TOP

Tukuyigiddeko bingi ng'oweereza mu kkanisa

By Musasi wa Bukedde

Added 9th December 2018

Tukuyigiddeko bingi ng'oweereza mu kkanisa

Wab2 703x422

Mary Tawonia.

MARY Teopisita Nakibuule Musoke Tawonia abadde mumuli mu kkanisa ya St. Apollo Kivebulaaya e Namasuba. Mu kibiina ky'abakyala Abakulisitaayo n'abakyala abafumbo mu kkanisa abadde byonna mu byonna.

Abadde atukumaakumba mu mbeera yonna nga waali tumanyi buli kimu kijja kutambula bulungi kubanga ng'asala mangu amagezi. Abadde mukyala atuwa ekyokulabirako ffenna ab'omulembe guno.

Obuvunaanyizibwa bw'okulabirira abaana agukoze bulungi ate nga musanyufu wadde bba yafa n'amulekera abaana nga bato ddala. Atulaze engeri ekkanisa bw'ekuyamba mu kuyita mu mbeera yonna eyinza okuba ng'ekuzitooweredde kuba abadde awa obujulizi ne kyongera okutuzzaamu amaanyi naffe ababa batendewaliddwa.

Omulimu gwe wasomerera ogw'obusawo ng'ogutuusa ne mu kkanisa. Tubadde mpagi luwaga mu kutuwa amageri ku ngeri gye tuyinza okubeera abalamu obulungi okusinziira ku bintu bye tulya ne bye tukola.

Tubadde tetweraliikirira nga tumanyi otuwa amagezi ku wa gye tuyinza okufuna obujjanjabi obutuufu. Mu kusaba okw'okwebaza Katonda olwobula bwe Ven. Gitta Kavuma Ssaabadinkoni w'e Mengo yamwogeddeko ng'omukyala abadde eky'okulabirako ekirungi eriekkanisa kuba aweerezza Katonda n'omutima gumu. Towonia yazaalibwa nga 20/4/1960 n’afa nga 3/12/2018 oluvannyuma lw’okutawanyizibwa obulwadde bw’ekibumba. Yaziikiddwa ku biggya bya bajjajja be e Busiika

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Fot2 220x290

Omucuula guyamba ku lubuto olwesibye...

Omucuula guyamba ku lubuto olwesibye

Kab3 220x290

Owoolubuto weekwate ekiyondo okutereeza...

Owoolubuto weekwate ekiyondo okutereeza emmeeme

Gat2 220x290

Abayizi n’abaana nabo basobola...

Abayizi n’abaana nabo basobola okulumirirwa abalala mu kisiibo

Wab2 220x290

Nja kufiira ku babba eddagala -...

Nja kufiira ku babba eddagala - Ssentebe

Fut2 220x290

Omusawo bamukutte kufera bantu...

Omusawo bamukutte kufera bantu