TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Amateeka g'ebidduka amanafu ge gawaga baddereeva okukola ensobi - Minisita Azuba

Amateeka g'ebidduka amanafu ge gawaga baddereeva okukola ensobi - Minisita Azuba

By Samuel Balagadde

Added 5th December 2018

Minisita Azuba yategeezezza nti amateeka agaliwo gagenze ganafuwa olw'ekiseera ekiwanvu bukya gabagibwa nga n'ebibonerezo bya mukubyabyayi nga y'emu ku nsonga lwaki abamu ku b'ebidduka ku nguudo bakola ensobi mu bugenderevu.

Tweddekocampaign11 703x422

Minisita Monica Ntege Azuba (ku ddyo) ng'atongoza kaweefube w'okulwanyisa obubenje mu nkola eya Tweddeko. Ku kkono ye Winstone Katushabe ne Gilbert Assi owa Shell.

MINISITA w'ebyenguudo n'entambula,  Monica Ntege Azuba agambye nti  ennongosereza mu mateeka agafuga ebidduka n'okulwanyisa obubenje ku nguudo  yamaze okutuuka mu palamenti  okugikubaganyaako ebirowoozo nga tennassibwa mu nkola.

Yagambye nti amateeka agaliwo gagenze  ganafuwa olw'ekiseera  ekiwanvu bukya gabagibwa  nga n'ebibonerezo bya mukubyabyayi nga  y'emu ku nsonga lwaki  abamu ku b'ebidduka ku nguudo bakola ensobi mu bugenderevu nga bakimanyi nga bagenda kuwa  engassi ya kagwirawo.

Bino minisita yabyogeredde ku mukolo ogw'okutongoza kaweefube w'okulwanyisa obubenje ku nguudo naddala mu biseera  bino eby'ennaku enkulu baddereeva mwe bavugira obubi naddala endiima  n’abamu nga bavuga batamidde. Yawomeddwamu omutwe kkampuni y'amafuta eya  Shell munkola emanyiddwa nga 'Tweddeko".

Winstone Katushabe  Kamisona  avunaanyizibwa ku mateeka  g'ebidduka   n'okulwanyisa obubenje mu ministule  y'ebyenguudo n'entambula  yagambye nti nga bayambibwako aba  Face  Technologies abakola pamiti za kompyuta bali mu kutendeka ba tulafiki ku ngeri y'okukwatamu  abamenyi b'amateeka ku nguudo.

Gilbert Assi akulira  kkampuni ya  Shell  yagambye nti  kibakakatako okulaba nga  basomesa  abantu  ku ngeri  y'okwewalamu obubenje ku nguudo nga muno muzingiramu n'abantu abali okumpi.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kazi 220x290

Eyandesa omulimu ansuddewo

NZE Mediatrice Kubwimana 28, nzaalibwa Burundi naye nga mbeera Namugongo Zooni II. Mu 2011, nafuna omulimu gw’obwayaaya...

Civil 220x290

Omukazi atagambwako yali antamizza...

ENNAKU gye ndabidde mu nsonga z’omukwano mpitirivu era nabulako katono okugwenenya.

Funa 220x290

Eyantwala ku yunivasite yanzitattana...

NZE Jennifer Alwoch 26, mbeera ku kyalo, Adyel mu Lira. Bazadde bange bampeererako okutuuka mu S6 naye ssente ezinyongerayo...

Ssenga1 220x290

Lwaki mpulira sirina maanyi ga...

SSENGA mpulira nga sirina bulungi maanyi ga kisajja. Naye bwe neegatta amaanyi ngafuna bulungi naye ndowooza nti...

Ssenga1 220x290

Ensundo ya muganzi wange entiisa...

SSENGA nnina omuwala gwe njagala naye alina ensundo empanvu ku kisambi. Mugamba agende mu ddwaaliro agamba nti...