TOP

Mmengo efulumizza ekifaananyi kya Kabaka ekipya

By Dickson Kulumba

Added 6th December 2018

Ebifaananyi bino byakusigala nga bitundibwa ensimbi ezaabulijjo. Ekinene ddala kya 100,000/- ate ekiddirira kya 70,000/- era nga byakutundibwanga nga biwange okusigaza ekitiibwa kyaabyo.

Kabakakifananyi12 703x422

Katikkiro Charles Peter Mayiga ng'ayanjula ebifaananyi bya Kabaka ne Nnabagereka ebigenda okutandika okutwalibwa ku mikolo gy'okwanjula.

MMENGO efulumizza ekifaananyi kya Kabaka ekipya ekinaatwalibwanga ku mikolo gy'okwanjula. 

Kuno kwagattiddwaako ekya Nnabagereka nga Katikkiro Charles Peter Mayiga mu kubisabuukulula ku mukolo ogwabadde ku Bulange e Mmengo ku Lwokubiri, yagambye nti kino kikoleddwa okunyweza ekitiibwa kya Kabaka era abantu basaanye okweyunira ebifaananyi bino ebipya.

"Ssaabasajja yasiimye n’atuwaayo ekifaananyi kye wamu n'ekya Nnabagereka. Tubakubiriza okugula ebifaananyi bino biri mu bipimo ebyenjawulo nga bye by’okukozesebwanga mu mikolo gy'okwanjula," Mayiga bwe yagambye.

Ronald Kawaddwa nga y’akulira Majestic Brands (kkampuni y'Obwakabaka evunaanyizibwa ku kutumbula ekifaananyi kyaabwo) yategeezezza ng'ebifaananyi ebibaddewo bwe birina okukoma okukola ku ntandikwa y'omwaka ogujja.

"Ekifaananyi kino ekipya kyakoleddwa mu ngeri ey'ekitiibwa eraga nga Ssaabasajja bw’ali kati. Kigenda kudda mu kifo ky’ebyo ebibadde mu ofiisi z'Obwakabaka zonna," Kawaddwa bwe yategeezezza. N’agattako nti ebifaananyi bino byakusigala nga bitundibwa ensimbi ezaabulijjo. Ekinene ddala kya 100,000/- ate ekiddirira kya 70,000/- era nga byakutundibwanga nga biwange okusigaza ekitiibwa kyaabyo.

Mu ngeri y'emu Mayiga yaggaddewo enteekateeka y'Oluwalo 2018 ng'eno yavuddemu ensimbi obukadde 410 era Katikkiro n’asomooza amagombolola nti omwaka ogujja ayagala bongeremu amaanyi bakunganye obukadde 800.

"Omwaka oguwedde bwe nabagamba nti 2018 njagala obukadde 400 abaaliwo baakuba n'enduulu naye ziizo muziyisizza namu kati njagala obukadde 800. Mulina okwekwata enjogera ya Mukoddomi wange (Bobi wine) egamba nti TWEBEREREMU. Tulina okuwagira ebintu ebyaffe nga bwe tunaafuna ssente bano abatutawanya, bajja kutuwa ekitiibwa," Mayiga bwe yasabye.

Minisita omubeezi owa gavumenti ez'ebitundu e Mmengo, Joseph Kawuki yalangiridde eggombolola Mutuba IV Kampala massekati ng'eyanywedde mu zinnazo akendo bwe basonze obukadde 34 ne bakwasibwa Pikipiki empya ttuku ate aba Mutuba I Kalangala- Ssese ne baweebwa ente.

Amagombolola okuli Ssaabawaali Gombe - Kyadondo, Kiringente - Mawokota n'endala zaaleese ensimbi obukadde 36.

Katikkiro yakozeseza omukolo guno okuyozaayoza essaza ly'e Ssingo nga bakulembeddwa Mukwenda Hajji Magala Ssebuwufu, olw’okuwangula ekikopo ky'amasaza 2018.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

B1 220x290

Bebe Cool oluwummula lw'abaddeko...

Bebe Cool oluyingiddewo n'awaga "nkomyewo zaabike emipiira.."

Pass 220x290

EBIKULU MU BUKEDDE W'OLWOKUBIRI...

Bawambye omwana omulala ne basaba obukadde mukaaga; bamusse omulambo ne bagusiba mu kadeeya.

Owakccangayogeramulukiiko 220x290

Ab'e Bwaise batabukidde aba KCCA...

“Twagala Pulezidenti Museveni y’aba atulagira okusasula kuba n’amazzi gakyatuyingirira mwe mulabika temuvudde na...

Kizito 220x290

Basajjabalaba alaalise okulwanyisa...

NNAGGAGGA Hassan Basajjabalaba asinzidde mu kuziika Charles Muhangi n’alabula abaggagga abaagala okutwala ebintu...

Rite6 220x290

Poliisi ekubaganye n'aba takisi...

Mu kanyoolagana akaabaddewo omuserikale eyategeerekeseeko erya Kasirye yakubiddwa ejjinja era ono yatwaliddwa...