TOP

Abakolera ku bizimbe baagala Museveni abataase

By Musasi wa Bukedde

Added 10th December 2018

ABASUUBUZI abakolera ku bizimbe ebikaayanirwa balinze kiddako oluvannyuma lwa Muhangi abadde yabyeddiza okuziikibwa.

Likodi1 703x422

Embeera eri ku bizimbe ekya Horizone ne Bazanya n’Engo mu kiseera kino.

Bagamba nti aba famire baabategeeza nti balinde okuziika kuggwe ate n’oludda lwa Drake Lubega ne Mansoor Matovu Yanga nalwo ne lubategeeza nti basooke bakungubagire musuubuzi munnaabwe Charles Muhangi nga bwe balinda ekinaatuukibwako.

Muhangi abadde yeddiza ebizimbe ebibiri Qualicell Bus Terminal kye yabadde atuumye Horizon City ne Nabukeera kye yabadde yatuumye Bazannya n’Engo kyokka Drake ne Yanga ne bakiwakanya era okusika omuguwa kwavaako abagagga okuggala akeedi zaabwe endala, emirimu ne gisannyalala mu kibuga okumala olunaku lulamba.

Abasuubuzi basabye Pulezidenti Museveni eyali asuubizza okugonjoola ensonga mu bwangu bwe yasisinkana abagagga bonna abakaayana omwezi oguwedde.

Baasabye Pulezidenti ayambe okusalawo eggoye kubanga abasuubuzi boolekedde okufiirizibwa kubanga abamu kati basasula emirundi ebiri okwewala okugwa mu buzibu ng’omugagga gwe babadde batasasula y’awangudde olutalo.

Farouk Ssentamu omusuubuzi w’engoye ku Horizon City (ekyali ekya Drake Lubega) yategeezezza nti November abasuubuzi abamu baamuwa Muhangi ate December ne bamuwa Drake nga basuubira nti December w’anaatuukira nga Drake amaze okweddiza ekizimbe kyokka ate waliwo abamu ng’emyezi gyombi baagiwa Muhangi era kati batambulira mu zzaala.

Abbey Kiwanuka omusuubuzi we ng’atto yategeezezza nti akaseera katono Muhangi k’abaddi amaze nga ye Landiroodi waabwe babadde batandise okulaba enkyukakyuka ey’omuggundu.

Yagambye nti abadde musajja awuliriza era omuntu gwasobola okuteeseganya naye okwawukanako n’abagagga abalala.

Abasuubuzi b’oku Horizon eyali Nabukera bo baategeezezza nti beetegefu okukolagana n’omuntu yenna famire ya Muhangi gw’enaabalaga wabula baalabudde nti bwe wanaabawo omuntu yenna abataataagaanya baakwekubira omulanga mu kkooti singa Gavumenti enaalemwa okubayamba.

Baagambye nti Pulezidenti ky’anaaba asazeewo kye bagenda okusinga okwesiga kubanga kijja kuba kya nkomeredde kubanga emyaka 14 kkooti zibadde ziremeddwa okusalawo eggoye.

Hajji Muhammad Katanyoleka ssentebe w’ekibiina ekigatta abapangisa ekya Uganda Tenants Needy and Squatters’ Association Ltd (UTENSA), yategeezezza nti ku Lwomukaaga baawandiikidde abapangisa ku bizimbe bino nga babalagira okuyimiriza okusasula ssente z’okwewandiisa n’ezoobupangisa okutuusa nga Gavumenti evuddeyo n’ebalaga omuntu omutuufu gwe balina okusasula.

Yagambye nti okusalawo baakukoze nga basinziira ku bbaluwa eyawandiikibwa omukungu mu ofiisi ya ssaabawolereza wa Gavumenti eyawandiikibwa nga November 6, 2018 ng’esazaamu ekiragiro ekyasooka ekyawa Muhangi ebizimbe bino.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Hat12 220x290

Bebe Cool atongozezza Kampeyini...

Bebe Cool atongozezza Kampeyini y'okulwanyisa TB oluvannyuma lw'okusaka ensimbi ezikunukkiriza obuwumbi bubiri...

Freskid10 220x290

Fresh Kid akunze abato okweyiwa...

Fresh Kid akyaddeko ku kitebe kya Vision Group n'akunga abazadde okuleeta abaana baabwe mu kivvulu kya Toto Christmas...

Untitled4 220x290

Ow'emyaka 12 bamusse mu bukambwe:...

ABATEMU abatannategeerekeka bakkakkanye ku mwana abadde yaakawummula ne bamusobyako ne bamutta omulambo ne bagusuula...

Funa 220x290

Recho Rey naye engoye zimusiiwa...

OMUYIMBI Recho Rey yeerabidde okwambala engoye n’agenda mu kivvulu ng’ali mu kawale, akaleega n’agoye akalinga...

Untitled4 220x290

Aba Cryptocurrency babbye abantu...

KKAMPUNI ya Cryptocurrency endala efeze abasuubuzi obutitimbe bwa ssente mu Kampala ababadde bagiddukanya ne badduka...