TOP

Ebivuddeko obubenje mu nnaku enkulu

By Musasi wa Bukedde

Added 8th December 2018

Ebivuddeko obubenje mu nnaku enkulu

Fab1 703x422

NGA tusemberera ebiseera by’ennaku enkulu, obubenje bweyongera olw’akayisanyo ne waasiwaasi w’okunoonya ssente naddala mu bavuzi b’ebidduka. Obubenje butuze abantu bangi ne buleka ba mulekwa ne bannamwandu nga tebalina mwasirizi.

Emiranga, ebiwoobe n’okwaziirana bisaanikira eggwanga ne famire z’abantu olw’abaagalwa baabwe okubafaako olw’obubenje obutataddenaddala mu biseera nga bino ebyandibadde eby’essanyu! Buvunaanyizibwa bwa buli akozesa oluguudo okufaayo.

Ne bwoba ssi ggwe ali mu nsobi, leka kuguguba n’olemera mu kkubo ng’olaba waliwo ajja apaala mu ngeri etali ya buvunaanyizibwa kubanga akabenje tekatta oyo yekka ali mu nsobi. Okusinziira ku alipoota ya Poliisi ekwata ku bubenje eya 2017, eggwanga lyalimu obubenje 13,244 nga muno mwafiiramu abantu 3,500 ate abalala 10,420 ne bafuna ebisago eby’amaanyi.

Alipoota eno era eraga nti obubenje omwafiira abantu bweyongera okuva ku 2,981 mu 2016, okutuuka ku 3,051 mu 2017. Ku 3,500 abaafa kwaliko abatambuza ebigere 1,319 n’abasaabaze 927 nga bonna awamu bakola ebitundu 65% ku bantu abaafa. Alipoota eno era eyongera okulaga nti abasajja be basinga okufiira mu bubenje nga abasajja 2,832 be baafa ate abakazi bo baali 668 mu mwaka 2017.

Abavubuka 1,400 wakati w’emyaka 25 ne 44 be baafa nga bano bakola ebitundu 40% ku muwendo gw’Abantu abaafa. Alipoota eno era ekirambika nti obubenje businga kubeerawo wakati w’essaawa 10 ez’ekawungeezi n’essatu ez’ekiro.

Kino kiteekebwa ku motoka enyingi eziba zitambula mu kiseera ekyo ate nga n’abavuzi babeera oluusi bakooye. Mu mwaka oguwedde obubenje 5,035 bwe bwaliwo wakati w’essaawa zino ku mugatte ogwa 13,244.

Okusinziira ku lipooti eno abantu 24 be bafa ku buli obubenje 100 obugwa. Wabula ebibalo bino bikola ku bubenje obwo bwokka obwasobola okuloopebwa ku poliisi ne buwandiikibwa. Kino kitegeeza nti wayinza okubaayo obulala bungi obutaawandiikibwa. EKIRI MU MALWALIRO KIKA Abantu bwe bafuna obubenje ku nguudo baddusibwa mu malwaliro okufuna obujjanjabi ng’eno abamu gye bafiira ate abalala ne bawona.

MULAGO Mulago lye limu ku malwaliro agasinga okufuna ab’obubenje era wamanga gye miwendo gy’obubenje bwe bafunye wakati wa June –September 2018 Akabookisi waggulu kalaga nti wakati wa June ne September 2018, abantu 100 be bafudde obubenje e Mulago. Bwogatta omugatte gw’obubenje bwonna obw’emmotoka ne boodabooda bwe bubenje 1,991 mu bbanga ery’emyezi ena egiyise.

Dr. Alexander Bangirana omumyuka w’akulira woodi y’abobubenje e Mulago agamba nti abantu abafuna obubenje okwetoloola Kampala babaddusiza mulago nga kino kireetawo omujjuzo ogw’amaanyi mu woodi eno.

Yagambye nti bwogerageranya omuwendo gw’abalwadde n’obugazi bw’ekifo olaba nga tekimala kyetaaga kugaziyizibwa oba okufuna ekisingako. Yayongeddeko nti embalirira y’ebyobulamu ekyali ntono ng’ebikozesebwa mu woodi eno okugeza goozi, bandegi n’ebirala bitera okuggwawo, ng’omulwadde n’abantu be be balina okwegulira ebyabwe okusobola okukolebwako.

