TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Abasomesa b'e Makerere bewozezzaako mu kakiiko ka Palamenti

Abasomesa b'e Makerere bewozezzaako mu kakiiko ka Palamenti

By Musasi wa Bukedde

Added 6th December 2018

Abasomesa b'e Makerere bewozezzaako mu kakiiko ka Palamenti

ABASOMESA B’E Makerere bewozezzaako  mu kakiiko ka palamenti ku bigambibwa nti bayitiridde okukabasanya abaana abawala ne bagamba nti be babasoomooza olwokwambala enkunamyo.

Abasomesa bano baabadde mu kakiiko ka palamenti akasibwawo okunonyereza ku kikabasanya baana  mu massomero ga pulayimale n’amatendekero agawaggulu mnga bewozaako oluvanyuma lwokuyitibwa akulira akakiiko kano Omubaka Robina Rwakoojjo bewozeeko  ku kyokukabasanya abayizi.

‘Mukoze kinene nnyo okwionoonera abaana na ddala abawala ebiseera byo mu maaso mubakabasanya abamu ne bafuna embuto ne batamalaako ng’abamu mu basuubiza okubawa obubonero ekintu ekikyamu ennyo’ Ssentebe Rwakoojjo eyabadde omunyikaavu bwe yategeezezza  abassomesa bano.

Mu kwanukulu Ssentebe  Dens Kamunyu eyakulembedde banne  yagambye nti kituufu waliwo abassomesa b’e Makerere abakabasanya abaana nti kyokka ate n’abassomesa beemulugunya olw’enyambala y’abayizi e ya kokookonyo ereetera abamu okuva mu mbeera.

‘Kituufu babakabasanya era twafunako ne lipoota okuva mu bassomesa banaffe nga baliko banaabwe be bawawaabira olwokukabasanya abaana abawala naye ate waliwo n’abatuleetera abayizi bennyini nga bakabasanya abassomesa’ Ssentebe Kamunyu bwe yategeezezza Ababaka.

Wabula yabadde tanamalayo Omubaka ate nga yakulira banne ku kakiiko kano Rwakoojjo namwambalira nagamba nti kya nnaku nnyo abassomesa bano ne bakiriza abaana okwambala enkunamyo ne bamalako obudde bwe babeera nabo nga babasomesa nga babatunuulidde butunuuliriza leero n’enkya.

‘Nkakasa nga mwena muli bazadde, munyumirwa mutya okutunuulira ebisambi by’abaana bano mu kifo kyokubakomako, lwaki amanyi gemukozesa nga musaba emisaala okwongezebwa ssi gemukozesa okulongoosa emirimu naffe nga palamenti  netubawagira  babawe ssente nga tusanyuse.

Ababaka baasabye amateeka amakakali gakozesebwe abassomesa nga bano batwalibwe mu mbuga z’amateeka baggalibwe mu kkomera olwo banaabwe bafune ekyokuyiga. Wabula bagamba nti ettendekero nga lyo terinabaga teeka lyonna ku nyambala y’abayizi era ng’abayizi bangi bava awaka waabwe n’obugoye bw’enkunamyo ate ng’abamu bambala jiini eza ‘damegi’.

Omu ku bassomesa abakyala eyabadde ku tiimu eno Janet Kasule Nabalika yakaksizza ng’abamu ku bassomesa abanafu b’emitima abatondowalira olw’enyambala y’abayizi abamalirizza nga babakabasanyizza ate abamu abalina emitima emigumu ne baguma.

Ababaka era bemulugunyizza olw’omuwendo gw’abayizi abatamaliriza misomo mu tendekero lya Makerere olw’abassomesa  okubasuula olwokugaana okwegatta nabo ate ng’abamu babakola mbuto. Wabula kino abassomesa bakiwakanyizza nga bagamba nti  abayizi abaggwa mu kiti kino baweebwa obudde obulala ne basobola okumalako ate ng’abamu balemererwa lwa bisale.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Team 220x290

Minisita alonze akakiiko akanaasalawo...

MINISITA w’ebyenjigiriza Janet Museveni alonze akakiiko ka bantu 17 okwekenneenya lipooti eyakolebwa akakiiko k’omugenzi...

Gomez 220x290

Selena Gomez alangiridde bw'agenda...

Selena yatambulira ku mukolo gwa Cannes ogwa kapeti emmyuufu nga Murray atongoza firimu ye empya emanyiddwa nga...

Hat2 220x290

Abakulembeze be Kawempe bakukkulumidde...

Abakulembeze be Kawempe bakukkulumidde poliisi olw'okutyobola ekitiibwa kyabwe

Bajulizi 220x290

Emikolo gy'okutegeka olunaku lw'Abajulizi...

BANNAYUGANDA abeegattira mu kibiina ekimanyiddwa nga Uganda Cryodon Catholic Community ekisangibwa ku njegoyego...

Jeje703422 220x290

Minisita JJ Odongo alumbye Poliisi...

MINISITA w’ensonga ez’omunda Gen. Jeje Odongo (wansi) atabukidde abakulu mu poliisi olw’enguzi esensedde ekitongole...