TOP

Eddiini gye watusigamu etuyambye okuba obumu

By Musasi wa Bukedde

Added 9th December 2018

Eddiini gye watusigamu etuyambye okuba obumu

Rp1 703x422

Omumbejja Mabejo.

KU myaka 97 jjajja, Omumbejja Eseza Mabejo watuva ku maaso n’otuleka mu kiyongobero. Wali mpagi luwaga mu bulamu bwaffe. Obuvunaanyizibwa tewabukomyanga ku baana bo okuli Paul Karungi ne Ruth Najjemba wabula naffe abazzukulu nga tukutwala nga maama ate taata mu bulamu bwaffe.

Nkujjukirako okukulembeza omuntu okubeera n'empisa era nga bazadde baffe obeera okibajjukiza okutukuliza mu mpisa nga balina okufaayo ku nnyambala yaffe, ku njogera ne nneeyisa yaffe awaka, ku kyalo ne ku ssomero. Kino kituyambye okubeera abantu abeegombebwa abalala.

Watukuliza mu ddiini era nga tukulabirako bingi naddala mu buweereza bwo mu kkanisa ya St.Stephen‘s Lwadda. Watukuutira okunywerera ku ddiini zaffe era tuli bamalirivu obutawankawanka. Nzijukira buli kiseera okutukuutira obutanoonya byamagero mu makanisa agatali ku musingi gwa ddiini.

Watugambanga nti, ebyamagero Katonda y’abigaba. Jjajja kino kituyambye okuyimusa enzikiriza yaffe nga famire. Watukuutiranga okukulembeza eddiini mu buli kye tukola omuli obutasiba busungu ku mutima n'okwagalananga era kino kituyamba okubeera obumu.

Watuyigiriza okukola era mmanyi omusingi ogwo mugumu mu ffe. Tukusubwa ng’abazzukulu bo Jjajja twali tukutwala nga muzira waffe mu famire. Omwoyo gwo Mukama agulamuze kisa jjajja Muzzukulu wo , William Kirumira ku lwa famire

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

She1 220x290

Abaafunye akabenje mu Ambulance...

Abaafunye akabenje mu Ambulance baziikiddwa

Rak1 220x290

Ssentebe w'ekyalo Laddu emukubye...

Ssentebe w'ekyalo Laddu emukubye n'afiirawo e Rakai

Gat2 220x290

Asangiddwa ng'agenda okukwata abaana...

Asangiddwa ng'agenda okukwata abaana akkiriza omusango n'asaba ekisonyiwo

Mut1 220x290

Ssaabasajja aggaddewo ekisaakaate...

Ssaabasajja aggaddewo ekisaakaate kya Maama Nnabagereka

Mala1 220x290

BUKEDDE W’OLWOMUKAAGA AFULUMYE...

Mulimu abayizi 5 abasinze mu buli ssomero mu disitulikiti ez’enjawulo. Tukugattiddeko n’ebifaananyi byabwe nga...