TOP

Pizza y'enseenene eky'okulya ekicamudde abavubuka.

By Martin Ndijjo

Added 5th December 2018

Omubaka Latif Ssebaggala ayagala pizza y'enseenene eky'okulya kino nakyo kitongozebwe nga eky'obulambuzi.

Nse 703x422

Omubaka Ssebaggala (ow'okubiri) ku kkono mu kutongoza pizza y'enseenene

ABAVUBUKA bettanira eby’okulya babadde bakyali ku ‘Rolex’ ezaatongozebwa  minisita, Godfrey Kiwanda Ssuubi ng’ekyobulambuzi mu kawefube gw’aliko okulaba nga Uganda etutumuka mu byomulambuzi.

Ate kati baleese ‘Pizza y’enseenene’ eky’okulya ekiwoomu nakyo kye bagala kitongozebwe ng’ekyobulambuzi.

Mu kutongoza ebikujjuko by’ekyokulya kino, ebitumiddwa ‘Enseenene Pizza Festival’ ebisookedde ddala mu ggwanga ku mukolo ogwabadde e Lugogo,

abantu nga bali mukulooza ku buwoomi bwa pizza ate ku ddyo ze nseenene mwe bakola pizzaabantu ng'a balooza ku buwoomi bwa pizza ate ku ddyo ze nseenene mwe bakola pizza

Hajji Latif Ssebaggala omubaka wa kawempe North ‘ambasadda’ aweereddwa obuvunannyizibwa okutumbula n’okwagazisa abantu eky’okulya kino yasoose kusiima ba Signet World ne  Harris International abakola eby’okunywa bya Riham olw’okuyiiya ekintu nga kino

Agamba kino kigenda kuyamba okusituula omutindo ne bbeeyi y’enseenene era nasaba aba minisitule y’ebyobulambuzi kino okukitwala mu maaso okufaananako ne ‘rolex’ ne ‘pizza y’ensenene’ eteekebwe kw’ebyo ebintu byebayinza okutunda ng’eggwanga.

Enseenene by’ebiwuka ebisinga okuliibwa naddala mu masekkati ga Uganda olw’obuwoomi bwazo.

Abali baazo naddala abakyala bazitenda bwe ziwooma okukamala. Enseenene zimanyiddwa okugwa mu mwezi gwa November (Museenene) ne mu June wadde nga mu sizoni ezimu zibeera ntonotono naye enteekateeka ng’ono bwetandiikibwawo kigenda kuyamba okusituula omutindo mu nkwatta yazzo n’okuziteereka obulungi.

Ye Racheal Luwedde owa Harris International mu kwogera yategezezza nti mu mbeera ey’okwongera okumanyisa abantu ku ky’okulya kino y’ensonga lwaki bategesewo n’ekivvulu ekitumiddwa ‘Enseenene Pizza Festival’ ekigenda okubeerawo ku Ssande  nga December 9, 2018 e Kyadondo Rugby grounds.

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Hse1 220x290

By’olina okumanya ng’ogula ennyumba...

Kya makulu omuntu akuguza ennyumba okukuwa ppulaani yaayo n’ogiwa omukugu nagyetegereza okukakasa nti ebiriko byagobererwa...

Ssenyonjo 220x290

Poliisi ezudde ebipya ku yatema...

POLIISI ezudde ebipya ku musajja Hamidu Ssennyonjo amanyiddwa nga Munomuno omu ku bagambibwa okuyingirira omugagga...

Mayiga 220x290

Katikkiro alaze engeri ebbula ly’amazzi...

KATIKKIRO wa Buganda, Charles Peter Mayiga ayongedde okukkaatiriza obukulu bw’amazzi mu bulamu bw’abantu n’agamba...

Bazigu1 220x290

Abazigu balumbye amaka e Munyonyo...

ABAZIGU balumbye amaka e Munyonyo ne batemaatema omukozi w’awaka Isa Birimusho n’okumusiba akandooya ne bamuleka...

Magaya 220x290

Abawala 98 banunuddwa ku babadde...

ABEEBYOKWERINDA banunudde abawala 98 ababadde bakukusibwa okutwalibwa mu nsi za bawalabu okukuba ekyeyo.