TOP

Bamusobezzaako oluvannyuma ne bamutta

By Musasi wa Bukedde

Added 5th December 2018

Bamusobezzaako oluvannyuma ne bamutta

Kip1 703x422

ENTIISA ebuutikidde abatuuze b’e Nakasajja mu ggombolola y’e Kyampisi e Mukono bwe basanze mutuuze munnaabwe ng’attiddwa ng’omulambo gwe gusuuliddwa mu kasiko.

Gwabadde gwambuddwaamu engoye nga kiteeberezebwa nti abaamusse baasoose kumusobyako.

Eyatiddwa ye Agnes Nansubuga 40, abadde  ow’ebyamawulire ku lukiiko lw’abakyala olw’ekyalo kya Babumbi e Nakasajja ate ng’abadde akuba mayinja.

Omwana eyabadde egenda ku luzzi ye yasoose okulaba omulambo gwe n’ategeeza abatuuze abaayanguye okutuuka era baagenze okwetegereza nga munnaabwe ye yattiddwa.

Abatuuze bagamba nti ekiro ku ssaawa nga 8:00 baawulidde Nansubuga ng’alaajana nti temunzita kyokka ne batya okufuluma wabweru nga balowooza nti abaamagye bandiba nga be baabadde bamukutte olw’okutambula ekiro.

Amangu ddala ng’ettemu lino lyakagwawo abatuuze baatandise omuyigo gw’okunoonya abasse Nansubuga ne bakwata Augustine Alimpise gwe baasanze mu kibira kya kalittunsi wabula poliisi n’ebamutaasaako ne mutwala n’emuggalira e Naggalama.

Wadde nga poliisi ono yamutaasizza abatuuze  baagenze mu maaso n’okuyigga abalala abaabadde ne Alimpise  ne bakwataako omu ng’adduka ayolekera bitundu bye Namansumbi ne bamukuba n’afa ng’atwalibwa mu ddwaaliro.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

B1 220x290

Bebe Cool oluwummula lw'abaddeko...

Bebe Cool oluyingiddewo n'awaga "nkomyewo zaabike emipiira.."

Pass 220x290

EBIKULU MU BUKEDDE W'OLWOKUBIRI...

Bawambye omwana omulala ne basaba obukadde mukaaga; bamusse omulambo ne bagusiba mu kadeeya.

Owakccangayogeramulukiiko 220x290

Ab'e Bwaise batabukidde aba KCCA...

“Twagala Pulezidenti Museveni y’aba atulagira okusasula kuba n’amazzi gakyatuyingirira mwe mulabika temuvudde na...

Kizito 220x290

Basajjabalaba alaalise okulwanyisa...

NNAGGAGGA Hassan Basajjabalaba asinzidde mu kuziika Charles Muhangi n’alabula abaggagga abaagala okutwala ebintu...

Rite6 220x290

Poliisi ekubaganye n'aba takisi...

Mu kanyoolagana akaabaddewo omuserikale eyategeerekeseeko erya Kasirye yakubiddwa ejjinja era ono yatwaliddwa...