TOP

Entalo Muhangi z'alwanye

By Musasi wa Bukedde

Added 7th December 2018

OBULAMU bwe buba lutalo, Charles Muhangi 61, alwanye entalo eziwera era w’afiiridde ng’akyazuuzumba ne luno lw’oyinza okuyita olutalo kabedwa mu bulamu bwe olw’abagagga banne Francis Drake Lubega ne Mansur Matovu amanyiddwa nga Yanga be yatutteko ebizimbe; ekya Qualicel ne Nabukeera olw’enkaayana zaabwe ezimaze emyaka 14.

Zannya1 703x422

Omugenzi Muhangi ne Yanga Matovu (ku ddyo) omu ku bagagga be yatwalidde ebizimbe.

Enkaayana zibadde ku ttaka eryali erya Bbaasi z’Abaganda nga bombi, Drake Lubega ne Muhangi bawera nti buli omu ye mutuufu era Muhangi w’afiiride nga yaakamala okubowa ebizimbe bya Drake Lubega ne Yanga ebyazimbibwa ku ttaka lino erya Bbaasi z’Abaganda.

OLUTALO LWA MUHANGI NE DRAKE LWAVA WA?

Mu mwaka 2002, KCCA eyali KCC mu kiseera ekyo yakkiriza okugaba liizi ku ttaka lya Bbaasi z’Abganda eri kkampuni mwenda ezeegatta ne zikola ekibiina; Uganda Bus Operators’ Association (UBOA) oluvannyuma ekyafuulibwa kkampuni eyitibwa UBOA Investments Ltd.

Kkampuni zino kwaliko; Lowi Roadway Ltd, Long Freighters Ltd, Kyn and Reyne Investments, Horizon Coaches Ltd, Kabonesa Investments Ltd, Travelers Choice Ltd, Hajji Asuman Junju and Sons Ltd, UBOA Central Ltd ne Global Technical Works Ltd.

Okusika omuguwa kwasookera mu bakulira kkampuni zino, abamu nga balumiriza bannaabwe okwekomya ettaka n’obuyinza bwonna ku nzirukanya ya ppaaka ya bbaasi ate ng’ettaka lyabwe bonna.

Ekiseera ekyo kkampuni ya Horizon Coaches Ltd. ye yali eddukanya ppaaka ya bbaasi ng’obuyinza bwonna bwali mu mikono gya Muhangi, ng’ono ye nnannyini kkampuni ya Horizon Coaches Ltd.

Ku ttaka eryo erisoba mu yiika ebbiri, kwaliko akatale akayitibwa ‘Akatimba’ ng’akatale ako kaali si kazimbe wabula ka bibaawo n’ebitiititi.

Akatale kaasendebwa era ekibangirizi we kaali kkampuni ya UBOA Investments Ltd. n’etundawo.

Yaguzaawo abagagga okuli John Bosco Muwonge, John Ssebalamu ne Christine Nabukeera era ne bazimbawo ebizimbe okuli Premium n’ebirala era eyo teri nkaayana.

Okutunda ekitundu ky’ettaka lino tekyasanyusa abamu ku bakulira kkampuni ez’enjawulo ezeegatta KCC n’eziwa ettaka.

Baali bakyayogera ku butunzi obwo ate ne bawulira ebigambibwa nti kkampuni ya Total nayo bagisaliddeko ekitundu ezimbeko essundiro ly’amafuta . Kino kyasajjula abakulira kkampuni endala omunaana ezeegatta bagule ettaka eryo.

Baalumiriza nti okutunda abamu tebaategeezebwa era kigambibwa nti baatuula ne basalawo nti ettaka eryo balitunde kubanga n’emyaka gya liizi etaano KCC gye yali ebawadde nga gikunukkiriza okuggwaako.

Mu 2005 , abakulira kkampuni omunaana baatuula nga munnaabwe Muhangi owa kkampuni ya Horizon Coaches Ltd. taliiwo ng’afunidde ebizibu e Mbarara gye yali aggaliddwa mu kkomera ne basalawo okunoonya omugagga atwale ettaka balitaase okuddayo mu KCCA.

KCCA yali ebataddeko akakwakkulizo nti bwe balemererwa okukulaakulanya ettaka eryo mu myaka etaano liizi bagenda kugibaggyako. Baafuna omugagga Francis Drake Lubega naye eyakkiriza okuligula.

DRAKE NE MUHANGI BATANDIKA OKUSIKA OMUGUWA

Nga December 23, 2005, kkampuni musanvu ku kkampuni mwenda zaaguza Drake Lubega ettaka. Eno ye yali entandikwa y’olutalo wakati wa Drake Lubega ne Charles Muhangi.

Muhangi yawakanya obutunzi buno nti bwakolebwa taliiwo era emigabo gye gyonna gyabalibwamu ssente naye byonna n’abigaana.

Lubega olwasasula ettaka ssente ezisoba mu buwumbi butaano buli kkampuni teyalinda.

 keedi abukeera gye yawambye nagituuma azannya nengo Akeedi Nabukeera gye yawambye n’agituuma ‘Bazannya n’engo’

 

Mu ggandaalo lya Ssekukkulu yagenda n’amenya ebiyumba by’abasaabaze ebyaliko ekitundu ekimu n’azimbako ebizimbe bya Qualicel Bus Terminal era n’aguzaako ne mugagga munne Mansoor Matovu (Yanga) naye eyazimbako akeedi eyitibwa Nabukeera Plaza.

