TOP

Basereebu beesunga kuwangula ngule mu mpaka z'emisono

By Martin Ndijjo

Added 6th December 2018

Bannayuganda bagenda kuttunka n’Abasouth Africa mu mpaka z’okwolesa emisono.

As 703x422

Abamu ku bantu abazze okwetaba mu mpaka

Enkya (Lwakutano) kigenda kutokota si kisaanikire ku Serena Hotel Bannayuganda nga battunka n’Abasauth Afirika  ku ntujjo y’okwolesa emisono egiri ku mulembe mu mpaka z’ebyemisono ezitumiddwa Abryanz style and fashion awards’

Ng’ogyeko omukolo gw’okukwasa abawaguzi mu mitendera egisoba mu 13 egivuganyizibwako

omuli; omuyimbi omukyala n’omusajja abasinga okwesala emisono, basereebu abasinga okwambala, vidiyo y’oluyimba esinga okuggyayo eby’emisono, abasinga okukuba ebifaananyi by’emisono, ba dizayina abasinga okukola emisono egy’akabi, abatandisi ba bizinensi z’ebyemisono, moddo asinga, n’abalala engule ze bwe,

Omutegesi w’empaka zino, Brian Ahumuza ategezezza nga bwe wategekeddwawo n’etujjo y’okwolesa emisono omuli n’obugoye bu sonsomola.

 ai tafo ngatuuka ku kissawe e tebe Mai Atafo ng'atuuka ku kissawe e Ntebe

Mu kanyomero kano obwedda k'ayogerako nga akanyuvu era akasuubirwa okukubya abalabi enduulu,

Ba dizayina okuva mu Bannayuganda bagenda kuba bavuganya n’abalala abavudde ebweru w’eggwanga okuli n’abavudde e South Africa basatu.

Buli omu bagenda ku muwa omukisa okwambaza ba moddo abawala ababalagavu n’abavubuka abamanyi engoye z’akola olwo omu kw’omu balinye ku siteegi mu mbeera ey’okwolesa.

Mu kanyomero kano Uganda ekikiriddwa  mwana muwala Anita Beryl owa BERYL Qouture ne Buyi Philip owa Kkoolo.

Abavudde ebweru kuliko; Laduma Ngxokolo owa MaXhosa ne David Tlale okuva e South Africa ssako Alex Alecool owa Alecool Clothing Munnayuganda abeera mu Bungereza

Mu bamaze okutuuka mu ggwanga mwe muli ne ba MC b’omukolo okuli; Anita Nderu, Mai Atafo ne Tracy Wanjiru

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Gattako 220x290

Hosni Mubarak owa Misiri yafudde...

EYALI Pulezidenti wa Misiri, munnamagye Hosni Mubarak, bannansi gwe baanaabira mu maaso ne bamumaamula ku ntebe...

St14 220x290

Obululu bwa Stambic Uganda Cup...

Obululu bwa Stambic Uganda Cup bukwatiddwa

Got12 220x290

Emmotoka z'empaka zizzeeyo e Jinja...

Emmotoka z'empaka zizzeeyo e Jinja

Muhabati 220x290

Abawanguzi ‘b‘Omuhabati ku kizinga’...

NG’EBULA ennaku mbale Bukedde TV okutwala abawagizi baayo ku bizinga e Kalangala, abantu bakyagenda mu maaso n’okwetaba...

Untitled5 220x290

Owa B2C baamunaaza olweza ne lunoga...

OMUYIMBI w’ekibiina kya B2C, Peterson Ssali amanyiddwa nga Boby Lash akuze. Okumanya akuze n’okukookolima akookolima....