TOP
  • Home
  • Ageggwanga
  • Nnalulungi wa Uganda, Quiin Abenakyo yeesunga ngule ya Miss World

Nnalulungi wa Uganda, Quiin Abenakyo yeesunga ngule ya Miss World

By Martin Ndijjo

Added 5th December 2018

Quiin Abenakyo atangaazizza emikisa gye okuwangula engule ya Miss World

Mis 703x422

Quiin Abenakyo n'omuddali gwe yawangudde

EMIKISA kya nnalulungi wa Uganda Quiin Abenakyo okuwangula engule ya Nnalulungi w’ensi yonna (Miss World), gyeyongedde okutangaala bwayongedde okusunsulwamu okutuuka ku bawala 20 abagenda okusindana ku mukolo ogwa kamalirizo okulondako omuwanguzi.

ku Lwomukagga kigenda kutokota nga ssi kisaanikire mu kibuga Sanya ekya China London ng''embooko z''abawala 118 omuli ne Munnayuganda basindana okulondako nnalulungi w’ensi yonna

Okusinzira ku bubaka obuli ku mukutu gwa ‘Miss World’ kwe bateeka byonna ebigenda mu maaso mu mpaka zino ezigenda mu maaso mu kibuga Sanya ekya China,

ku kkono lwe lukalala olulaga ensi 20  ate ku ddyo benakyo nga bamwambaza omuddaliku kkono lwe lukalala olulaga ensi 20 ate ku ddyo Abenakyo nga bamwambaza omuddali

 

Abenakyo eyawangudde omuddali mu mutendera abawala bano mwe balagidde ebyo bye bavuddeyo okukola oba engeri gye bayambyemu abantu mu bitundu gye babeera amale ategezezza nga bw’ali mu kawefube w’okuyamba abaana abafuna embuto nga tebanetuuka, y’omu ku bawala 20 kwe bagenda okulonda Nnalulungi w’ensi ow’omwaka 2018- 2019.

Abenakyo enzaalwa ey’e Mayuge mu Busoga, muyizi ku MUBS ettabi lya Yunivasite y’e Makerere erisomesa eby’obusuubuzi e Nakawa.

Sylvia Namutebi eyawangula obwa nnalulungi bwa Uganda mu 2011 era nga naye yeetabako mu mpaka za nnalulungi w’ensi yonna akunze abantu okulonda Abenakyo ekimu ku biyinza okumusobozesa okuwangula engule eno.

Omulamwa gw’omwaka guno mu mpaka zino guli nti, 'Beauty With a Purpose' ekivvunulwa nti Obulungi obw’omugaso era okulonda Abenakyo genda ku mukutu gwa www.missworld.com ogobeere endagiriro

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Sam2 220x290

Sam Mukasa ayingidde goloofa ye...

Yiino goloofa ya Sam Mukasa eyogeza banne obwama!

8714805438505141082996706452061019224145920o 220x290

Museveni ne Kagame basisinkanye...

Kyaddaaki Pulezidenti Museveni ne mukulu munne owa Rwanda, Paul Kagame beefumbye akafubo ku nsalo ya Uganda ne...

Kasa 220x290

Maama kalimunda tonyiga bbebi ennyindo...

ONO maama kalimunda tatya kunyiga bbebi nnyindo olw’engeri gy’akulukuunya olubuto lwe ku musajja.

Omukyalangaatudde 220x290

Laba byana biwala ebyanywa amata...

Bw’oba otambula, osanga ebyana ebitambulira mu bibinja nga byesaze obugoye obukulengeza ‘waaka’ nga ‘n’ebithambi’...

Firimu 220x290

Eyali asoma obwafaaza alumbye Mbarara...

FERDINAND Lugobe Pike eyabulako akatono okufuuka omusosodooti ayingidde ekisaawe ky’okuzannya Ffirimu.