TOP

Abayizi nabo batusuula mu bikemo - Basomesa

By Musasi wa Bukedde

Added 7th December 2018

ABASOMESA b'e Makerere ku yunivasite beewozezzaako mu kakiiko ka Palamenti ku bigambibwa nti, bayitiridde okukabassanya abawala ne bagamba nti babasoomooza nga bambala obugoye obukokoonya.

God 703x422

Ssentebe w'ekibiina ekigatta abasomesa b'e Makerere, Dennis Kamunyu (ku ddyo) mu kakiiko. Ku kkono ye Dr. Geofrey Nuwagaba.

Baabadde mu kakiiko ka Palamenti akassibwawo okunoonyereza ku kikabassanya abayizi mu masomero ga pulayimale n’amatendekero aga waggulu nga beewozaako oluvannyuma lw'okuyitibwa akulira akakiiko kano omubaka Robina Rwakoojo beennyonnyoleko.

"Mukoze kinene okwonoonera abawala ebiseera eby'omu maaso nga mubakabassanya abamu ne bafuna embuto ne batamalaako ng’abamu mubasuubiza okubawa obubonero ekintu ekikyamu", Rwakoojo eyabadde omunyikaavu bwe yategeezezza abassomesa bano.

Mu kwanukulu Dennis Kamunyu ssentebe w'ekibiina ekigatta abasomesa b'e Makerere ekya 'Makerere University Academic Association' yagambye nti kituufu waliwo abasomesa abakabassanya abayizi kyokka ate n’abasomesa beemulugunya olw’ennyambala y’abayizi eya kookonyo ereetera abamu okuva mu mbeera.

"Twafunako lipoota okuva mu basomesa bannaffe nga baliko bannaabwe be baawawaabira olw'okukabassanya abawala naye ate waliwo n’abatuleetera abayizi bennyini nga bakema abasomesa", Kamunyu bwe yategeezezza akakiiko.

Wabula yabadde tannamalayo Rwakoojo n'amwambalira nti kyannaku abasomesa bano okukkiriza abawala okwambala enkunamyo ne bamala obudde bwe bandibadde babasomeserezaamu nga batunuulidde bugoye bwabwe.

"Nkakasa muli bazadde, munyumirwa mutya okutunuulira ebisambi by’abaana bano mu kifo ky'okubakomako", Rwakoojo bwe yategeezezza.

Ababaka baasabye amateeka amakakali gakozesebwe abasomesa batwalibwe kkooti ne mu kkomera bannaabwe bafune ekyokuyiga.

Baagamba nti ettendekero nga lyo terinnabaga tteeka lyonna ku nnyambala y’abayizi era bangi bava awaka mu nkunamyo.

Omu ku basomesa abakyala eyabadde ku ttiimu eno Janet Kasule Nabalika yakakasizza ng’abamu ku basomesa abanafu b’emitima abatendewalirwa olw’ennyambala y’abayizi ate abalina emitima emigumu ne baguma.

Ababaka era beemulugunyizza olw’omuwendo gw’abayizi abatamaliriza misomo mu ttendekero lya Makerere olw’abasomesa okubasuula olw'okugaana okwegatta nabo.

Kino abasomesa baakiwakanyizza nga bagamba nti, abayizi abagwa mu kiti kino baweebwa obudde obulala ne basobola okumalako ate abalala balemererwa lwa bisale.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Pass 220x290

EBIKULU MU BUKEDDE W'OLWOKUBIRI...

Bawambye omwana omulala ne basaba obukadde mukaaga; bamusse omulambo ne bagusiba mu kadeeya.

Owakccangayogeramulukiiko 220x290

Ab'e Bwaise batabukidde aba KCCA...

“Twagala Pulezidenti Museveni y’aba atulagira okusasula kuba n’amazzi gakyatuyingirira mwe mulabika temuvudde na...

Kizito 220x290

Basajjabalaba alaalise okulwanyisa...

NNAGGAGGA Hassan Basajjabalaba asinzidde mu kuziika Charles Muhangi n’alabula abaggagga abaagala okutwala ebintu...

Rite6 220x290

Poliisi ekubaganye n'aba takisi...

Mu kanyoolagana akaabaddewo omuserikale eyategeerekeseeko erya Kasirye yakubiddwa ejjinja era ono yatwaliddwa...

Lekwa 220x290

Muhangi afudde akkirizza okuliyirira...

Ssentebe w’e Nsangi, Abdul Kiyimba yasabye Ruhakana Rugunda okugonjoola eby’ebizimbe ebikaayanirwa kubanga bwe...