TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Ab'emmamba basabiddwa okugula emigabo mu Nkajja pulojekiti

Ab'emmamba basabiddwa okugula emigabo mu Nkajja pulojekiti

By Dickson Kulumba

Added 5th December 2018

Ab'emmamba basabiddwa okugula emigabo mu Nkajja pulojekiti

Lip2 703x422

OLUKIIKO oluli ku mulimu gwa Pulojekiti y'ekika ky'emmamba eyitibwa Zzimba Nkajja luwadde omukisa buli muzzukkulu okugula omugabo gwa 10,000/- n'okusingawo okugisobozesa okutambula obulungi.

"Twagala buli muntu ey'eddira emmamba yewandiise mu kitabo ky'ebyafaayo ky'ekika ekiriteekebwa mu Mmamba Tourism centre. Buli anewandiisa, twagala atulagge bazadde  be, ne bajjajja be babiri, emyaka gye, obukugu bwe, gyabeera, endagiriro ye, abaana be, abazzukulu be, era asasule omugabo gumu ogwa shillingi omutwalo gumu(10,000/-)," David Nsubuga nga ye Ssentebe wa Pulojekiti eno bweyategezezza.
 
Nsubuga yayongedde nagamba nti Pulojekiti eno yakwetabwamu buli wa mmamba era abo abalina ensimbi eziwera basobola okuzireeta n'etambula mangu.
 
"Abeesobola bayinza okugula emigabo egisingawo kubanga gyebujja emigabo gigya kuweebwa amagoba pulojekiti bweriba ewedde ng'ezzadde n'amagoba. Ekisinga obukulu tugenda okukunga abazukulu ba Gabunga okwenyigira mu businensi zetugenda okutandika okusinzira ku bukugu bwabwe," Nsubuga bweyagaseeko Ku Lwokubiri.

Pulojekiti y'ebyobulambuzi eno yatandikibwa emyaka ebiri emabega, ng'era ebalirirwamu obuwumbi buna.

 
Ate ku Lwomukaaga November 24,2018, mu Ttabamiruka w'ekika kino, Omulangira Kassim Nakibinge nga naye azaalibwa ba Mmamba yasinziira wano neyekokkola omuze ogwayingira mu bantu nga balowooza nti okugaggawala olina kutunda ttaka.
 
“Ennaku zino waliwo omuzze abantu nga balowooza nti okugaggawala, olina kutunda ttaka. Ndowooza ekintu kino kikome tumanye nti abatusooka ebifo bino babikuuma nga naffe tulina okubikuuma bisobole okugasa abalijja. Ekifo kino bwekinafuuka ekyo kyemwagala kifuuke, kijja kuba kya ttunzi," Nakibinge nga ye Jjajja w'Obusiramu mu Uganda bweyategezezza.
 
Omulangira yayongedde nategeza nti singa ekifo kinamalirizibwa kyakubeera kyakulabirako kirungi eri ebika ebirala okutumbula obulambuzi bwebirina.
" Ekifo bwekinamalirizibwa Kijja kutumbula ekika ky’emmamba, kijja kutumbula eggwnaga Buganda ne Uganda okutwalira awamu kubanga ebintu by’obulambuzi abantu bonna  babyetanira abo abava mu kitundu kino n’abava ebweru,” Omulangira Nakibinge bweyayongeddeko era mukumaliriza nabawa ensawo za sseminti 100.
 
Ye Omutaka Gabunga Ziikwa Mubiru IV yalabudde bazzukkulu be okwerinda abaagala okubawulayawula.
"Mulekere awo okubuzabuza amannya bwobeera Namutebi beera Namutebi, bwobeera Nsubuga beera Nsubuga.
 
Saagala ogambe nti nze ndi wa Nankere, nze ndi wa Mmamba Gabunga nga bweboogera. Emmamba eri emu yokka mu nsi. Teri  Nankere teri Gabunga wabula omukulu w’akasolya.
 
Kati bujja kukya oli akugambe nti nva wa Nankere, nze nva wa Gabunga nga mukola mbaga,  nja kubookya. Kenabasanga nze nja kubookya bwookya kubanga n’emmamba bagyookya nebagirya nange bazzukkulu bange bengenda okweyokyera," Gabunga bweyalabudde.
 
 
Katikkiro w’ekika kino, Luyombo Mulindwa Kagenda yasabye abamasiga okwongera okukumakuma bazzukkulu baabwe n'okugondera Gabunga olwobunywevu bw'ekika.
Abazzukkulu bawereddwa ennamba 0772425803/0772425668 nga kuno kwebasobola okuteeka ssente ez'okuyamba okuzimba Nkajja.

Ye akulira ekitongole Mmamba Foundation, Nsubuga Mukedi III yakubiriza abemmamba okwongera okugula emigabo mu bbanka yaabwe n’okugula ebintu ebikolebwa mu kabonero k’ekika okuli ebikopo n’emijoozi.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kib11 220x290

Ba Kansala ku district e Kiboga...

Ba Kansala ku district e Kiboga bakubye ebituli mu budget ya District

Capture 220x290

Emitimbagano gya Vision Group gyakuvaako...

Emitimbagano gya Vision Group okuli ogwa bukedde.co.ug ne newvision.co.ug gyakuggalawo ku wiikendi eno okutandika...

Br3 220x290

Ensonga za Brian White ez'okkabasanya...

Ensonga za Brian White ez'okkabasanya abaali abakozi be zisajjuse

Kit1 220x290

Engeri akasaawe k'e Mulago gye...

Engeri akasaawe k'e Mulago gye kaalera Jimmy Kirunda

Jit1 220x290

Afiiridde mu kibanda kya firimu...

Afiiridde mu kibanda kya firimu e Mukono