TOP

Ebigambo bya Nnamwandu ebikaabizza abaziisi

By Musasi wa Bukedde

Added 10th December 2018

Nnamwandu wa Muhangi, Patience Mbabazi yakaabizza abakungubazi bwe yalombozze embeera enzibu gy’abadde ayitamu okuva bba lwe yawangula emisango mu kkooti n’aweebwa ebizimbe by’akaanira n’abaggagga Yanga ne Lubega.

Nyo 703x422

Nnamwandu ng’ayogera ku bba.

“Omwami wange abadde oluusi tasula waka olw’okutya nti obulamu bwe buli mu bulabe.

Oluusi abadde ankubira essimu nga bukedde n’ambuzaako n’okunkuutira okukuuma abaana”, bwe yategeezezza.

Amaka gaabwe, Nnamwandu yagambye nti gabadde gajjula dda okutya n’obweraliikirivu olw’embiranye ebaddewo n’abagagga.

Muhangi yategeeza mukazi we nti, emmaali ye yagikolerera mu ntuuyo ze era mwetegefu okufa, naye nga tanyagiddwako mmaali ye.

GAVUMENTI EWADDE AMABUGO GA BUKADDE 10

Katikkiro wa Uganda Dr. Ruhakana Rugunda ye yakiikiridde Gavumenti mu kuziika n’agamba nti, abadde muwagizi ow’amaanyi owa NRM.

Abadde mpagi luwaga mu byentambula (alina bbaasi za Horizon) mu ggwanga n’ebyemizannyo naddala mmotoka z’empaka.

Yatuusizza obubaka bwa Pulezidenti Museveni abadde amanyiganye ne Muhangi.

Yawaddeyo amabugo obukadde 10 ne yeeyama okuwagira famire okutambuza emirimu ne bizinensi za Muhangi.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Fot2 220x290

Omucuula guyamba ku lubuto olwesibye...

Omucuula guyamba ku lubuto olwesibye

Kab3 220x290

Owoolubuto weekwate ekiyondo okutereeza...

Owoolubuto weekwate ekiyondo okutereeza emmeeme

Gat2 220x290

Abayizi n’abaana nabo basobola...

Abayizi n’abaana nabo basobola okulumirirwa abalala mu kisiibo

Wab2 220x290

Nja kufiira ku babba eddagala -...

Nja kufiira ku babba eddagala - Ssentebe

Fut2 220x290

Omusawo bamukutte kufera bantu...

Omusawo bamukutte kufera bantu