TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Aba Famire ya Muhangi sibamativu ne alipoota ku nfa y'omuntu waabwe

Aba Famire ya Muhangi sibamativu ne alipoota ku nfa y'omuntu waabwe

By Ponsiano Nsimbi

Added 7th December 2018

Aba Famire ya Muhangi sibamativu ne alipoota ku nfa y'omuntu waabwe

Lip2 703x422

Aba Famire ya Muhangi nga bali mu lumbe e Buziga

ABAFAMIRE ya Charles Muhangi sibamativu ne alipoota ya basawo ba gavumenti eyalaze nti omuntu waabwe yafudde oluvannyuma lw’omutima okwesiba.

Bano bategeezeza nti yadde alipoota yalaze nti Muhangi okufa kwe kwavudde ku mutima okwesiba bakukola okunoonyereza okwabwe okuzuula kino kwe kyavudde kubanga omuntu waabwe abadde mulamu bulungi.

Kino kiddiridde abasawo ba gavumenti nga bakulembeddwamu Dr. Moses Byaruhanga okufulumya alipoota ku nfa y’omugenzi ku Lwokuna eyalaze nti omutima okwesiba kye kyaviriddeko Muhangi okufa.

Eggulo abenganda n'emikwano beeyiye mu lumbe olw'abadde mu maka ge e Buziga ngera bangi batudde mu bukuukuulu nga buli bamu bogera byabwe kunfa y’omugenzi

Abamu ku boluganda beetemyemu ku byalipoota ya basawo kyokka bonna ne bakkanya ku kyokugenda Maaso n’okuziika oluvannyuma bakukola e okunoonyereza okwabwe okuzuula ekyaviriddeko omutima okwesiba.

     

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Pass 220x290

EBIKULU MU BUKEDDE W'OLWOKUBIRI...

Bawambye omwana omulala ne basaba obukadde mukaaga; bamusse omulambo ne bagusiba mu kadeeya.

Owakccangayogeramulukiiko 220x290

Ab'e Bwaise batabukidde aba KCCA...

“Twagala Pulezidenti Museveni y’aba atulagira okusasula kuba n’amazzi gakyatuyingirira mwe mulabika temuvudde na...

Kizito 220x290

Basajjabalaba alaalise okulwanyisa...

NNAGGAGGA Hassan Basajjabalaba asinzidde mu kuziika Charles Muhangi n’alabula abaggagga abaagala okutwala ebintu...

Rite6 220x290

Poliisi ekubaganye n'aba takisi...

Mu kanyoolagana akaabaddewo omuserikale eyategeerekeseeko erya Kasirye yakubiddwa ejjinja era ono yatwaliddwa...

Lekwa 220x290

Muhangi afudde akkirizza okuliyirira...

Ssentebe w’e Nsangi, Abdul Kiyimba yasabye Ruhakana Rugunda okugonjoola eby’ebizimbe ebikaayanirwa kubanga bwe...