TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Ebya poliisi okugaana FDC okukuba enkung'ana mu Ankole bigguse mu palamenti

Ebya poliisi okugaana FDC okukuba enkung'ana mu Ankole bigguse mu palamenti

By Musasi wa Bukedde

Added 7th December 2018

Ebya poliisi okugaana FDC okukuba enkung'ana mu Ankole bigguse mu palamenti

Fab2 703x422

ABABAKA ba palamenti basabye gavumenti  okutegeka ensisinkano wakati wa poliisi n’ekibiina kya FDC kimalewo okusika omuguwa okuli wakati w’enjuyi zombi ku kukuba enkunga’ana zaakyo mu ggwanga.

FDC ekkukkuluma nti poliisi egizinya oluguje n’egiremesa okukuba enkung’ana ng’ate ekibiina ky’obufuzi kino kyewandiisa era ng’ebintu byakyo kibikolera mu matteeka. Kigambibwa nti poliisi yayimirizza FDC okukuba enkung’ana mu Ankole.

Bino byabadde mu  palamenti omubaka  Francis Mwijukye(Buhweju) bwe yasabye minisita w’ensonga z’omunda Obiga Kania okutegeka ensisinkano wakati wa poliisi n’abakulembeze ba  FDC enjuyi zombi zisobole okukwatagana.Yalumirizza nti poliisi ssi neetegefu kusisinkana bakulembeze ba FDC.

Omubaka w’e Lwemiyaga Theodro Ssekikubo (NRM) yagambye nti  eby’okuzzaawo enkola y’ebibiina by’obufuziebingi tebinasimba bulungi makanda. N’asaba gavumenti okufuba okulaba ng’enkola eno etojjera. Yagambye nti kino kye kivaako poliisi okukwata obubi ab’oludda oluvuganya gavumenti.

Minisita Obiga Kania yannyonnyodde palamenti  nti nga November 14 ,2018 FDC yawandikira Ssabaduumizi  wa poliisi Okoth Ochola  ng’emutegeeza nga bwe wagenda okubaawo omukolo gw’okusaba e Rukungiri mu kisaawe nga November 26,2018. Kyokka nti poliisi yayanukula nti omukolo guno  tegugoberedde mateeka wabula nti omu ku ba FDC Ingrid Turinawe yasalawo kukunga bantu bakole effujjo ku poliisi.

Era nti abantu baatandika okukanyugira aba poliisi amayinja n’okukuma omuliro mu nguudo ne poliisi n’ekwatayo abamu n’ebatwala mu kkooti.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kazi 220x290

Eyandesa omulimu ansuddewo

NZE Mediatrice Kubwimana 28, nzaalibwa Burundi naye nga mbeera Namugongo Zooni II. Mu 2011, nafuna omulimu gw’obwayaaya...

Civil 220x290

Omukazi atagambwako yali antamizza...

ENNAKU gye ndabidde mu nsonga z’omukwano mpitirivu era nabulako katono okugwenenya.

Funa 220x290

Eyantwala ku yunivasite yanzitattana...

NZE Jennifer Alwoch 26, mbeera ku kyalo, Adyel mu Lira. Bazadde bange bampeererako okutuuka mu S6 naye ssente ezinyongerayo...

Ssenga1 220x290

Lwaki mpulira sirina maanyi ga...

SSENGA mpulira nga sirina bulungi maanyi ga kisajja. Naye bwe neegatta amaanyi ngafuna bulungi naye ndowooza nti...

Ssenga1 220x290

Ensundo ya muganzi wange entiisa...

SSENGA nnina omuwala gwe njagala naye alina ensundo empanvu ku kisambi. Mugamba agende mu ddwaaliro agamba nti...