TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Basajjabalaba awadde ekiragiro ku bizimbe ebyatwalibwa Muhangi Drake Lubega ne Mansoor Young ne bamwanukula

Basajjabalaba awadde ekiragiro ku bizimbe ebyatwalibwa Muhangi Drake Lubega ne Mansoor Young ne bamwanukula

By Musasi wa Bukedde

Added 11th December 2018

Basajjabalaba awadde ekiragiro ku bizimbe ebyatwalibwa Muhangi Drake Lubega ne Mansoor Young ne bamwanukula

Mah 703x422

Basajjabalaba ( wakati) ng’ayogera mu lumbe lwa Muhangi.

OLUTALO ku bizimbe by’abagagga ebikaayanirwa mu kibuga lusitudde buto Hassan Basajjabalaba bw’awadde abapangisa ebiragiro nti buli omu ateekwa okugoberera enkola omugenzi Muhangi gye yaleseewo okusasula ssente. Basajjabalaba yategeezezza nti tewali mugagga mulala gwe bateekwa kuwa ssente za bupangisa okuggyako aba famire ya Charles Muhangi.

Bino abagagga Mansoor Matovu (Yanga) ne Drake Lubega olubiwulidde nabo ne bafulumya ebiragiro eri abapangisa. Babalagidde nti tebabuzaabuzibwa ebizimbe tebibadde bya Muhangi era Basajjabalaba ne banne nga tebannaba kuyingira lutalo luno basooke beetegereze ebiwandiiko.

Joseph Mukasa maneja w’abagagga bano yategeezezza nti bakam abe baamuwadde ebiragiro okutegeeza abapangisa nti tewaba agezaako kusasula ssente za bupangisa wa Muhangi. Baakubisizza n’ebipande ne babiwa abasuubuzi abakolera ku Qualicell (Horizon City) ne Nabukeera (Bazannya n’Engo) nga bibalabula.

Mukasa yategeezezza nti balindeko okusasula okutuusa ng’ekiseera Pulezidenti Museveni kye yawa okubasalirawo kiweddeko. Yagambye nti babadde baayimiriza okweddiza ebizimbe byabwe olw’okuba babadde bakyakungubagira munnaabwe Muhangi kyokka ssentebe w’olukiiko Hassan Basajjabalaba bawulira ate naye ayingidde olutalo abawabye.

Mukasa yalabudde Basajjabalaba n’amuwa amagezi nti: Nga tannaba kuyisa biragiro ku nkaayana z’atamanyi gye zaava, asooke asabe ku fayiro ekwata ku bizimbe agyetegereze. Era nti bamuwe ekyapa ky’ettaka ly’ebizimbe alabe oba kiri mu mannya ga Charles Muhangi.

Bamuwe ekiragiro kya kkooti n’endagaano zonna ezikwata ku ttaka alabe ebiriko nga tannaba kutwahhaanga. Kyokka Basajjabalaba yategeezezza abagagga ababadde balowooza nti kisalidde mu ntamu ebizimbe bagenda kubitwalira ku mukeeka olwokuba Muhangi yafudde, nti ekyo bakyerabire.

Yategeezezza nti omugenzi afudde mu kkooti avuddeyo ng’atandise okuddukanya ebyobugagga bye era yakakasizza famire nti obuyinza bwe bamuwadde agenda kubutuukiriza. Olutalo luno olusituse obuto lwongedde okutabula abasuubuzi abakolera ku bizimbe ebyo era kati essuubi lyabwe liri mu Pulezidenti Museveni kusisinkana njuyi zombi baveeyo n’ekyenkomeredde.

BALAZE OMUSIKA WA MUHANGI

Eggulo ab’enju ya Muhangi abaasigadde ku kyalo Bumbiire e Igara mu Bushenyi gye baaziise, baalaze omusika Jeck Rwakasimba. Ono ye mwana wa Muhangi omulenzi asembayo obuto. Muhangi gwe yali yalonda amusikire era aba famire bakkaanyizza nakyo awatali kusika muguwa kwonna. Ku mukolo guno aba famire bazzeemu ne bakwasa Basajjabalaba obuyinza okulondoola n’okulabirira ebyobugagga by’omugenzi.

