TOP

‘Saategedde kyankubizza masasi’

By Musasi wa Bukedde

Added 6th December 2018

ABASERIKALE bakubye bbulooka w’ettaka n’amayumba amasasi emisana ttuku mu lubuto n’atwalibwa mu ddwaaliro nga biwalattaka.

Grace 703x422

Kakooza ng’ajjanjabibwa mukyala we, Justine Nakimuli ku kitanda e Mulago.

BYA HENRY KASOMOKO

Bino byabadde Najjanankumbi wiiki ewedde ku ssaawa 8:00 ez’emisana.

Okusinziira ku baaliwo nga bigwawo, kigambibwa nti abaserikale abaali mu ngoye ezaabulijjo nga batambulira mu mmotoka eya buyonjo baasanga Ronald Kakooza 32, ow’e Ndejje Lubugumu ku masitoowa akola obwa bbulooka bw’ettaka n’amayumba mu bitundu by’e Najjanankumbi ne bagezaako okumukwata wabula mu kulwanagana nabo ng’agezaako okubalemesa okumutwala, omuserikale omu n’amukuba amasasi okuli eryamukwasizza mu lubuto.

Bino byabadde ku Stella e Najjanankumbi ku lw’e Ntebe, okuliraana ebbaala ya Shooter.

Kakooza yakubiddwa amasasi abiri ng’erimu lyamukutte mu lubuto eddala ne limukwata mu mumiro n’atwalibwa mu ddwaaliro e Mulago gy’ajjanjabirwa.

Kakooza mu kiseera kino ayambibwako mukyala we, Justine Nakimuli yategeezezza nti ekigendererwa ky’abaserikale bano takitegeera.

Yagambye nti yali ku dduuka ng’atutte ngatto kuzikuba ddagala ng’era wano w’atera okuzikubira, abasajja babiri abaali bambadde engoye ezaabulijjo nga bamusongamu ennwe naye aba akyebuuza ekimusonzesaamu ennwe, abasajja bano kwe kutambula ne basembera we yali ayimiridde ne mukwano gwe.

“Twali tukyali mu kwebuuza kye batwagaza, omu ku basajja n’atuboggolera nti, ‘muggyeeyo ebiboogerako,’ teyatuganya na kubiggya mu nsawo n’atulagira okutuula wansi we twali tuyimiridde, omuserikale omulala we yasikirayo emmundu ekika kya baasitoola n’agiwangamu amasasi. Mu kiseera ekyo nga ntidde kwe kufubutuka nziruke okwetegula ekibabu.

Omuserikale yalabye nziruka n’asooka akuba essasi mu bbanga kwe kuba nga ayimirira kyokka n’asigala ng’awandagaza amasasi, abiri ne gankwata erimu mu lubuto eddala mu mumiro kuba nali mpanise emikono nkyuse mutunuulidde.

Awo we nakoma okutegeera neesanga ndi mu ddwaaliro e Mulago,” Kakooza bwe yannyonnyodde.

Omwogezi wa poliisi mu Kampala n’emiriraano, Luke Owoyesigyire, yategeezezza nti bakyagenda mu maaso n’okunoonyereza ekyavaako abaserikale okweyisa mu mbeera eno.

Yasabye aba famire ya Kakooza okugenda ku poliisi bakole sitetimenti basobole okugenda mu maaso n’ogw’okunoonyereza.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Katikkiromayigangaalinaboogezibokumikoloabeetabyekumukologwoluwalokubulanekulwokubiri002webusenu 220x290

Katikkiro Mayiga abakubirizza okunnyikiza...

Katikkiro wa Buganda, Charles Peter Mayiga akubirizza Ab'e Buluuli ne Ssese okunnyikiza obulimi kubanga teri mulimu...

Manya 220x290

Abakazi abasinga tebamalaamu kagoba...

Abakazi emirundi 6 ku 10 gye beegatta mu kaboozi tebatuuka ku ntikko. Wabula babuulire kwekoza nga abamazeemu akagoba....

Saalwa703422 220x290

Teddy ayanukudde Bugingo ku bya...

TEDDY Naluswa Bugingo ayanukudde bba Paasita Aloysius Bugingo ku kya ffiizi z’abaana ne ssente.

Florencekiberunabalongowebuse 220x290

Alina olubuto lw'abalongo ne by'olina...

Abasawo balaze abalina olubuto olulimu omwana asukka mu omu bye balina okukola obutabafiirwa nga tebannazaalibwa...

Research1 220x290

Ebizibu ebibeera mu kutambuliza...

ABATANDIKA omukwano ekimu ku birina okwewalibwa ku kugutambuliza mu kweteeka mu butaala ate nga si bwoli.