TOP
  • Home
  • Ono ye kampala
  • Poliisi ekubye amasasi ne ttiyaggaasi okugumbulula abakolera mu katale k'e Nansana

Poliisi ekubye amasasi ne ttiyaggaasi okugumbulula abakolera mu katale k'e Nansana

By Musasi wa Bukedde

Added 6th December 2018

POLIISI y’e Nansana ekedde kukuba masasi mu bbanga n’omukka ogubalagala okugumbulula abasubuuzi ababadde bakolera ku mabbali g’oluguddo oluva e Nansana okudda e Nabweru ababadde bawakanya eky’abakungu b'e Nansana okubasengula ekiviiriddeko emmaali yaabwe okwonoonebwa.

Nansana12 703x422

Abasubuuzi bagamba nti kyababuuseko okukeera ku makya n’ebasanga nga abakwasisa emiriimu mu Nansana nga bayambibwako poliisi nga bamenye emidaala gyabwe saako okwonoona emaali yabwe nga babalanga okukolera mu kifo ekimeenya amateeka.

alt=''
alt=''

Bano beesaze akajjegere ne basuula emisanvu mu kkubo saako okukumamu omuliiro ekigootaanyizza entambula nga kino kiwalirizza poliisi ekkakkanya obujagalalo okubakubamu tiyaggaasi okubagumbulula. 

Wabula abasuubuuzi ababadde bakkakkanye bazzeemu okwegugunga oluvannyuma lw’omubaka akiikiriira munisipaali y’e Nansana, Robert Ssebunnya okusisinkana ng'agamba nti ekikolwa ky’okusengula abatuuze kibadde si kyabwenkanya.

alt=''

Ono nga yeegattiddwaako abasuubuzi asimbye emmotoka ye wakati mu luguuddo n'aduumira abasubuuzi okumwegattako okulwanirira eddembe lyabwe wakati mu kulangira poliisi okulya enguzi okuva eri omugagga nnannyini katale gye baagala okusenguliira abasuubuuzi.

Poliisi elwanaganye ne Ssebunnya;

Poliisi wakati mu kuwanyisiganya ebisongovu n’omubaka Ssebunya basazeewo okumuzingiza ne beezooba okutuusa abaserikale bwe bamusinzizza amaanyi ne bamutikka ku kabangali ya Poliisi n'atwalibwa ku poliisi e Kawempe. 

Wano era n’eyali omubaka w’e Nansana, Wakayima Musoke atategeerekese gy'afubuttuse yeeyunze ku basubuuzi ne baddamu buto okusuula emisanvu mu luguudo wabula kyokka ye atebuse mangu poliisi bw'alinnye Boda n'abaddukako nga tebamutegedde oluvannyuma ne yeewaana nga poliisi bw'etamusobola.

 

 

Abasubuuzi bawakanya akatale akapya

Gye buvuddeko abakulembeze b’omu Nansana baatuukiriira abasuubuzi bano okubategeeza nga bwe basazeewo okubasengula okuva ku mabbali g’oluguudo okubateeka mu katale akapya aka Nansana Village Market abasubuuzi ke bagamba nti tekali ku mutindo. 

Abasubuuzi bagamba nti akatale akapya kafunda nnyo saako okubeera nga ka bbeeyi nnyo tebakasobola ne bakalambira nga bwe batasobola kugenda mu katale kano okutuusa nga bamaze okukatereeza. 

 

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Sev3 220x290

Museveni agguddewo olusirika lwa...

Museveni agguddewo olusirika lwa NRM

Kab2 220x290

Ababadde bazze okupima ettaka emmotoka...

Ababadde bazze okupima ettaka emmotoka yaabwe bagikumyeko omuliro

Lab2 220x290

Kirya yeesozze "quarter" za Uganda...

Kirya yeesozze "quarter" za Uganda Cup n'okontola

Pop1 220x290

Okusunsula abayizi abagenda mu...

Okusunsula abayizi abagenda mu S5 kuwedde

Lop2 220x290

Ababbi balumbye ebyalo abatuuze...

Ababbi balumbye ebyalo abatuuze ne battako omu