Yannyonnyodde nti ekifo awatwalibwa abalwadde abali obubi ennyo (Intensive Care Unit) tekimala okusinziira ku balwadde be bafuna. Bangirana agamba nti n’abakozi abalina okukola mu woodi eno bakyali batono okusinziira ku bwetaavu obuliwo, ekireetera obuweereza okutambula akasoobo.

NKOZI Oluguudo lw’e Masaka lwe lumu ku nguudo ezisinga okubeerako obubenje obungi era nga abakoseddwa obubenje basinga kuddusibwa mu ddwaaliro ly’e Nkozi okusobola okufuna obujanjabi.

Eddwaaliro lino lisangibwa Nkozi ku luguudo lw’e Masaka ng’okuva ku luguudo, okulituukako waliwo kilomita bbiri n’ekitundu. Sr. Teddy Nakyanzi akulira eddwaliro lino agamba nti okuva lwe yajja mu 2014, obubenje bwe bwamwaniriza. Abalwadde bonna abafuna obubenje ku luguudo luno babaddusa ku ddwaaliro lino kubanga lye liriwo wakati wa Kampala ne Masaka.

Agamba nti mu mwezi gumu bafuna abalwadde b’obubenje abali wakati wa 25 ne 40 ate omwaka bafuna abali wakati 300 ne 500! Okuva mu mwaka 2015 eddwaaliro lino lyakafuna abalwadde b’obubenje 1,715.

Nakyanzi yategeezezza nti emmotoka eza Kamunye ze zisinga okukola obubenje ku luguudo luno ate nga zireka zikosezza abantu abawerako. OKUSOOMOZEBWA Nakyanzi agamba nti eddwaaliro lino ffunda kubanga bwe lyali likolebwa obubenje tebwalowoozebwako. Kino kitegeeza nti likola ne kubalwadde abalala bangi ekintu ekibakaluubiriza mu kukola omulimu gwabwe.

Ebyuma ebikozesebwa ku bantu abafunye obubenje nabyo bikyali bitono nnyo ekiteeka obulamu bwabalwadde mu matigga. Ambyulensi eriwo nkadde nnyo ate ng’enywa mafuta ga petulooli ekigifuula ey’ebbeeyi okuyimirizaawo. Kyetaagisa ambyulensi empya ate ng’ekozesa dizelo okusobola okuddusanga abalwadde abali obubi. Nakyanzi yannyonnyodde nti olw’obusobozi obutono bwe balina, abalwaddebabawaako bujanjabi busooka (First Aid) olwo ne babongerayo mu malwaliro agasingako.

EBIVIIRAKO OBUBENJE Omwogezi wa Poliisi y’ebidduka mu ggwanga Charles Ssebambulidde, yagambye nti ebisinga okuvaako obubenje z’ensobi ezikolebwa abantu n’addala abagoba b’ebidduka. Yagambye nti ebintu omuli okuvugisa ekimama, obutagoberera mateeka ga ku nguudo, ettamiiro, okuvuga emmotoka eziri mu mbeera embi, okutikka akabindo bye bisinga okuleeta obubenje. Engeri enguudo gye zikolebwamu n’abavuzi ab’ekibogwe nabyo biviirako obubenje.

EBIKOLEDDWA OKULWANYISA OBUBENJE Ssebambulidde agamba nti Poliisi ekoze kyonna ekisoboka okulaba ng’obubenje bukendeerera ddala ku nguudo era tugenda kwongeramu amaanyi nga tukolagana n’e Bannayuganda okulaba ng’ekizibu kino tukirinnya ku nfeete.

Twafuna obuuma obusoma pamiti (permit readers) era nga buno abaserikale baffe babeera nabwo ku nguudo. Kituyambye okujjamu abo abaakozesaanga pamiti ez’ebicupuli. Okusinziira ku alipoota ya Poliisi ey’omwaka oguwedde abavuzi b’emotoka 4,085 beebaakwatibwa olw’obutabeera na pamiti zibakkiriza kuvugira ku luguudo. Aba boodabooda baali 121.

