TOP
  • Home
  • Ssenga
  • By'oteekeddwa okukola okwewala laavu okukuziba maaso

By'oteekeddwa okukola okwewala laavu okukuziba maaso

By Musasi wa Bukedde

Added 4th December 2018

Omukwano gulabika ng’ogujja mu ngeri etetegeerekeka, naye abakugu mu bya ssaayansi balaga ekituuka ku bwongo bw’omuntu ali mu mukwano.

Ziba 703x422

Bano baabadde mu Theatre La bonita mu Kampala nga nga balya obulamu.

“Omuntu bw’abeera mu mukwano, obwongo bwe bujjulamu ekirungo n’obusimu ebimuleetera okuwulira obulungi ssaako amasannyalaze agamusika buli kiseera nga gamuzza eri oyo gw’ayagala.”

OMUKWANO GWA MITENDERA ESATU

Bannassaayansi era bagamba nti omukwano gutambulira mu mitendera esatu. Ogusooka gwe gw’okulookaloola, oguddako kwe kusikirizibwa n’ogusembayo gwe gw’okunywerera kw’oyo gw’oba oyagadde.

Mu mutendera ogusooka, obusimu n’obuswandi bubuna omubiri gwonna buli lw’olowooza ku muntu oyo oba okumulabako era oyanguyirwa okufuna obwagazi.

Bw’omulowoozaako, omutima gutandika okukutundugga, ebibatu bituuyanirira era obwongo bujjulamu ebirowoozo by’okwesanyusa naye.

Obwongo bw’omuntu ali mu mukwano ku mutendera guno bufulumya ekirungo ekyongera okucamula omubiri gwonna.

Ekirungo kino era oluusi kijja mu bwongo wadde omuntu oyo aba tanneesanyusa n’oyo gwe yeegomba wabula ng’amusikiriza buli lw’amulabako.

Bw’oba mu mukwano omusaayi gweyongera mu bwongo, ate nga y’entabiro y’obwagazi.

Olw’okuba ensonga z’omukwano zikwata ku bwongo, y’ensonga lwaki abamu batuuka okugamba nti omukwano guziba amaaso.

Omuntu ali mu laavu oluusi ayinza okulemwa okusalawo mu ngeri entuufu ku nsonga enkulu olw’obutasobola kulowooza bulungi.

Mu kiseera kino era abaagalana oluusi bayinza obutafaayo ku bisaanyizo omuntu oyo by’alina, wabula ky’awulira ng’amulabye.

Obusimu omuntu bw’afuna ng’ali mu mukwano bwongera okussaawo enkolagana wakati wammwe, era ekivaamu kwe kufunira ddala amasannyalaze agakusika nga gakuzza eri omuntu oyo.

OMUKWANO LWE GUZIBA AMAASO

Kirungi omuntu okubaako ne mukwano gwe kuba kya butonde. Abantu abasinga bagufunamu ebirungi bingi naddala ng’ofunye oyo gw’oyagala nga naye akwagala.

Wabula ate omukwano kye kimu ku bintu ebiyinza okuggya omuntu ku mulamwa.

Omukwano bwe guyingirawo emirundi mingi gukyusa abantu olwo ne bava ku biruubirirwa byabwe.

Eyali alowooza ebyokwezimba, ssente zonna yeesanga atandise kuziryamu kaasi n’omwagalwa gw’afunye. Oluusi ebivaamu tebiba birungi naddala ssinga baba baawukanye, anti buli omu atandika okulaba munne ng’eyamulemesa okugenda mu maaso.

ENGERI GYE WEEWALA OMUKWANO OKUKUZIBA AMAASO

Yiga okwetengerera naddala ku nsonga ezikwata ku bulamu bwo. Obuzibu abantu abamu bwe bafuna kwe kulowooza nti buli kimu kirina kutambulira ku mwagalwa we.

