TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Jjajja otukoze bulungi okutulekera omusingi gw'eddiini mu bulamu

Jjajja otukoze bulungi okutulekera omusingi gw'eddiini mu bulamu

By Musasi wa Bukedde

Added 9th December 2018

Jjajja otukoze bulungi okutulekera omusingi gw'eddiini mu bulamu

Dep2 703x422

MUKADDE waffe Leontina Lutaaya, tulina okunyolwa olw’okuba watuvudde ku maaso omwezi oguwedde. Twebaza Katonda olw’obulamu obulungi, empisa ennungi, n’obuwangaazi bw’akuwadde, anti agenze okukuyita odde gy’ali, ng’oweza egyobukulu 97! Ebbanga ly’omaze ku nsi otubeeredde kyakulabirako mu bintu bingi.

Otulaze ekifaananyi ky’omuzadde omulungi, alabirira era atuukiriza obulungi obuvunaanyizibwa bwe obw’okulabirira n’okugunjula abaana be. Abaana be wazaala wabayigiriza bulungi eddiini, n’empisa ennungi ez’obugunjufu.

Obugunjuzi bwo obulungi tubulabira mu muganda waffe Faaza Emmanuel Lutaaya, gwe wakuliza mu ddiini, n’ojimwagaza, ne yeegomba Obusaserdooti, era n’abufuna. Watuyigiriza okukulembeza eddiini.

Nzijukira bwe najja okukulabako gye buvuddeko, wadde wali onafuye, wasobula okusoma nange essaala, era n’akabonero k’Omusaalaba n’okakuba. Wankwata mu ngalo, mu ngeri eraga nti wali mwetegefu okusisinkana Omukama, era nga wali tolina ky’otya. Tukusaba otusabire, tutambulire bulungi mu makubo g’Omukama. (Fr. Charles Lwanga Makoboza, mukwano gwa famire y’omugenzi).

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Oketchinstructinghisstudentswebuse 220x290

Oketch obwavu abugobye na kukola...

Mu kukola fulasika z'embaawo mwe nfuna ssente

Wanikaamaguluwebuse11 220x290

Bw'oyamba omuntu azirise nga tonnamutuusa...

By'olina okukola okuyamba omuntu azirise nga tonnamutuusa wa musawo okumutaasa obuzibu obuyinza okumutuukako

Lan1 220x290

Mbogo ne Kibuli beddizza ez'amasomero...

Mbogo ne Kibuli beddizza ez'amasomero mu Badminton

Gr2 220x290

Abagambibwa okutta owa Mobile Money...

Abagambibwa okutta owa Mobile Money babazizza e Zzana

Hat1 220x290

Ebivuddeko ettemu okweyongera

Ebivuddeko ettemu okweyongera