TOP

Basonze ku kyasse omugagga Charles Muhangi

By Musasi wa Bukedde

Added 6th December 2018

Amangu ddala nga Muhangi yaakafa, abamu ku baasooseewo baagambye nti afudde bulwadde bwa sukaali kubanga nti bumaze ekiseera nga bumutawaanya.

Nsubugamuhangiwidow 703x422

Nnamwandu wa Muhangi wakati ng'akaaba

Baakijjulirizza n’eddagala omuli n’empeke wamu n’ery’okunywa lye baasanze mu kisenge kya Muhangi mwe yafiiridde nga kigambibwa nti ly’abadde amira okukkakkanya obulumi.

Kyokka abamu ku ba famire ne mikwano gya Muhangi bino baabiwakanyizza nga basonga ku gwe baayise omupango era nga bateebereza nti omuntu waabwe yandiba nga yaweereddwa butwa.

Mukwano gwe era musuubuzi munne, Charles Karangwa yagambye nti ye yasembye okubeera ne Muhangi mu bbaala e Munyonyo (erinnya lirekeddwa) era ateebereza nti awo we yafunidde ekizibu.

 

Aba A - Plus nga batwala omulambo gwa Muhangi mu ddwaaliro e Mulago gye baagukoleddeko oluvannyuma neguggyibwayo ne gutwalibwa mu kifo kya kkampuni ya A Plus e Mmengo we bakuumira emirambo nga balinda okugiwa abooluganda.

Nti alina omuntu atakolagana na Muhangi gwe yalabye mu kifo ekyo ng’ali mu kafubo n’omu ku bawala b’ebbaala ate omuwala oyo ye yabakozeeko era ebyo yabigassegasse amaze kufuna mawulire nti mukwano gwe afudde.

alt=''

alt=''

Minisita Karooro Okurut ng'akungubagira Muhangi. Ku ddyo y'omu ku booluganda

Kyokka muliranwa Brig. Kwiringa akola mu kitongole ekikola ku densite z’eggwanga era nga y’omu ku baasoose awaka yagambye nti basabira wamu ne mukyala Muhangi ku Watoto kyokka buli Lwakusatu bakung'aanira mu maka ga Brig. Kwiringa ne basabira awo.

 

Amaka ga Muhangi

Yagasseeko nti mu kusaba kw’Olwo- kusatu oluwedde, mukyala Muhangi yabasaba bamwegatteko mu kusabira bba kubanga sukaali amuli bubi era ne basaba.

 

alt=''
alt=''

 Abantu nga bakungubagira Muhangi

 

Ssentebe wa LC I Robert Bwire yagambye nti naye baamukubidde ssimu nti omutuuze we afunye obuzibu era okutuuka yasanzeewo Dr. Kaggwa eyamutegeezezza nti Muhangi yabadde yafudde dda.

alt=''
alt=''

Waabaddewo okusika omuguwa ng’ekiwayi ekikulirwa omugagga Hassan Basajjabalaba kigamba nti poliisi okutwala omulambo, balina okusooka okufuna omusawo owaabwe agwekebejje.

 

alt=''

 

 

 

Kyokka oluvannyuma bakkirizza poliisi n’egutwalibwa e Mulago okugwekebejja.

Abooluganda abamu baagendeddeko okulaba lipoota y’abasawo ky’evaayo nakyo ku kituufu ekyasse Muhangi.

alt=''
alt=''

 

Ng’oggyeeko obusuubuzi n’emirimu gy’okusaabaza abantu, Muhangi yayatiikirira nnyo nga kafulu mu mmotoka z’empaka bwe yawangula engule ya Afrika. EBIRALA, P6,

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Laha 220x290

Baze ambuzeeko kati wiiki bbiri...

OMWAMI wange yambulako kati wiiki bbiri nga simulabako kyokka yandekera omwana omuto nga ne ssente sirina.

Ssenga1 220x290

Omukazi alabika yandoga obusajja...

OMUKAZI bw’aba nga yanzita obusajja, nsobola okufuna eddagala? Sirina manyi ga kisajja bulungi ate nga gaali mangi...

Pansa 220x290

Stecia Mayanja ddala muzito oba...

HAJATI Faridah Mubiru manya Stecia Mayanja owa Kream Production ennaku zino alina engeri gy’agezze ate nga ne Sharia...

Dvq8ouzwkaakba8 220x290

Awagidde eky’okusimbawo Museveni...

SSENTEBE w’amatabi ga NRM agali ebweru wa Uganda, Al Haji Abbey Walusimbi awagidde ekyasaliddwaawo akakiiko ak’oku...

Letter002pix 220x290

Abaserikale ba poliisi y'oku mazzi...

ABASERIKALE ba poliisi erawuna ennyanja bataano bagudde mu mazzi eryato mwe babadde batambulira nga bali ku mirimu...