Kirungi ne bw’oba mu mukwano ebiseera ebimu osigale nga weerowoozaako nga ggwe, ng’ebya laavu obitadde ku bbali. Mu ngeri eyo ojja kwesanga ng’osobodde okukola ebikugasa. Manya nti wadde oli mu mukwano, naye n’ebintu ebirala bikyaliwo era birina okugenda mu maaso. Buli lw’olowooza nti laavu y’entandikwa era y’enkomerero ya buli kimu, ekivaamu kwe kukola ebintu ng’otunuulidde mukwano gwokka ekiyinza okukukozesa ensobi.

 Yiga okweyagala ggwe kennyini. Kino bw’okikola ojja kwesanga ng’ofaayo okukola ebikusanyusa ggwe. Mu ngeri eno, kijja kuba kuzibu omukwano gw’olina eri omuntu omulala okukuziba amaaso, kubanga ojja kulaba nga mu buli kimu ggwe weekulembeza.

 Manya nti omukwano omujjuvu olina okugussaamu amagezi. Bw’ogwa mu mukwano n’omuntu omutuufu ajja kukuzzaamu amaanyi, ajja kukubuulirira ebituufu, ajja kufuba okulaba ng’osigala ku mulamwa, ajja kufaayo ku nkulaakulana yo ng’omuntu wamu n’omukwano gwammwe. Omuntu omutuufu era akwagala ebituufu ajja kufuba okulaba ng’okulaakulana. Noolwekyo buli lw’olaba omuntu alaga nti akwagala annyo, naye nga tafaayo ku nkulaakulana yo, tayagala okole, alowooza ku bya kwesanyusa byokka, manya nti oyo mukyamu era tajja kukuyamba kugenda mu maaso. Ow’ekikula kino kyandibadde kirungi omwesaleko mangu.

 Manya nti omuntu akusaba omukwano olw’embeera gy’akusangamu. Okugeza bw’akusanga ng’okola oba ng’olina by’okoze okwezimba, tomuganya ate kukuggya ku biruubirirwa byo. Kasita atandika okuleeta amagezi agakuggya kw’ebyo by’obadde okola, oyo muntu mukyamu era kirungi omwesaleko mangu.

 Genda mu maaso ng’okola ebyo by’obadde okola. Okugeza, bw’oba okeera kugenda ku mulimu, ne bw’ofuna omwagalwa akwagala ennyo era nga naawe omwagala , eby’okukola tobivaako. Ensobi eno etera okukolebwa abawala n’abakyala.

Bw’afuna omusajja amuganza, kimwanguyira okukyusa obulamu n’engeri gy’abadde abutambuzaamu.

Okugeza, omuwala abadde n’akalimu ke yeekolera, bw’afuna omusajja amuganza, kyangu okusenguka ne w’abadde asula olwo n’agenda ew’omusajja okufumba, sso ng’omusajja oyo oluusi taba mwetegefu kumuwasa.

Abakyala abamu batuuka n’okuva ku mirimu anti nga balaba nti tebakyalina budde bukola, okuggyako okulabirira omusajja oyo gw’afunye n’okucakala naye.

Kino oluusi ate kye kibasuula mu bizibu anti omusajja bw’amukyawa, olwo abulwa ne w’atandikira kubanga obulamu bwe yamusangamu aba takyasobola kububeeramu era abamu baddayo ku zeero.

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Lab2 220x290

Engeri gy’olina okwewala okuferebwa...

Engeri gy’olina okwewala okuferebwa ku ttaka n’okufi irwa ebyobugagga byo

Hab1 220x290

Taata n’omwana bafudde lumu;Omu...

Taata n’omwana bafudde lumu;Omu bamuziise mu ntaana ya People power omulala mu ya NRM

Kab1 220x290

Dokita eyabuze akwasizza omusawo...

Dokita eyabuze akwasizza omusawo

Broronnie1 220x290

Bro. `Ronnie Mabakai alagudde bannabyabufuzi:...

OMUSUMBA Ronnie Mabakai owa ETM Church esangibwa ku Salama Road e Makindye ne Holy City e Bwerenga azzeemu okulagula...

Komerera4webuse 220x290

Abaana bazannye okufa kwa Yesu...

Abaana bazannya olugendo lw'okufa kwa Yesu ne beewuunyisa abantu e Masajja