Tulina ebyuma ebikebera sipiidi omuntu z’abeera avuga (speed guns) nga bino bituyambye okulaba abavuga endiima ne tubawa ebibonerezo. Enkola eya Kawunyemu etuyambye okulwanyisa abavuga ebidduka nga batamidde. Ebikwekweto byaffe ebya Fika Salaama nabyo biyambye okutereeza enguudo.

Tuteeka abaserikale n’addala mu bitundu awatera okubeera obubenje nga bano babeera basobola okukwata buli amenya amateeka ku luguudo n’okulungamya entambula y’ebidduka. Enteekateeka ez’okukunga n’okumanyisa abantu ku mateeka g’okunguudo zituyambye nnyo okumalawo obulagajjavu.

Zino zikolebwa ekitongole kya Poliisi y’ebidduka ng’eri wamu ne Minisitule y’enguudo. Twateekawo ekitongole ekivunaanyizibwa ku kulwanyisa obuli bw’enguzi mu baserikale b’oku nguudo (Traffic Alert Squad) era nga kino nakyo kituyambye bya nsusso. Mu 2017, abaserikale 134 bebaakwatibwa nga bagya enguzi ku bavuzi b’ebidduka era ne bakangavvulwa.

Abavuzi b’ebidduka bangi basobodde okufuna pamiti ezibakkiriza okuvuga ebidduka oluvanyuma lw’okugezesebwa abaserikale baffe mu bitundu by’eggwanga eby’enjawulo. Mu 2017, abantu 82,638 beebagezesebwa okufuna pamiti mu kuvuga ebidduka eby’enjawulo. Okusobola okufuna pamiti oteekwa okuba ng’a weewandiisa n’essomero eriyigiriza okuvuga emmotoka, nga nalyo lyewandiisa mu mateeka.

Lino lye likuleeta ku poliisi n’oyita mu kugezesebwa okwenjawulo nga bwoyita okugezesa kuno, Pamiti yo ekkukkiriza okuvuga ekidduka etandika okukolebwako.

EBIFO AWASINGA OKUBEERA OBUBENJE (DARK SPOTS) Ku nguudo ez’enjawulo kuliko ebifo ebisinga okugwamu obubenje nga bino biyitibwa Black Spots oba Dark Spots. Ssebambuulidde agamba nti black spots zino gatera okubeera amakoona amanene, oluguudo olufunda ng’emotoka zeetomera n’addala nga ziyisinganya, obusozi obugulumidde ennyo ng’emotoka eva erudda teraba ndala ejja ng’olumu bisobola okubeera ebifo oluguudo we luyungira ku lulala. Yawadde abavuzi b’ebidduka amagezi obutavuga ndiima naddala nga bali ku nguudo ze batamanyi bulungi n’okusomanga obupande obubeera ku nguudo nga bulabula ebifo bino.

Ebifo ebisinga okubeeramu obubenje ku luguudo lw’e Masaka mulimu Kabaale-Bugonzi we baakazaako “ekoona lya Basudde”, Kaddugala mu kkoona, Ndikuttamadda ekiwonvu ekiri wakati wa Mpugwe ne Matanga, Mbizzinnya ne Buwama. Ku lw’e Jinja: Mu Mabira, Kitega, Mbikko ne Nyenga. Omuvuzi olina okwegendereza ebifo bino naddala ng’oli mupya ku luguudo okusobola okwewala obubenje.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Bug1 220x290

Paasita Bugembe naye endiga ze...

Paasita Bugembe naye endiga ze tazisuuliridde

Kag1 220x290

Ekizibu kya corona kisaza abantu...

Ekizibu kya corona kisaza abantu entotto

Kit1 220x290

Embeera ya Kenzo mu Ivory Coast...

Embeera ya Kenzo mu Ivory Coast ekanze abawagizi be

Acfc67552a0b422590ccdbe84492c45a 220x290

Minisita Ssempijja akubirizza Bannayuganda...

Minisita Ssempijja akubirizza Bannayuganda okulima

Kat18 220x290

Engeri Ssennyiga omukambwe gy’awadde...

Engeri Ssennyiga omukambwe gy’awadde abamu ‘essanyu’