TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Kayiira Gajuule alabudde ku maka okutabuka olw'obutakulembeza nnono

Kayiira Gajuule alabudde ku maka okutabuka olw'obutakulembeza nnono

By Dickson Kulumba

Added 7th December 2018

Kayiira Gajuule alabudde ku maka okutabuka olw'obutakulembeza nnono

Fib2 703x422

OMUKUBIRIZA w’olukiiko lw’Abataka abakulu b’ebika mu Buganda, Kayiira Gajuule Fredrick Kasibante IV agambye nti wajja kubeerawo obuzibu singa  tewabeerawo kikolebwa okutereeza n’okunyweza ennono y’okwanjula n’okufumbirwa.

Gajuule bweyabadde ayogera ku musomo gw’ennono n’obuwangwa ogutegekeddwa mu Lubiri e Mmengo leero December 7,2018 yagambye nti emikolo gy’okwanjula gifuuse nga nningina ekintu ekyetaaga okutereeza,giryoke giveemu abatuuze abobuvunanyizibwa.

“Okwanjula kufuuse nga nnigina ng’ate tulina essuubi nti Obuganda okubeerawo wabeerawo abantu okufumbiriganwa nebakuggyamu ebirungi okuli okuzaala abaana, nebabeera n’amaka amalungi. Bwetulaba nti ebintu bino tebitambula nga tebiri mu nnono yaabyo, wajja kubeerawo obuzibu, amaka tegajja kunywera kubanga omuntu takitwala nti kimukakatako nti kimukwatako okufumbirwa omuntu asaanidde,” Gajuule bweyanyonyodde ku nsonga lwaki ensonga bagifudde emu ku zigenda okusomesebwa abazzukkulu.

Omusomo guno gutegekeddwa wansi w’omulamwa ogugamba nti “Ennono entabiro y’enkulakulana mu Buganda” ng’ekirala ekigenda okusomesebwako ly’ettaka n’engeri gyeriyinza okukozesebwa mu kutumbula enkulakulana.

“Obuganda bwayongera okukulakulana nga butambula ku nnono. Ennono yali ekuumiddwa bulungi mu bukulembeze,obusuubuzi era emirimu gyatambula bulungi mu myaka gya 1960. Amawanga agakulakulanye okuli Thailand, China gakuze bulungi olw’okunyweza ennono yaago naddala engeri ennungi ey’okukozesa ettaka. Tulina okusomoozebwa kungi ku ttaka nga byonna tugenda kubitunulamu,” Gajuule bweyayongeddeko.

Omusomo gw’obuwangwa ogw’ekikula kino gwatandikibwa mu 2016 nga gwakwata nnyo ku nsonga y’obutonde n’okutunulira eddiini n’obuwangwa ate mu 2017 ensonga y’obusika yakwatibwako oluvanyuma lw’okusomoozebwa nti abazadde bangi baali batandise okusikiza abaana abawala, ekintu ekitali mu nnono za Buganda.

Omuwandiisi w’olukiiko lw’Abataka, Kasirye Mbugeramula Kyadondo yamenye ebifo awasobola okufunibwa Kaadi z’okwetaba mu musomo guno okuli Mu Kiyembe ewa Charles Ssali, mu Kabaka Foundation e Bulange- Mmengo,ofiisi y’omukubiriza w’olukiiko lw’Abataka e Bulange by’ebifo omusangibwa kaadi z’omusomo guno nga waliwo ez’ensimbi 20,000/- ne 50,000/-.

Ye akulira emirimu mu Kabaka Foundation, Edward Kaggwa Ndagala yategezezza nti enteekateeka egendereddwamu okwongera okutumbula n’okunyweza ennono, obuwangwa saako n’okukulakulanya ebika ekintu ekinayamba okuzimba Buganda.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Lab2 220x290

Engeri gy’olina okwewala okuferebwa...

Engeri gy’olina okwewala okuferebwa ku ttaka n’okufi irwa ebyobugagga byo

Hab1 220x290

Taata n’omwana bafudde lumu;Omu...

Taata n’omwana bafudde lumu;Omu bamuziise mu ntaana ya People power omulala mu ya NRM

Kab1 220x290

Dokita eyabuze akwasizza omusawo...

Dokita eyabuze akwasizza omusawo

Broronnie1 220x290

Bro. `Ronnie Mabakai alagudde bannabyabufuzi:...

OMUSUMBA Ronnie Mabakai owa ETM Church esangibwa ku Salama Road e Makindye ne Holy City e Bwerenga azzeemu okulagula...

Komerera4webuse 220x290

Abaana bazannye okufa kwa Yesu...

Abaana bazannya olugendo lw'okufa kwa Yesu ne beewuunyisa abantu e Masajja