezza olukiiko olufuzi olw’ekitongole ekitereka ensimbi z’abakozi NSSF.

Nssf11thboard3 703x422

Minisita Matia Kasaija ng'atongozza olukiiko olupya olufuzi olwa NSSF

Agambye nti olukiiko luteekwa okubeerako Badayirekita 10 kyokka atongozezza munaana kubanga ebibiina ebimu ebikiikirira abakozi nga NOTU byaweereza abantu abatatuusa bisaanyizo ekitongole ekisunsula ne kibagaana.

Omukolo gubadde ku kitebe kya NSSF ku Workers House mu Kampala n’alangirira nti Patrick Byabakama Kaberenge ye sente w’olukiiko olufuzi aliko ng’amwongedde okuweereza ekisanja eky’okubiri.

 

Abalala abalondeddwa ku lukiiko kuliko: Pius Bigirimana akiikirira minisitule y’ekikula ky’abantu, Patrick Ocialap akiikirira gavumenti, Florence Namatta Mawejje akulira abakozi mu Centenary Banka akiikirira kibiina ekigatta abakozesa FUE.

Peninnah Tukamwesiga munnamateeka akiikirira COFTU ne  Richard Byarugaba akulira NSSF. Kasaija agambye nti yazzeemu n’awandiikira aba NOTU alinda bamuweereze amannya agakakase.

Olukiiko luno olufuzi lwatandise okukola mu September ekisanja kyabwe kya myaka esati kiggwako 2021.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Bujingo2703422 220x290

Bugingo ennyumba gye yazimbidde...

OMUSUMBA Aloysius Bugingo akudaalidde abantu ababadde balowooza nti, enju ye gaggadde gy’azimbira omugole Susan...

Lab2703422 220x290

Aba Ssebulime balangidde minisita...

FAMIRE ya Ronald Ssebulime banyiivu olwa kye baayise Minisita Nantaba okwongera okubalaata n’atuuka n’okujaguza...

Tta 220x290

Nantaba awadde Museveni amannya...

MINISTA Idah Erios Nantaba akaabidde mu kusaba mw’agambidde nti abaagala okumutta bali mu Gavumenti mwennyini era...

Lumba 220x290

Abadde afera abaagala Viza bamuyodde...

KITUUFU Kampala si bizimbe. Abantu basula bayiiya ng’ate abalala bafera bannaabwe okuba obulungi.

Kola1 220x290

Empeta za bba wa Babirye zibuzaabuza...

ABALONZI b’omubaka Paul Musoke Ssebulime owa Buikwe County North era bba w’omubaka omukazi owa Buikwe bali mu kwewuunaganya...