TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Leero mu mboozi y'omukenkufu tukulaze engeri gy'oyinza okukola ssente mu mamera mu bbanga lya nnaku 7

Leero mu mboozi y'omukenkufu tukulaze engeri gy'oyinza okukola ssente mu mamera mu bbanga lya nnaku 7

By Musasi wa Bukedde

Added 7th December 2018

Leero mu mboozi y'omukenkufu tukulaze engeri gy'oyinza okukola ssente mu mamera mu bbanga lya nnaku 7

Jib1 703x422

Omukenkufu Nyanzi ng’alaga ddulaaya omukalira Amamera.

EMIRIMU ennku zino gifuuse emirimu, abavubuka bangi bamaze okusoma naye tebalaba mirimu, bangi baagala gya ofiisi ate egitakyalabika. N’abafunye omukisa okugifuna nabo bakaaba kusasulwa kitono, ekitegeeza nti kati amagezi muntu kwetandikirawo mulimu oba oli awo gwe wasoma ne gukusangayo.

Abantu babadde bajjumbidde okulima ate abamu baddukayo olw’embeera y’obudde, akatale akabi n’endwadde. Naye kino tekitegeeza nti olina kwekubagiza kubanga waliwo ebintu eby’enjawulo by’osobola okukola n’ofuna ensimbi ate ng’okolera waka.

Amamera gasobola okukuyamba okukuggya mu bwavu, sso nno n’omwana ali mu luwummula asobola okugalima agende okudda ku ssomero nga fiizi azikoze. Mwattu ate ekisinga obulungi okugalima teweetaaga ttaka, bw’ogalima akatale weekali kubanga nze ngagula.

Ensigo zonna zisobola okukola amamera kubanga guba mutunsi oguvaamu omulandira gwe twetaaga. Ne bw’oba mupangisa akasitoowa ako ku nnyumba w’osula mu kifo ky’okuteekamu amanda limiramu amamera mu nnaku musanvu obeera okwata ssente.

OKUKOLA AMAMERA Ofuna ensigo ez’ekika kyonna okugeza omuwemba, entungo, kasooli, obulo, ebijanjaalo n’ebirala. Zinnyike mu mazzi okumala eddakiika 40, mu mazzi mw’onnyise tabulamu eddagala eritta obuwuka wabula nga lya butonde oba oyinza okuteekamu Viniga ebigiiko 10 mu liita ttaano ez’amazzi.

Bw’onnyika mu mazzi, ensigo ennamu zijja kukka wansi ate ezigala waggulu ziba nfu, naye osobola okuziwa omukisa n’ozinnyika mu mazzi amalala bwe zigaana okukka omanya ezo nfu.

Oluvannyuma lw’eddakiika 40, ziteeke mu mazzi amayonjo ozooze ate oziteeke mu katimba zinnyulukuke amazzi n’oluvannyuma oteeke mu bbaketi enjeru, ate waggulu ku kisaanikira oteekeko ebituli zisobole okuyingiza empewo ey’obulamu. Muno zijja kumalamu ennaku ssatu n’oluvannyuma oziteeke ku katandaalo we zirina okumerera otandike okuzifukirira amazzi ku makya n’akawungeezi.

 mamera agatuuse Amamera agatuuse.

Kuno zijja kumalako ennaku munsanvu, zonna zijja kuba zimeze bwe zimera buli kkiro ejja kuvaamu kkiro mukaaga ate bw’onoyanika ezo kkiro omukaaga zijja kweveera zifuuke ssatu, ekitegeeza nti ogenda kufunamu 15,000/- kuba buli emu egula 5,000/- kati bw’oba nga wakozesa kkiro emu ey’ebijanjaalo gye wagula ku 1,500/- ekitegeeza nti n’ogiggyamu 15,000/- oba ofissa 13,500/- olwo oba tokola? Tutunda obutandaalo obulimirwako Amamera ku mitwalo 50, kano kasobola okumererako kkiro musanvu buli wiiki ate ne ddulaaya ya mitwalo 50 eno ekirungi ekigiriko osobola okugikozesa okwanikamu ebirime ebirala oba ebibala.

Mu kiseera kino nga tumalako omwaka eno ye bizinensi gy’osobola okukola n’ofunamu ne ssente z’onookozesa ku ssekukkulu ate n’okuyingira omwaka nga tokaaba mulimu. Abaana abali mu luwummula mu kifo ky’okubaleka batayaaye basobola okulima amamera ate bwe bagalya gabayamba okuzimba omubiri n’okugoba endwadde. Asangibwa ku Equatorial Mall dduuka nnamba 152 mu Kampala. Mufune ku 0702061652 / 0779519652

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Fot2 220x290

Omucuula guyamba ku lubuto olwesibye...

Omucuula guyamba ku lubuto olwesibye

Kab3 220x290

Owoolubuto weekwate ekiyondo okutereeza...

Owoolubuto weekwate ekiyondo okutereeza emmeeme

Gat2 220x290

Abayizi n’abaana nabo basobola...

Abayizi n’abaana nabo basobola okulumirirwa abalala mu kisiibo

Wab2 220x290

Nja kufiira ku babba eddagala -...

Nja kufiira ku babba eddagala - Ssentebe

Fut2 220x290

Omusawo bamukutte kufera bantu...

Omusawo bamukutte kufera bantu