TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Abasuubuzi b'e Mukono bawanjagidde Gavumenti ku musolo

Abasuubuzi b'e Mukono bawanjagidde Gavumenti ku musolo

By Musasi wa Bukedde

Added 7th December 2018

Abasuubuzi b'e Mukono bawanjagidde Gavumenti ku musolo

Gop1 703x422

Abasuubuzi b’ekibuga Mukono  beemulugunyizza eri munisipaali y’ekibuga kino ne gavumenti olw’omusolo omungi gwe bababinika  ogubalemesezza okutuukiriza  emirimu gyabwe okusinziira ku nteekateeka zaabwe ez’okumaliriza mu mwaka.

Bano ababadde bakulembeddwa  Augustine Kasozi owa Colline Hotel,bategeezezza nga bwe bakaluubirizibwa okusasula ensimbi z’omusolo ezibabanjibwa olw’ensonga nti abantu be baliisa ne be basuza baafuuka ba bbula  olwa zi loogi okusukka obungi mu Mukono n’ebitundu ebiriraanyeewo, ate nga tezikolera mu mateeka.

“Ebintu kati byakyuuka tebikyali nga bwe byali edda. Ba musiga nsimbi n’abantu abakyala kuno beeyuna zi loogi  eziri mu bufunda  kubanga za layisi kyokka nga tezisasula musolo n’olwensonga eyo, tumala n’emyezi ebiri nga tetufunye bantu bawera abiri (20).”Kasozi bwe yategeezezza.

Kasozi nate yasabye gavumenti okubakendeereza ku muwendo gw’ensimbi ez’omusolo ze balina okusasula wabula ate n’akubira ne munisipaali y’e Mukono omulanga  okulaba nga bakola okunoonyereza okwenkomeredde mu buli bufunda  mu bitundu eby’enjawulo okwetooloola Mukono  okuzuula loogi ezitakolera mu mateeka naddala ezitasasula musolo,nga kwogasse n’okuggala ezo ezitatuukanye na mutindo.

Ate ye avunaanyizibwa ku mirimu egikolebwa mu Colline Hotel Flavia Kasozi asabye gavumenti okuteeka amaanyi  ag’ekikugu mu by’enjigiriza  by’abakozi ba zi wooteri ennene kisobozese ba nnauganda okwefunira emirimu egy’amaanyi mu wooteri ez’amawanga ag’ebweru n’obutayisibwamu maaso.

“Ebyenjigiriza by’e Uganda tebituukana na mutindo  gw’abantu abeetaagibwa mu mirimu nga gino era eyo ye nsonga lwaki twettanira nyo abakozi okuva e Kenya kubanga bamanyi kye bakola ate balina obuvunaanyizibwa okusinga abaawano abalina obunafu n’okwesaasira.” Kasozi bwe yagambye.

Ye meeya wa munisipaali y’e Mukono George Fred Kagimu  asabye abasuubuzi bonna okusiima ba kasitoma baabwe  kibasobozese okunyweza n’okuggumiza enkolagana wakati w’enjuuyi ebbiri awatali kunyigirizibwa.

Bino byabadde ku Colline Hotel awabadde wategekedwa omukolo gw’abasuubuzi  mu disitulikiti y’e Mukono okwekulisa omwaka nga kwogasse n’okusiima ba kasitoma baabwe.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Civil 220x290

Omukazi atagambwako yali antamizza...

ENNAKU gye ndabidde mu nsonga z’omukwano mpitirivu era nabulako katono okugwenenya.

Funa 220x290

Eyantwala ku yunivasite yanzitattana...

NZE Jennifer Alwoch 26, mbeera ku kyalo, Adyel mu Lira. Bazadde bange bampeererako okutuuka mu S6 naye ssente ezinyongerayo...

Ssenga1 220x290

Lwaki mpulira sirina maanyi ga...

SSENGA mpulira nga sirina bulungi maanyi ga kisajja. Naye bwe neegatta amaanyi ngafuna bulungi naye ndowooza nti...

Ssenga1 220x290

Ensundo ya muganzi wange entiisa...

SSENGA nnina omuwala gwe njagala naye alina ensundo empanvu ku kisambi. Mugamba agende mu ddwaaliro agamba nti...

Buget 220x290

Palamenti eyisizza bajeti ya 2019/20...

PALAMENTI eyisizza bajeti y’omwaka gw’ebyensimbi ogujja ogwa 2019/2020 nga ya Tuliliyooni 40 (Bwe buwumbi emitwalo...