Yategeezezza nti Muhangi afudde ategeka kugenda wa Pulezidenti ku nsonga y’ebizimbe era nabo bagenda kukola entegeka ezisisinkana Pulezidenti bategeere ekiri mu lipooti eyava mu kunoonyereza kw’akakiiko akassibwaawo.

Abagagga Drake Lubega ne Yanga, beekubira enduulu ewa Pulezidenti Museveni nga beemulugunya nti Muhangi ataalina bbulooka wadde ebbaati lye yassa ku bizimbe ate abisoloozaamu atya ensimbi! Museveni yalonda Florence Kiconco (munnamateeka mu maka g’Obwapulezidenti) akole okunoonyereza ku nkaayana zino mu nnaku musanvu amuwe lipooti esalewo nga yeesigama ku lipoota by’enaaba ezudde.

Ennaku Musanvu zaggwaako dda era enjuyi zonna zaali zirinda Pulezidenti aziyite okubategeeza ebya lipooti ate Muhangi n’afa. Oludda lw’abagagga Yanga ne Drake Lubega baagambye nti babadde tebaagala kuddamu kulwana nnyo na famire ya mugenzi kubanga ebiva mu ntalo tebiba birungi.

Mukasa yagambye nti nabo baagala Pulezidenti abayite bamanye ebyasalibwawo kubanga tebasobola kukkiriza muntu kusolooza ssente mu bizimbe byabwe nga balaba. Maama wa Muhangi, Angella Kobuziire Rwankoore yategeezezza nti mutabani we afudde alina bingi byatereezezza era asaba aba famire n’emikwano bayambe okukuuma ebyobugagga by’omugenzi.

Yategeezezza nti ekimusanyusizza, omugenzi afudde alokose era yakkiriza n’okuzimba Ekkanisa ku ttaka lye mu kyalo okumpi ne we baamuziise. Omukolo gw’okusabira omusika gwakoleddwa omwawule w’Ekkanisa y’e Bumbiire Rev. John Makuru. Yabuuliridde aba famire okusigala nga bali wamu era beewale entalo ezibeera mu famire endala nnyingi ng’omuntu abadde omutwe afudde.

Omulabirizi wa West Ankole, Bp. Johnson Twinomujuni ye yasoose okulabula Nnamwandu Patience Muhangi bwe yabadde mu kubuulira mu kuziika Muhangi ku Ssande. Yagambye nnamwandu nti yeegendereze abajja okumubudaabuda kubanga abamu bajja n’ebigendererwa bya kunyaga byabugagga. Yagasseeko nti abasajja abamu basobola okuyita mu kugezaako okuganza Nnamwandu naye ng’ebiruubirirwa bya kunyaga ssente n’ebyobugagga ebirala

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Npc03webuse 220x290

Abavubuka bayambibwe mu byobulamu...

Abavubuka basaana bayambibwe mu byobulamu basobole okwekuuma, okwejjanjabisa n'okumanyisibwa ebikwata ku byobulamu...

Coffeetree1webuse 220x290

Alina omusaayi omutono muwe amazzi...

Atalina musaayi kozesa bikoola bya mmwaanyi ofune ogukumala

Camavingajpg111 220x290

Ttiimu za Premier 3 ziswamye musaayimuto...

Camavinga, wa myaka 16 era ttiimu za Premier zigamba nti akacanga nga Paul Pogba.

Ssuubikazimba 220x290

Abakrisitaayo balabuddwa okulwa...

ABAKRISTAAYO balabuddwa okukomya okumala obudde bwonna mu masinzizo nga balindirira Katonda okubakolera ebyewuunyo...

Mbvsmpindi1web002web 220x290

Abembogo beewaanye bwe bagenda...

ABAWAGIZI n'abakungu be Mbogo beewanye nti "omunene asigala munene" oluvanyuma lwokukuba Empindi ggoolo 3-0 mu...