Mu 2006 Muhangi yamulumba n’ayagala okuwambawo kyokka n’amulemesa era okuzimba ku ppaaka awo amasasi gaanyooka.

Drake Lubega yamumegga n’azimba n’amaliriza byonna ku biragiro bya kkooti.

Mu 2007 Muhangi yaggulawo omusango n’afuna ekiragiro. Yayingira mu ppaaka n’amalamu omwezi ng’asolooza kyokka Drake n’addayo mu kkooti era n’amufulumya.

Oluvannyuma baafulumya lipooti okuva mu ofiisi ya Pulezidenti ekola ku by’ettaka ng’eraga nti waaliwo ensobi eyakolebwa mu kukyusa obwannannyini bw’ettaka okuva mu mikono kya UBOA Investments Ltd. era ebyapa biddemu byekebejjebwe.

Kino kyawa Muhangi amaanyi n’ayagala okuddayo ku ttaka era n’agobwa ng’ateekwa kuggulawo musango mu kkooti Enkulu n’eragira nti ebyapa bisazibwemu kubanga kkooti y’erina obuyinza okulagira ku byapa.

DRAKE LUBEGA YEENYWEZA

Lubega yafuna ekiragiro kya kkooti ekinyweza ettaka lye. Mu 2011, Lubega yeekubira enduulu mu kkooti ya Ssemateeka ng’awakanya lipooti eyali ekoleddwa ku ttaka okwemulugunya ne bakugoba era olutalo ne lubeerawo lunene n’emmundu ne zivaayo kyokka nga Muhangi talina kiragiro kya kkooti kiragira kusazaamu byapa bya Lubega okuggyako lipooti y’akakiiko k’ettaka.

Drake Lubega yajulira mu kkooti ey’oku ntikko abalamuzi bataano: Jotham Tumwesigye, Mayambala Kisaakye Stella Arach-Amoko, Eldard Mwangusya ne Lillian Tibatemwa, nga May 26, 2017 baagoba okujulira kwe ng’awakanya ensala ya kkooti ejulirwamu eyasalawo nga April 29, 2015 okumusingisa omusango.

Nga July 2017, Muhangi yawandiikira omuwandiisi wa kkooti ejulirwamu ng’amutegeeza nti ssente z’engassi yazifuna kati ayagala kiragiro ayingire ku ttaka lye.

Omuwandiisi wa kkooti ejulirwamu Deo Nizeyimana yawandiikira omulamuzi Remy Kasule amuwabule ekyokukola ng’amugattiddeko okukkiriziganya okwali mu kkooti nga Lubega aggyayo omusango nga July 22, 2016.

Omulamuzi Remmy Kasule yawabula Ssaabawandiisi wa kkooti Deo Nizeyimana nti ekiragiro kyokka ekiteekeddwa okussibwa mu kkooti kusasula ssente ezaakozesebwa mu kkooti naye amateeka tegakkiriza kuddiza Muhangi ttaka.

Muhangi yalemerako okusaba ekiragiro kya kkooti era ebbaluwa nnyingi nga ziva mu ofiisi ya Ssaabaluhhamya wa gavumenti ku by’amateeka zaafuluma.

Nga July 21, 2017 omumyuka wa Ssaabawolereza wa Gavumenti Mwesigwa Rukutana yawandiika ebbaluwa ng’erimu ebiragiro byonna ebizze bifulumizibwa okuva 2011 era n’alagira nti tewali kiragiro kya kkooti kikkiriza Muhangi kuyingira ku ttaka nti embeera esigale nga bw’eri.

Nga October 23, 2018, Muhangi yazzeeyo mu ofiisi etaputa amateeka n’afuna ebbaluwa eriko omukono gwa Charity Nabasa eyamuwadde ebbaluwa ku lwa mukama we ataputa amateeka eyaluhhamizza nti Muhangi yagobwa mu bukyamu era poliisi emuyambe okuddayo ku ttaka lye.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Amomentwithteachergracenampiimaeditortotomagazinewebuse 220x290

Ensonga 5 lwaki omwanawo olina...

Abakugu bakulaga ensonga lwaki osaanye okusasulira omwana wo okugenda okulambula

Passionfruitpannacotta800800webuse 220x290

Ebivaako omwana okuziyira

Genderera omwana wo okutangira okuziyira okusobola okutangirwa

4webuse 220x290

Omuwendo gw’abantu abakozesa kondomu...

Bannayuganda bakubiriziddwa okwettanira okukozesa kondomu bwe tunaaba baakumalawo siriimu ng'omwaka 2030 tegunnatuuka...

Unity 220x290

Akwatibwa ng'awa abaana abataayaayiza...

EBYOKUSAAGA bikomye: Minisita w’ensonga z’abaana Florence Nakiwala Kiyingi ategezezza nti omuntu yenna anaakwatibwa...

Unique 220x290

Etteeka ku bamansa kasasiro lijja...

MINISITA avunaanyizibwa ku guno na guli Mary Karooro ategeezezza nti gavumenti egenda kuleeta erobonera abamala...