TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Abazigu balumbye nnamwandu ne bamutemaatema ne baleka ng'afudde

Abazigu balumbye nnamwandu ne bamutemaatema ne baleka ng'afudde

By Paddy Bukenya

Added 7th December 2018

Abazigu balumbye nnamwandu ne bamutemaatema ne baleka ng'afudde

Ban1 703x422

ABAZIGU balumbye Namwandu gwebabadde bagoba mu kibanja bba kyeyamulekera ne bamutema amajambiya n'enkumbi ku mutwe ne bamutta.

Abazigu abatannategekereka balumbye Namwandu Maria Gorret Namatovu 63 omutuuze we Namiryango mu gombolola ye Budde mu Butambala ne bamutema amajambiya n'akakumbi ku mutwe ne bamutta mu bukambwe omulambo gwe ne bagukweka mu lusuku oluvannyuma ne banoonya muzzukulu we gwabadde atumye ku dduuka n'ekigendererwa kyokumutta kyokka nababula.

Abazigu bano bamenye oluggi lwe Manju ku saawa ssatu ez’ekiro ne basanga Namatovu ku buliri bwe nga yebase ne bamutematema amajambiya ku mutwe ne mu feesi kyokka bwebalabye alaajana nyo nga baliraanwa bayinza okuwulira ne bamuwalula ne bamutwala emmanju wenyumbaye mu lusuku ne bamutema akakumbi ku mutwe ne gwatikamu ebitundu bibiri naafa olwo omulambo gwe ne bagukweka mu kitooke.

Wano abazigu bazeeyo mu nyumba ya Namatovu okunoonya muzzukuluwe gw'abadde abeera naye Alex Kayizzi 15 n'ekigendererwa kyokumutta nga battidde okubalonkoma kyokka nababula era neberabirawo akakumbi kebakozesezza okutta Namatovu nebadduka.


More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Sev3 220x290

Museveni agguddewo olusirika lwa...

Museveni agguddewo olusirika lwa NRM

Kab2 220x290

Ababadde bazze okupima ettaka emmotoka...

Ababadde bazze okupima ettaka emmotoka yaabwe bagikumyeko omuliro

Lab2 220x290

Kirya yeesozze "quarter" za Uganda...

Kirya yeesozze "quarter" za Uganda Cup n'okontola

Pop1 220x290

Okusunsula abayizi abagenda mu...

Okusunsula abayizi abagenda mu S5 kuwedde

Lop2 220x290

Ababbi balumbye ebyalo abatuuze...

Ababbi balumbye ebyalo abatuuze ne battako omu